Yeremiya 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 6:1-30

Abeesigwa Bagambibwa Okudduka

16:1 a 2By 11:6 b Nek 3:14 c Yer 4:6Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!

Mmudduke muve mu Yerusaalemi.

Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,

era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:

kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,

okuzikirira okw’entiisa.

2Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,

omulungi oyo omubalagavu.

36:3 a Yer 12:10 b 2Bk 25:4; Luk 19:43Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.

Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,

buli omu yeezimbire w’ayagala.

46:4 Yer 15:8“Mwetegeke mumulwanyise!

Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!

Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,

n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!

5Tugende, tulumbe kiro

tuzikirize amayumba ge.”

66:6 a Ma 20:19-20 b Yer 32:24Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,

“Muteme emiti mukole entuumo

muzingize Yerusaalemi.

Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,

kubanga kijjudde bujoozi bwerere.

76:7 a Zab 55:9; Ez 7:11, 23 b Yer 20:8Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,

entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.

Obulwadde n’ebiwundu

bye ndaba buli bbanga.

86:8 Ez 23:18; Kos 9:12Nkulabula,

ggwe Yerusaalemi,

emmeeme yange ereme okwawukana naawe,

si kulwa ng’ofuuka amatongo.”

9Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Balisusumbulira ddala n’abo abatono

abaliba basigaddewo mu Isirayiri.

Ddamu oyise omukono mu matabi

ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”

106:10 a Bik 7:51 b Yer 20:8Ndyogera eri ani gwe ndirabula?

Ani alimpuliriza?

Amatu gaabwe gagaddwa

ne batasobola kuwulira.

Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,

tebakisanyukira n’akamu.

116:11 a Yer 7:20 b Yob 32:20; Yer 20:9 c Yer 9:21Kyenva nzijula ekiruyi

sikyasobola kukizibiikiriza.

“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,

ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;

abaami awamu n’abakazi n’abakadde

abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.

126:12 a Ma 28:30 b Yer 8:10; 38:22 c Is 5:25Enju zaabwe

ziritwalibwa abalala,

n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;

kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”

bw’ayogera Mukama.

136:13 a Is 56:11 b Yer 8:10“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,

buli omu alulunkanira kufuna.

Nnabbi ne kabona bonna

boogera eby’obulimba.

146:14 Yer 4:10; 8:11; Ez 13:10Ekiwundu ky’abantu bange

bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.

Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’

So nga tewali mirembe.

156:15 Yer 3:3; 8:10-12Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?

Nedda.

Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.

Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;

balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”

bw’ayogera Mukama.

166:16 a Yer 18:15 b Zab 119:3 c Mat 11:29Kino Mukama ky’agamba nti,

“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.

Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,

era otambulire omwo,

emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.

Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’

176:17 a Ez 3:17 b Yer 11:7-8; 25:4Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,

Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,

naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’

18Kale muwulire,

mmwe amawanga

era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.

196:19 a Is 1:2; Yer 22:29 b Nge 1:31 c Yer 8:9Wuliriza, ggwe ensi:

laba, ndeeta akabi ku bantu bano,

by’ebibala by’enkwe zaabwe,

kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange

n’etteeka lyange baligaanye.

206:20 a Kuv 30:23 b Am 5:22 c Zab 50:8-10; Yer 7:21; Mi 6:7-8 d Is 1:11Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?

Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?

Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,

n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”

216:21 Is 8:14Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;

bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.

Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”

226:22 Yer 1:15; 10:22Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,

“Laba, eggye lijja

eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,

eggwanga ery’amaanyi

liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.

236:23 a Is 13:18 b Yer 4:29Bakutte omutego n’effumu,

abakambwe abatalina kusaasira.

Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,

nga beebagadde embalaasi zaabwe:

bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo

okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”

246:24 a Yer 4:19 b Yer 4:31; 50:41-43Tuwulidde ettutumu lyabwe;

era emikono gyaffe giweddemu amaanyi

okulumwa okunene kutukutte

n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

256:25 Yer 49:29Togeza kugenda mu nnimiro

newaakubadde okutambulira mu kkubo;

kubanga omulabe abunye wonna wonna

n’entiisa ejjudde mu bantu.

266:26 a Yer 4:8 b Yer 25:34; Mi 1:10 c Zek 12:10Kale nno mmwe abantu,

mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;

mukungubage ng’abakaabira

omwana owoobulenzi omu yekka.

Kubanga oyo agenda okuzikiriza

ajja kutugwako mavumbavumba.

276:27 Yer 9:7“Nkufudde ekigezesa

abantu bange n’ekyuma,

osobole okulaba n’okugezesa

amakubo gaabwe.

286:28 a Yer 5:23 b Yer 9:4 c Ez 22:18Bonna bakyewaggula

abakakanyavu abagenda bawaayiriza,

bikomo era kyuma,

bonna boonoonefu.

29Emivubo bagifukuta n’amaanyi,

omuliro gumalawo essasi,

naye balongoosereza bwereere

kubanga ababi tebaggyibwamu.

306:30 Zab 119:119; Yer 7:29; Kos 9:17Baliyitibwa masengere ga ffeeza,

kubanga Mukama abalese.”