Yeremiya 7 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 7:1-34

Yeremiya Abuulira mu Yeekaalu

1Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama. 27:2 Yer 17:19Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.

Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama. 37:3 Yer 18:11; 26:13Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu. 47:4 Mi 3:11Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ 57:5 Yer 22:3Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, 67:6 a Yer 2:34; 19:4 b Ma 8:19ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, 77:7 Ma 4:40kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. 8Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.

97:9 a Yer 11:13, 17 b Kuv 20:3“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; 107:10 Yer 32:34; Ez 23:38-39ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna? 117:11 a Is 56:7 b Mat 21:13*; Mak 11:17*; Luk 19:46* c Yer 29:23Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.

127:12 a Yos 18:1 b 1Sa 4:10-11, 22; Zab 78:60-64“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri. 137:13 a 2By 36:15 b Is 65:12 c Yer 35:17Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba. 147:14 1Bk 9:7Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era n’ebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe. 157:15 Zab 78:67Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.

167:16 Kuv 32:10; Ma 9:14; Yer 15:1“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire. 17Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi? 187:18 a Yer 44:17-19 b Yer 19:13 c 1Bk 14:9Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. 197:19 Yer 9:19Naye nze gwe balumya?” bw’ayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”

207:20 Yer 42:18; Kgb 2:3-5Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”

Okugaana Okuwulira Bannabbi

217:21 a Is 1:11; Am 5:21-22 b Kos 8:13“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. 227:22 1Sa 15:22; Zab 51:16; Kos 6:6Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. 237:23 a Kuv 19:5 b Lv 26:12 c Kuv 15:26Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ 247:24 Zab 81:11-12; Yer 11:8Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. 257:25 Yer 25:4Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. 267:26 Yer 16:12Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.

277:27 a Ez 2:7 b Ez 3:7“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 297:29 a Yob 1:20; Is 15:2; Mi 1:16 b Yer 6:30Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”

Ekiwonvu eky’Okufiiramu

307:30 a Ez 7:20-22 b Yer 32:34“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 317:31 a 2Bk 23:10 b Zab 106:38 c Yer 19:5Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 327:32 a Yer 19:6 b Yer 19:11Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 337:33 Ma 28:26Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 347:34 a Is 24:8; Ez 26:13 b Kub 18:23 c Lv 26:34olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 7:1-34

圣殿讲道

1耶和华对耶利米说: 2“你站在耶和华殿的门口这样宣告,‘从这些门进殿敬拜耶和华的犹大人啊,你们要听耶和华的话。 3以色列的上帝——万军之耶和华说,你们改过自新,我便让你们在这里安居。 4你们不要相信那些谎言,说这是耶和华的殿,这是耶和华的殿,这是耶和华的殿。

5“‘如果你们真正改过自新,彼此公平相待, 6不欺压异乡人和孤儿寡妇,不在这地方滥杀无辜,不拜其他神明自取毁灭, 7我便让你们在这块我永远赐给你们祖先的土地上安居。

8“‘然而,你们竟相信那些空洞的谎言。 9你们偷盗、谋杀、通奸、起假誓、向巴力献祭、拜素不认识的神明, 10然后来到这用来敬拜我的殿,站在我面前说自己安全了,以为可以继续做可憎之事。 11难道这用来敬拜我的殿在你们眼中竟成了贼窝?这些事,我都看在眼里。这是耶和华说的。

12“‘你们去我曾选为我名所在之地的示罗,看看我是怎样因我以色列子民的罪而惩罚那地方的。 13我对你们的所作所为一再提出警告,你们却充耳不闻;我呼唤你们,你们却不回应。这是耶和华说的。 14因此,我要像对付示罗一样对付你们所倚靠的这用来敬拜我的殿,对付我赐给你们和你们祖先的土地。 15我要把你们从我面前赶走,好像从前赶走你们的弟兄以法莲7:15 以法莲”此处指“北国以色列”。人一样。’”

16耶和华说:“耶利米啊,不要为这些百姓祷告,不要替他们哀求,不要为他们向我祈求,因为我必不听。 17你没有看见他们在犹大各城和耶路撒冷街道上所做的事吗? 18孩子拾柴,父亲点火,妇人揉面做饼向天后献祭,向别的神明奠酒,惹我发怒。 19耶和华说,‘难道他们是在惹我发怒吗?难道他们不是自害己身,自取羞辱吗?’ 20主耶和华说,‘我要向这地方的人、牲畜、田野的树木和地里的出产发怒,发烈怒,如无法熄灭的火。’”

21以色列的上帝——万军之耶和华说:“你们把平安祭连同燔祭都拿去吃吧! 22因为我把你们祖先带出埃及的时候,并没有吩咐他们献燔祭或其他祭物, 23只吩咐他们,‘你们要听从我的话,我就做你们的上帝,你们做我的子民;你们遵行我的吩咐,就必蒙福。’ 24他们却掩耳不听,一意孤行,任意行恶,越来越坏。 25从你们的祖先离开埃及那天起,一直到今天,我日复一日地差遣我的仆人——众先知到你们那里, 26但你们掩耳不听,顽固不化,比你们的祖先更邪恶。 27耶利米啊,你将这番话告诉他们,他们也不会听;你向他们呼吁,他们也不会回应。 28你要对他们说,‘你们这些国民不听你们上帝耶和华的话,不肯受管教,口中毫无真理。

29“‘你们要剪掉头发,

在光秃的山上哀哭,

因为耶和华已弃绝这惹祂发怒的百姓。’”

30耶和华说:“犹大人做了我视为邪恶的事,把可憎的偶像放在用来敬拜我的圣殿中,玷污了圣殿。 31他们在欣嫩子谷的陀斐特建造丘坛,焚烧自己的儿女。我从未吩咐他们这样做,连想都没想过。这不是我的吩咐,我也从未这样想过。 32因此,看啊,时候将到,那地方必不再叫陀斐特欣嫩子谷,而要叫杀戮谷。那里要埋葬死人,直到无处可埋。这是耶和华说的。 33飞鸟和走兽必吃这百姓的尸体,无人驱赶它们。 34我要使犹大各城和耶路撒冷街上的欢乐声、新郎和新娘的欢笑声全部消失,因为大地必荒凉。”