Yobu 16 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 16:1-22

Yobu Ayanukula

1Yobu n’addamu nti,

216:2 Yob 13:4“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino;

mwenna muli mikwano gyange egitagasa.

316:3 Yob 6:26Ebigambo byammwe bingi, tebiikome?

Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?

416:4 Zab 22:7; 109:25; Kgb 2:15; Zef 2:15; Mat 27:39Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;

nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe16:4 Okunyeenyeza omuntu omutwe kyalaganga nga bw’onyoomye omuntu oyo. Kyali kivumo gwange.

5Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi;

ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.

6“Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona,

bwe nsirika era busigalawo.

716:7 Yob 7:3Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi;

osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.

816:8 a Yob 19:20 b Yob 10:17Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala,

obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.

916:9 a Kos 6:1 b Zab 35:16; Kgb 2:16; Bik 7:54 c Yob 13:24Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza,

annumira emba;

omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.

1016:10 a Zab 22:13 b Is 50:6; Kgb 3:30; Mi 5:1; Bik 23:2 c Zab 35:15Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera;

bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.

1116:11 Yob 1:15, 17Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi,

era n’ansuula mu mikono gy’ababi.

1216:12 a Yob 9:17 b Kgb 3:12Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;

yankwata ku nsingo n’ammenyamu.

Anfudde ssabbaawa,

1316:13 Yob 20:24abakubi b’obusaale banneetoolodde.

Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,

omususa gwange ne guyiika ku ttaka.

1416:14 a Yob 9:17 b Yo 2:7Annumba, emirundi n’emirundi,

n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.

1516:15 Lub 37:34“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu,

ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.

16Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,

ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,

1716:17 Is 59:6; Yon 3:8newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,

n’okusaba kwange nga kutukuvu.

1816:18 a Is 26:21 b Zab 66:18-19“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;

nneme okusirisibwa!

1916:19 Lub 31:50; Bar 1:9; 1Bs 2:5Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;

omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.

2016:20 Kgb 2:19Mikwano gyange bansekerera,

amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.

2116:21 Zab 9:4Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda

ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.

2216:22 Mub 12:5“Emyaka mitono eginaayitawo

nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.”