Yeremiya 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 5:1-31

Tewali n’Omu mugolokofu

15:1 a 2By 16:9; Ez 22:30 b Lub 18:32 c Lub 18:24“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,

tunulatunula olabe,

noonya wonna we bakuŋŋaanira,

bw’onoosanga omuntu omu bw’ati

omwesimbu ow’amazima,

nnaasonyiwa ekibuga kino.

25:2 Yer 4:2Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’

baba balayirira bwereere.”

35:3 a 2By 16:9 b Is 9:13 c Yer 2:30; Zef 3:2 d Yer 7:26; 19:15; Ez 3:8-9Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?

Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,

naye ne bagaana okukangavvulwa.

Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;

era bagaanyi okwenenya.

45:4 Yer 8:7Ne njogera nti,

“Bano baavu abasirusiru.

Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama,

amateeka ga Katonda waabwe.

55:5 a Mi 3:1, 9 b Zab 2:3; Yer 2:20Kale ndigenda eri abakulembeze

njogere nabo;

Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama,

amateeka ga Katonda waabwe.”

Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo

nga baakutula ebisiba.

65:6 a Kos 13:7 b Yer 30:14Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,

n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.

Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,

buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;

Kubanga ebibi byabwe bingi,

okudda ennyuma kunene.

75:7 a Yos 23:7; Zef 1:5 b Ma 32:21; Yer 2:11; Bag 4:8 c Kbl 25:1“Mbasonyiwe ntya?

Abaana bammwe banvuddeko,

ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.

Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,

ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.

85:8 Yer 29:23; Ez 22:11Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,

buli muntu ng’akaayanira muka munne.

95:9 nny 29; Yer 9:9Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?

bw’ayogera Mukama,

Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi

efaanana bw’etyo?”

Ekiragiro ky’Okulumba Yuda

105:10 Yer 4:27“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,

naye togimalirawo ddala.

Giggyeeko amatabi gaagyo,

kubanga si bantu ba Mukama.

115:11 Yer 3:20Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda

zifuukidde ddala njeemu gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

125:12 a Yer 23:17 b 2By 36:16; Yer 14:13Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti,

“Talina kyajja kukola,

tewali kabi kanaatugwako,

era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.

135:13 Yer 14:15Bannabbi mpewo buwewo

era ekigambo tekibaliimu;

noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”

145:14 a Yer 1:9; Kos 6:5 b Yer 23:29Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti,

“Kubanga abantu boogedde ebigambo bino,

ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro,

n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.

155:15 a Ma 28:49; Is 5:26; Yer 4:16 b Is 28:11Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,

ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.

Ensi eyaguma ey’edda,

abantu ab’olulimi lwe mutamanyi

aboogera bye mutategeera

16omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,

bonna balwanyi nnamige.

175:17 a Lv 26:16; Yer 8:16 b Ma 28:32; Yer 50:7, 17 c Ma 28:31 d Ma 28:33Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;

balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe;

balye emizabbibu n’emitiini gyammwe,

ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.

185:18 Yer 4:27Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo. 195:19 a Ma 29:24-26; 1Bk 9:9 b Yer 16:13 c Ma 28:48Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’

20“Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,

kirangirire mu Yuda.

215:21 a Is 6:10; Ez 12:2 b Mat 13:15; Mak 8:18Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,

abalina amaaso naye nga tebalaba,

abalina amatu naye nga tebawulira.

225:22 Ma 28:58Temuntya?” bw’ayogera Mukama;

“temunkankanira?

Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,

olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;

wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,

gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.

235:23 Ma 21:18Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.

Bajeemye banvuddeko.

245:24 a Zab 147:8; Yo 2:23 b Lub 8:22; Bik 14:17Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba,

eya ddumbi n’eya ttoggo,

mu ntuuko zaayo;

atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ”

25Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese

ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.

265:26 Zab 10:8; Nge 1:11“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;

abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.

Batega abantu omutego.

275:27 a Yer 9:6 b Yer 12:1Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,

enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.

Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,

ne bagejja era ne banyirira.

285:28 a Ma 32:15 b Zek 7:10 c Is 1:23; Yer 7:6Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,

abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,

era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.

29Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”

bw’ayogera Mukama.

“Nneme okwesasuza ku ggwanga

eriri nga eryo?

