Yobu 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 14:1-22

114:1 Yob 5:7; Mub 2:23“Omuntu azaalibwa omukazi,

abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.

214:2 a Yak 1:10 b Zab 90:5-6 c Yob 8:9Amulisa ng’ekimuli n’awotoka;

abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.

314:3 a Zab 8:4; 144:3 b Zab 143:2Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo?

Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?

414:4 a Zab 51:10 b Bef 2:1-3 c Yk 3:6; Bar 5:12Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?

Tewali n’omu!

514:5 Yob 21:21Ennaku z’omuntu zaagererwa,

wagera obungi bw’emyezi gye

era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.

614:6 a Yob 7:19 b Yob 7:1, 2; Zab 39:13Kale tomufaako muleke yekka,

okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.

7“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:

Bwe gutemebwa, guloka nate,

era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.

8Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka

era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,

9naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa

ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.

1014:10 Yob 13:19Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,

assa ogw’enkomerero n’akoma.

1114:11 Is 19:5Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja

oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,

1214:12 a Kub 20:11; 21:1 b Bik 3:21bw’atyo omuntu bw’agalamira,

era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,

abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.

1314:13 Is 26:20“Singa kale onkweka emagombe

era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!

Singa ongerera ekiseera

n’onzijukira!

14Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?

Ennaku zange zonna ez’okuweereza

nnaalindanga okuwona kwange kujje.

1514:15 Yob 13:22Olimpita nange ndikuyitaba;

olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.

1614:16 a Zab 139:1-3; Nge 5:21; Yer 32:19 b Yob 10:6Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange,

naye tolyekaliriza bibi byange.

1714:17 a Ma 32:34 b Kos 13:12Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo;

olibikka ku kibi kyange.

18“Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo,

era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,

1914:19 Yob 7:6ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja

era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi;

bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.

20Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala;

okyusa enfaanana ye n’omugoba.

2114:21 Mub 9:5; Is 63:16Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya,

bwe bagwa, takiraba.

22Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira

ne yeekungubagira yekka.”