Yobu 19 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Yobu 19:1-29

Yobu Amuddamu

1Awo Yobu n’addamu nti:

2“Mulikomya ddi okunnyigiriza

ne mummenya n’ebigambo?

3Emirundi kkumi nga munvuma;

temukwatiddwa nsonyi kunnumba.

419:4 Yob 6:24Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,

obukyamu bwange, bwange nzekka.

519:5 Zab 35:26; 38:16; 55:12Bwe muba munneegulumiririzaako

ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,

619:6 a Yob 27:2 b Yob 18:8mumanye nga Katonda ankoze bubi

era anzingizza mu kitimba kye.

719:7 a Yob 30:20 b Yob 9:24; Kbk 1:2-4“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;

ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.

819:8 a Yob 3:23; Kgb 3:7 b Yob 30:26Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;

amakubo gange agalese mu kizikiza.

919:9 a Yob 12:17 b Zab 89:39, 44; Kgb 5:16Anziggyeeko ekitiibwa kyange

n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.

1019:10 a Yob 12:14 b Yob 7:6 c Yob 24:20Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,

asigula essuubi lyange ng’omuti.

1119:11 a Yob 16:9 b Yob 13:24Obusungu bwe bumbubuukirako;

ambala ng’omu ku balabe be.

1219:12 a Yob 16:13 b Yob 30:12Amaggye ge galumba n’amaanyi;

ganzimbako enkomera

ne gagumba okwetooloola weema yange.

1319:13 a Zab 69:8 b Yob 16:7; Zab 88:8“Anziggyeeko baganda bange;

abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.

14Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,

mikwano gyange ginneerabidde.

15Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,

ne bandaba nga munnagwanga.

16Mpita omuddu wange naye tawulira,

wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.

17Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;

nakyayibwa baganda bange bennyini.

1819:18 2Bk 2:23N’obulenzi obuto bunsekerera;

buli lwe bundaba bunvuma.

1919:19 a Zab 55:12-13 b Zab 38:11Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;

abo be nnayagalanga banneefuukira.

2019:20 Yob 33:21; Zab 102:5Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:

nsigazzaawo bibuno byokka.

21“Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,

kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.

2219:22 a Yob 13:25; 16:11 b Zab 69:26Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?

Omubiri gwe mufunye tegumala?

2319:23 Is 30:8“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,

Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?

24Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,

oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!

2519:25 a Zab 78:35; Nge 23:11; Is 43:14; Yer 50:34 b Yob 16:19Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,

era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.

2619:26 Zab 17:15; Mat 5:8; 1Ko 13:12; 1Yk 3:2Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,

kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;

2719:27 Zab 73:26nze mwene ndimulaba,

n’amaaso gange, Nze, so si mulala.

Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!

28“Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,

kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’

2919:29 a Yob 15:22 b Yob 22:4; Zab 1:5; 9:7nammwe bennyini musaana mutye ekitala.

Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,

olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Аюб 19:1-29

Ответ Аюба

1Тогда Аюб ответил:

2– Долго ещё вам мучить меня

и терзать своими словами?

3Вот уже десять раз вы меня унижали.

Вам не стыдно меня оскорблять?

4Если я и впрямь согрешил,

мой грех при мне и останется.

5А если хотите передо мною кичиться,

позором моим меня упрекать,

6то знайте: Аллах причинил мне зло

и сеть Свою на меня набросил.

7Я кричу: «Обида!» – но нет ответа;

я зову на помощь, но нет суда.

8Он мой путь заградил – не пройти;

Он покрыл мои тропы мглой.

9Он совлёк с меня мою славу

и с головы моей снял венец.

10Он крушит меня со всех сторон – я гибну;

Он исторг надежду мою, как дерево.

11Воспылал на меня гнев Его;

Он считает меня врагом.

12Подступают вместе Его полки,

вал осадный против меня возводят,

стан разбивают вокруг моего шатра.

13Он удалил моих братьев от меня,

и близкие люди стали чужими.

14Отвернулись сородичи от меня,

и друзья обо мне забыли.

15Гости мои и мои служанки

считают меня чужаком,

глядят на меня, как на постороннего.

16Я зову слугу, а ответа нет;

я должен умолять его.

17Опротивело моей жене моё дыхание,

я стал бы отвратителен даже своим сыновьям.

18Даже малые дети меня презирают;

поднимаюсь – они надо мной смеются.

19Близкие друзья гнушаются меня;

те, кого я любил, обратились против меня.

20От меня остались лишь кожа да кости,

чуть душа держится в теле19:20 Букв.: «уцелела лишь кожа около зубов»..

21Сжальтесь, сжальтесь, друзья мои, надо мной,

ведь меня поразила рука Аллаха.

22Зачем вы преследуете меня, как Аллах,

и не можете плотью моей насытиться?

23О, если бы записаны были мои слова,

были бы в свитке начертаны,

24выбиты железным резцом по свинцу,

врезаны в камень навеки!

25Но я знаю: Искупитель19:25 Или: «Защитник». мой жив,

и в конце Он встанет над прахом.

И когда моя кожа с меня спадёт,

26я всё же во плоти19:26 Или: «без плоти». моей увижу Аллаха;

27я сам увижу Его и не буду Ему чужим,

своими глазами увижу Его.

Как томится сердце в груди моей!

28Если скажете: «Как нам его преследовать,

раз корень зла находится в нём?» –

29то бойтесь меча,

ведь гнев Аллаха пошлёт карающий меч,

чтобы вы познали, что есть суд.