305:30 Yer 23:14; Kos 6:10“Ekigambo eky’ekitalo

era eky’ekivve kigudde mu nsi:

315:31 Ez 13:6; Mi 2:11Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,

bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.

Naye ku nkomerero

munaakola mutya?”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 5:1-31

耶路撒冷的罪

1耶和华说:

“你们在耶路撒冷街头四处看看,

在广场找找,

如果你们能找到一个公正诚实的人,

我就赦免这城。

2虽然他们凭永活的耶和华起誓,

却口是心非。”

3耶和华啊,你要的不是诚实吗?

你责打他们,他们不感到疼痛;

你严惩他们,他们仍不受教。

他们屡教不改,

脸比石头还硬。

4我想:“他们贫穷、愚昧,

不明白他们上帝耶和华的道,

也不知道祂的法令。

5我要找他们的首领说话,

因为这些首领明白耶和华的道,

知道他们上帝的法令。”

然而,他们却一致违背耶和华的律法,

不服从祂的法令。

6因此,林中的狮子必袭击他们,

荒野的豺狼必残害他们,

豹子也蹲伏在他们的城外,

伺机撕裂出城的人,

因为他们罪大恶极,屡屡叛道。

7耶和华说:

耶路撒冷啊,我怎能赦免你呢?

你的儿女背弃我,

凭假神起誓。

我供应他们的一切需要,

他们却纵情淫乱,

涌向娼妓的家。

8他们像吃得肥壮、发情的公马,

垂涎邻居的妻子。

9我怎能不惩罚他们呢?

我怎能不亲自报应这样的国民呢?

这是耶和华说的。

10你们要去毁坏她的葡萄园,

但不可彻底毁坏。

要砍掉枝子,

因为那些枝子不属于耶和华。

11以色列人和犹大人根本不忠于我。

这是耶和华说的。

12“他们撒谎说,

‘耶和华不会管我们,

我们必不会遇到灾祸、战争和饥荒。

13先知的话不过是一阵风,

不是来自上帝,

他们预言的灾祸必降临到自己身上。’”

14因此,万军之上帝耶和华对我说:

“因为他们说了这话,

我要使我的话在你口中成为火,

使他们像柴一样被烧毁。

15以色列人啊,我要使一个国家,

一个历久不衰的古国从远方来攻击你们,

你们不明白他们的语言,

也听不懂他们说的话。

这是耶和华说的。

16他们都是勇士,

他们的弓箭杀人无数。

17他们必吞噬你们的儿女、牛羊、

粮食、葡萄和无花果,

用刀剑摧毁你们所依靠的坚城。”

18耶和华说:“即使在那时,我也不会彻底毁灭你们。 19耶利米啊,如果有人问,‘为什么我们的上帝耶和华这样待我们?’你可以对他们说,‘你们怎样背弃耶和华,在自己的土地上供奉外族的神明,也要怎样在异地他乡服侍外族人。’

20“要在犹大雅各家高声宣布,

21‘听着,你们这群愚昧无知的人啊,

你们视而不见,

听而不闻。

22难道你们不敬畏我吗?

这是耶和华说的。

难道你们在我面前不颤抖吗?

我以沙石为海的界限,

使水永远不能越过它。

汹涌的波涛不能逾越,

澎湃的海浪不能漫过。

23但你们这些人顽固不化,

悖逆成性。

你们离我而去。

24你们心中从未说,

我们要敬畏我们的上帝耶和华,

祂按时降下秋雨和春雨,

让我们按时收割。

25你们的罪过使你们不再风调雨顺,

你们的罪恶使你们失去祝福。’

26我的子民中有恶人,

他们像捕鸟人一样埋伏等候,

设下网罗陷害人。

27他们的家里充满了诡诈,

就像笼子装满了鸟。

他们变得有财有势,

28吃得肥胖红润,

坏事做尽,不为孤儿申冤,

不为穷人主持公道。”

29耶和华说:“我怎能坐视不理呢?

我怎能不惩罚这样的国家呢?

30这地方发生了一件令人震惊、恐惧的事,

31就是先知说假预言,

祭司滥用权力,

我的子民却以此为乐。

但当最后的结局来临时,

他们还能做什么呢?