Yobu 15 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yobu 15:1-35

Erifaazi Ayogera

1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,

215:2 Yob 6:26“Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu,

oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?

3Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa,

oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?

4Naye onyooma Katonda

n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.

515:5 Yob 5:13Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko,

era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.

615:6 Luk 19:22Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze,

emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.

715:7 a Yob 38:21 b Zab 90:2; Nge 8:25“Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?

Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?

815:8 Bar 11:34; 1Ko 2:11Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda?

Olowooza gwe mugezi wekka?

915:9 Yob 13:2Kiki ky’omanyi kye tutamanyi?

Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?

1015:10 Yob 32:6-7Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe,

abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.

1115:11 a 2Ko 1:3-4 b Zek 1:13 c Yob 36:16Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala,

ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?

1215:12 Yob 11:13Lwaki omutima gwo gukubuzizza,

amaaso go ne gatemereza

13n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda,

n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?

1415:14 a Yob 14:4; 25:4 b Nge 20:9; Mub 7:20“Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu,

oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?

1515:15 Yob 4:18; 25:5Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be,

n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,

1615:16 a Zab 14:1 b Yob 34:7; Nge 19:28oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu,

anywa obutali butuukirivu nga amazzi!

17“Mpuliriza nnaakunnyonnyola,

leka nkubuulire kye ndabye:

1815:18 Yob 8:8abasajja ab’amagezi kye bagambye

nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe

19abo bokka abaweebwa ensi

nga tewali mugwira agiyitamu.

2015:20 Yob 24:1; 27:13-23Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna,

n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.

2115:21 a Yob 18:11; 20:25 b Yob 27:20; 1Bs 5:3Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge;

byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.

2215:22 Yob 19:29; 27:14Atya okuva mu kizikiza adde,

ekitala kiba kimulinze okumusala.

2315:23 a Zab 59:15; 109:10 b Yob 18:12Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya,

amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.

24Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira,

bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.

2515:25 Yob 36:9Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde,

ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,

26n’agenda n’ekyejo amulumbe,

n’engabo ennene enzito.

2715:27 Zab 17:10“Wadde nga yenna yagejja amaaso

ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,

2815:28 a Is 5:9 b Yob 3:14wakubeera mu bibuga eby’amatongo,

ne mu bifulukwa,

ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.

2915:29 Yob 27:16-17Taddeyo kugaggawala,

n’obugagga bwe tebulirwawo,

n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.

3015:30 a Yob 5:14 b Yob 22:20 c Yob 4:9Taliwona kizikiza,

olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge,

era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.

3115:31 Is 59:4Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu,

kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.

3215:32 a Mub 7:17 b Yob 22:16; Zab 55:23 c Yob 18:16Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka,

n’amatabi ge tegalikula.

3315:33 Kbk 3:17Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera,

ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.

3415:34 Yob 8:22Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba,

era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.

3515:35 Zab 7:14; Is 59:4; Kos 10:13Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu,

embuto zaabwe zizaala obulimba.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約伯記 15:1-35

以利法再次發言

1提幔以利法回答說:

2「智者豈會用空談作答,

滿腹東風?

3申辯時豈會講無用的話,

說無益之言?

4你摒棄對上帝的敬畏,

拒絕向祂禱告。

5你的罪指示你開口,

使你說出詭詐之言。

6並非我定你的罪,

定你罪的是你的口,

指控你的是你的嘴唇。

7你豈是第一個出生的人?

你豈在群山之前被造?

8你豈聽過上帝的密旨?

你豈獨攬智慧?

9有何事你知而我們不知,

你懂而我們不懂?

10我們這裡有白髮老人,

比你父親還年長。

11上帝用溫柔的話安慰你,

難道你還嫌不夠嗎?

12你為何失去理智,

為何雙眼冒火,

13以致你向上帝發怒,

口出惡言?

14人算什麼,怎能純潔?

婦人所生的算什麼,怎能公義?

15連上帝的聖者都無法令祂信任,

連諸天在祂的眼中都不潔淨,

16更何況可憎敗壞、

嗜惡如喝水的世人?

17「讓我告訴你,你好好聽著。

我要把所見的陳明——

18那是智者的教導,

是他們未曾隱瞞的祖訓。

19這片土地只賜給了他們,

沒有外人在他們中間出入。

20惡人一生受折磨,

殘暴之徒終身受苦。

21他耳邊響著恐怖的聲音,

他安逸時遭強盜襲擊。

22他不指望能逃脫黑暗,

他註定要喪身刀下。

23他到處流浪,尋找食物,

他知道黑暗之日快要來臨。

24患難和痛苦使他害怕,

像君王上陣一樣震懾他。

25因為他揮拳對抗上帝,

藐視全能者,

26拿著堅盾傲慢地挑戰祂。

27他滿臉肥肉,

腰間堆滿脂肪。

28他住的城邑必傾覆,

他的房屋必成為一堆瓦礫,

無人居住。

29他不再富足,

家財不能久留,

地產無法加增。

30他無法逃脫黑暗,

火焰要燒焦他的嫩枝,

上帝口中的氣要毀滅他。

31他不可自欺,信靠虛空,

因為虛空必成為他的回報。

32在他離世以前,虛空必臨到他,

他的枝子再不會青綠。

33他必像一棵葡萄樹,

葡萄未熟已掉落;

又像一棵橄欖樹,

花剛開便凋零。

34不信上帝之輩必不生育,

受賄者的帳篷必被火燒。

35他們心懷不軌,生出罪惡,

他們滿腹詭詐。」