Yobu 18 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 18:1-21

Birudaadi Ayanukula

1Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,

2“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?

Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.

318:3 Zab 73:22Lwaki tutwalibwa ng’ente

era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?

418:4 Yob 13:14Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,

abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?

518:5 Yob 21:17; Nge 13:9; 20:20; 24:20“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,

era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.

6Ekitangaala kivudde mu weema ye;

n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.

718:7 a Nge 4:12 b Yob 5:13 c Yob 15:6Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,

era enkwe ze, ze zimusuula.

818:8 Yob 22:10; Zab 9:15; 35:7Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba

era n’atangatanga mu butimba.

9Omutego gumukwata ekisinziiro;

akamasu ne kamunyweeza.

10Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;

akatego kamulindirira mu kkubo lye.

1118:11 a Yob 15:21; Yer 6:25; 20:3 b Yob 20:8Entiisa emukanga enjuuyi zonna

era n’emugoba kigere ku kigere.

1218:12 Is 8:21Emitawaana gimwesunga;

ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.

1318:13 Zek 14:12Kirya ebitundu by’olususu lwe;

omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.

1418:14 Yob 8:22Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye

era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.

1518:15 Zab 11:6Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;

ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.

1618:16 a Is 5:24; Kos 9:1-16; Am 2:9 b Yob 15:30; Mal 4:1Emirandira gye gikala wansi,

n’amatabi ge gakala waggulu.

1718:17 Zab 34:16; Nge 2:22; 10:7Ekijjukizo kye kibula ku nsi;

talina linnya mu nsi.

1818:18 Yob 5:14Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza

n’aggyibwa mu nsi.

1918:19 a Yer 22:30 b Is 14:22 c Yob 27:14-15Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,

newaakubadde ekifo mwabeera.

2018:20 Zab 37:13; Yer 50:27, 31Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;

n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.

2118:21 a Yob 21:28 b Yer 9:3; 1Bs 4:5Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;

bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”