Yeremiya 51 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 51:1-64

Ekibonerezo kya Babulooni

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza

alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.

251:2 Is 41:16; Yer 15:7; Mat 3:12Ndituma abagwira e Babulooni

bamuwewe era bazikirize ensi ye;

balimulumba ku buli luuyi

ku lunaku olw’okuzikirira kwe.

351:3 a Yer 50:29 b Yer 46:4Omulasi talikuba busaale bwe,

taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa.

Temusonyiwa batabani be;

muzikiririze ddala amaggye ge.

451:4 a Is 13:15 b Yer 49:26; 50:30Baligwa nga battiddwa e Babulooni,

nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.

551:5 a Is 54:6-8 b Kos 4:1Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa

Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye,

wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango

mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.

651:6 a Yer 50:8 b Kbl 16:26; Kub 18:4 c Yer 50:15 d Yer 25:14“Mudduke Babulooni.

Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.

Temusaanawo olw’ebibi bye.

Kiseera kya Mukama okwesasuza;

alimusasula ekyo ekimusaanira.

751:7 Yer 25:15-16; Kub 14:8-10; 17:4Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;

yatamiiza ensi yonna.

Amawanga gaanywa wayini we,

kyegavudde galaluka.

851:8 a Is 21:9; Kub 14:8 b Yer 46:11Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.

Mukikungubagire.

Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo

oboolyawo anaawonyezebwa.

951:9 a Is 13:14; Yer 50:16 b Kub 18:4-5“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,

naye tayinza kuwonyezeka.

Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,

kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,

gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’

1051:10 a Mi 7:9 b Yer 50:28“ ‘Mukama atulwaniridde,

mujje tukitegeeze mu Sayuuni

ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’ 

1151:11 a Yer 50:9 b Yer 46:4 c nny 28 d Yer 50:45 e Yer 50:28“Muwagale obusaale,

mukwate engabo!

Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi,

kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni.

Mukama aliwalana eggwanga,

aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.

12Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!

Mwongereko abakuumi,

muteekeko abaserikale,

mutegeke okulumba mbagirawo!

Mukama alituukiriza ekigendererwa bye,

ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.

1351:13 a Kub 17:1, 15 b Is 45:3; Kbk 2:9Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,

omugagga mu bintu eby’omuwendo,

enkomerero yo etuuse,

ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.

1451:14 a Am 6:8 b nny 27; Nak 3:15 c Yer 50:15Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;

ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,

era balireekaana nga bakuwangudde.

1551:15 Lub 1:1; Yob 9:8; Zab 104:2“Ensi yagikola n’amaanyi ge;

yagiteekawo n’amagezi ge,

n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.

1651:16 a Zab 18:11-13 b Zab 135:7; Yon 1:4Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;

ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi.

Amyansisa eggulu mu nkuba

era n’aggya empewo mu mawanika ge.

1751:17 Is 44:20; Kbk 2:18-19“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;

Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye.

Ebifaananyi bye bya bulimba;

tebirina mukka.

1851:18 Yer 18:15Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa

ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

19Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,

kubanga yakola ebintu byonna,

nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe,

n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.

2051:20 a Is 10:5 b Mi 4:13“Muli mbazzi yange,

ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,

mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,

mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,

2151:21 Kuv 15:1era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,

ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,

2251:22 2By 36:17; Is 13:17-18era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,

era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,

era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.

2351:23 nny 57Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,

ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,

ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.

2451:24 Yer 50:15“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.

2551:25 Zek 4:7“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,

mmwe abazikiriza ensi yonna,”

bw’ayogera Mukama.

“Ndikugolererako omukono gwange,

nkusuule ku mayinja g’ensozi,

nkufuule olusozi olutakyayaka.

2651:26 nny 29; Is 13:19-22; Yer 50:12Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,

wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,

kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”

bw’ayogera Mukama.

2751:27 a Is 13:2; Yer 50:2 b Yer 25:14 c Lub 8:4 d Lub 10:3“Yimusa bendera mu ggwanga!

Fuuwa omulere mu mawanga!

Tegeka amawanga okumulwanyisa;

koowoola obwakabaka buno bumulumbe:

obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.

Londa omuduumizi amulumba,

weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.

2851:28 nny 11Teekateeka amawanga okumulwanyisa;

bakabaka Abameedi,

bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,

n’amawanga ge bafuga.

2951:29 nny 43; Is 13:20Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,

kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,

okuzikiriza ensi ya Babulooni

waleme kubaawo agibeeramu.

3051:30 a Yer 50:36 b Is 19:16 c Is 45:2; Kgb 2:9; Nak 3:13Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;

basigadde mu bigo byabwe.

Baweddemu amaanyi;

bafuuse nga bakazi.

Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;

emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.

