Yobu 17 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 17:1-16

117:1 Zab 88:3-4Omutima gwange gwennyise,

ennaku zange zisalibbwaako,

entaana enninze.

217:2 1Sa 1:6-7Ddala abansekerera bannetoolodde;

amaaso gange gabeekengera.

317:3 a Zab 119:122 b Nge 6:1 c Is 38:14“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.

Ani omulala ayinza okunneeyimirira?

4Ozibye emitima gyabwe obutategeera;

noolwekyo toobakkirize kuwangula.

517:5 Yob 11:20Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera

alireetera amaaso g’abaana be okuziba.

617:6 Yob 30:9“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,

anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.

717:7 Yob 16:8Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;

omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.

817:8 Yob 22:19Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;

atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.

917:9 a Nge 4:18 b Yob 22:30Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,

n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.

1017:10 Yob 12:2“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,

naye siraba muntu mugezi mu mmwe!

1117:11 Yob 7:6Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,

era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.

12Abantu bano ekiro bakifuula emisana;

mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.

1317:13 Yob 3:13Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,

bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,

1417:14 a Yob 13:28; 30:28, 30; Zab 16:10 b Yob 21:26ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’

era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’

1517:15 Yob 7:6kale essuubi lyange liba ludda wa?

Ani ayinza okuliraba?

1617:16 Yob 3:17-19; Yon 2:6Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe

Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”