Yobu 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 13:1-28

1“Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,

n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.

213:2 Yob 12:3Kye mumanyi nange kye mmanyi;

siri wa wansi ku mmwe.

313:3 Yob 23:3-4Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,

era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.

413:4 Zab 119:69; Yer 23:32Naye mmwe mumpayiriza;

muli basawo abatagasa mmwe mwenna!

513:5 Nge 17:28Kale singa musirika!

Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.

6Muwulire kaakano endowooza yange,

muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.

713:7 Yob 36:4Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?

Munaamwogerera eby’obulimba?

813:8 Lv 19:15Munaamulaga ng’ataliiko luuyi,

munaamuwoleza ensonga ze.

913:9 Yob 12:16; Bag 6:7Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi?

Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?

10Tayinza butakunenya,

singa osaliriza mu bubba.

1113:11 Yob 31:23Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?

Entiisa ye teyandikuguddeko?

12Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,

n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.

13Musirike nze njogere;

kyonna ekinantukako kale kintuukeko.

14Lwaki neeteeka mu mitawaana,

obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?

1513:15 a Yob 7:6 b Zab 23:4; Nge 14:32 c Yob 27:5Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,

ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.

1613:16 Is 12:1Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,

kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!

1713:17 Yob 21:2Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;

amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.

1813:18 Yob 23:4Kaakano nga bwe ntegese empoza yange,

mmanyi nti nzija kwejeerera.

1913:19 a Yob 40:4; Is 50:8 b Yob 10:8Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?

Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.

20Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda,

awo sijja kukwekweka.

2113:21 Zab 39:10Nzigyako omukono gwo,

olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.

2213:22 a Yob 14:15 b Yob 9:16Kale nno ompite nzija kukuddamu,

oba leka njogere ggwe onziremu.

2313:23 1Sa 26:18Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze?

Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.

2413:24 a Ma 32:20; Zab 13:1; Is 8:17 b Yob 19:11; Kgb 2:5Lwaki okweka amaaso go,

n’onfuula omulabe wo?

2513:25 a Lv 26:36 b Yob 21:18; Is 42:3Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga?

Onooyigga ebisasiro ebikaze?

2613:26 Zab 25:7Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma,

n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.

2713:27 Yob 33:11Oteeka ebigere byange mu nvuba,

era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita

ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.

2813:28 Is 50:9; Yak 5:2Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,

ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”