3151:31 2Sa 18:19-31Matalisi omu agoberera omulala,

omubaka omu n’agoberera munne,

okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti

ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,

3251:32 Yer 50:36entindo z’emigga baziwambye,

ensenyi ziyidde omuliro,

n’abaserikale batidde.”

3351:33 a Is 21:10 b Is 17:5; Kos 6:11Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,

mu kiseera w’analinnyiririrwa;

ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”

3451:34 Yer 50:17“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,

atutabudde,

tufuuse ekikompe ekyereere.

Atumize ng’omusota

n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma,

ffe n’atusesema.

3551:35 nny 24; Zab 137:8Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”

bwe boogera abatuula mu Sayuuni.

“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”

bwayogera Yerusaalemi.

3651:36 a Zab 140:12; Yer 50:34; Kgb 3:58 b nny 6; Bar 12:19 c Yer 50:38Mukama kyava ayogera nti,

“Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga;

Ndikaliza ennyanja ye

n’ensulo ze.

3751:37 a Is 13:22; Kub 18:2 b Yer 50:13, 39Babulooni kirifuuka bifunvu,

mpuku ya bibe,

ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa,

ekifo omutali abeeramu.

38Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,

bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.

3951:39 nny 57Naye nga bakyabuguumirira,

ndibategekera ekijjulo,

mbatamiize

balyoke balekaane nga baseka,

olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,”

bw’ayogera Mukama.

40“Ndibaserengesa

ng’abaana b’endiga, battibwe,

ng’endiga n’embuzi.

4151:41 a Yer 25:26 b Is 13:19“Sesaki nga kiriwambibwa,

okujaguza kw’ensi yonna kugwewo.

Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!

4251:42 Is 8:7Ennyanja eribuutikira Babulooni;

amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.

4351:43 nny 29, 62; Is 13:20; Yer 2:6Ebibuga bye birisigala matongo,

ensi enkalu ey’eddungu,

ensi eteriimu muntu,

eteyitamu muntu yenna.

4451:44 a Is 46:1 b nny 34 c nny 58; Yer 50:15Ndibonereza Beri mu Babulooni,

mmusesemye bye yali amize.

Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.

Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.

4551:45 a Kub 18:4 b nny 6; Is 48:20; Yer 50:8“Mukiveemu, abantu bange!

Mudduke muwonye obulamu bwammwe!

Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.

4651:46 a Yer 46:27 b 2Bk 19:7Temutya wadde okuggwaamu amaanyi

ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi;

olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja,

eŋŋambo z’entalo mu ggwanga,

era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.

4751:47 a nny 52; Is 46:1-2; Yer 50:2 b Yer 50:12Kubanga ekiseera kijja

lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;

ensi eyo yonna eritabanguka,

n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.

4851:48 a Is 44:23; Kub 18:20 b nny 11Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu

birireekana olw’essanyu olwa Babulooni,

abalimuzikiriza balimulumba

okuva mu bukiikakkono,”

bw’ayogera Mukama.

4951:49 Zab 137:8; Yer 50:29“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,

nga bonna abaafa mu nsi yonna

bwe baweddewo olwa Babulooni.

5051:50 a nny 45 b Zab 137:6Mmwe abawonye ekitala,

mwanguwe okugenda!

Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala,

mulowooze ku Yerusaalemi.”

5151:51 a Zab 44:13-16; 79:4 b Kgb 1:10“Tuweddemu amaanyi

kubanga tuvumiddwa

era tukwatiddwa ensonyi,

kubanga abagwira bayingidde

mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”

5251:52 nny 47“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,

“lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,

era mu nsi ye yonna,

abaliko ebisago balisinda.

5351:53 a Lub 11:4; Is 14:13-14 b Yer 49:16Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire

era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,

ndimusindikira abazikiriza,”

bw’ayogera Mukama.

5451:54 Yer 50:22“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,

eddoboozi ery’okuzikirira okunene

okuva mu nsi y’Abakaludaaya.

5551:55 Zab 18:4Mukama alizikiriza Babulooni,

alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.

Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;

okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.

5651:56 a nny 48 b Zab 46:9 c Zab 46:6; 94:1-2; Kbk 2:8Omuzikiriza alirumba Babulooni;

abalwanyi be baliwambibwa,

n’emitego gyabwe girimenyebwa.

Kubanga Mukama Katonda asasula,

alisasula mu bujjuvu.

5751:57 a Zab 76:5; Yer 25:27 b Yer 46:18; 48:15Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,

ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;

balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”

bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.

5851:58 a nny 44 b nny 64 c Kbk 2:13Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa

era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;

abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,

okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”

5951:59 a Yer 36:4 b Yer 52:1 c Yer 28:1Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. 6051:60 Yer 30:2; 36:2Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. 61Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. 6251:62 Is 13:20; Yer 50:13, 39Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ 63Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. 6451:64 a nny 58 b Yob 31:40Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”

Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.