Yobu 21 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 21:1-34

Yobu Ayanukula

1Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,

2“Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange,

era kino kibazzeemu amaanyi.

321:3 Yob 16:10Mungumiikirizeeko nga njogera,

oluvannyuma museke.

421:4 Yob 6:11“Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu?

Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?

521:5 Bal 18:19; Yob 29:9; 40:4Muntunuulire mwewuunye,

mujja kukwata ne ku mumwa.

6Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa;

omubiri gwange ne gukankana.

721:7 Yob 12:6; Zab 73:3; Yer 12:1; Kbk 1:13Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala,

ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?

821:8 Zab 17:14Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,

ezzadde lyabwe nga balaba.

921:9 Zab 73:5Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;

omuggo gwa Katonda tegubabeerako.

1021:10 Kuv 23:26Ennume zaabwe teziremererwa,

ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.

11Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo;

obuto ne bubeera mu kuzina.

1221:12 Zab 81:2Bayimbira ku bitaasa n’ennanga,

ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.

1321:13 Yob 36:11Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,

mangwago ne bakka mu ntaana.

1421:14 a Yob 22:17 b Nge 1:29Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe!

Tetwegomba kumanya makubo go.

1521:15 Kuv 5:2; Yob 34:9; Mal 3:14Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze?

Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’

16Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe,

noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.

1721:17 Yob 18:5“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?

Ennaku ebajjira emirundi emeka?

Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.

1821:18 Yob 13:25; Zab 1:4Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;

ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.

1921:19 Kuv 20:5; Yer 31:29; Ez 18:2Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.

Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!

2021:20 a Zab 75:8; Is 51:17 b Yer 25:15; Kub 14:10Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;

leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.

2121:21 Yob 14:5Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,

nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?

2221:22 a Yob 35:11; 36:22; Is 40:13-14; Bar 11:34 b Zab 82:1“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,

kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?

23Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,

nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,

2421:24 Nge 3:8omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,

amagumba ge nga gajjudde obusomyo.

25Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,

nga teyafuna kintu kyonna kirungi.

2621:26 Yob 24:20; Mub 9:2-3; Is 14:11Ne beebaka kye kimu mu ttaka,

envunyu ne zibabikka bombi.

27“Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,

enkwe ze mwagala okunsalira.

2821:28 a Yob 1:3; 12:21; 31:37 b Yob 8:22Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,

eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’

29Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?

Temukkiriza bye babagamba,

3021:30 a Nge 16:4 b Yob 20:22, 28; 2Pe 2:9nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,

era awona ku lunaku olw’ekiruyi?

31Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,

ani amusasula ebyo by’akoze?

32Atwalibwa ku ntaana,

era amalaalo ge gakuumibwa.

3321:33 a Yob 3:22; 17:16; 24:24 b Yob 3:19Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera,

abantu bonna bamugoberera,

n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.

3421:34 Yob 16:2“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?

Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”