Yeremiya 49 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 49:1-39

Obubaka Obukwata ku Amoni

149:1 Am 1:13; Zef 2:8-9Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Isirayiri terina baana balenzi?

Terina basika?

Lwaki Malukamu atutte Gaadi?

Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?

249:2 a Yer 4:19 b Ma 3:11 c Is 14:2; Ez 21:28-32; 25:2-11Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,

“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo

ku Labba eky’abawala ba Amoni.

Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,

n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.

Isirayiri eryoke egobere ebweru

abo abagigoba,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

349:3 a Yos 8:28 b Yer 48:7“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!

Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!

Mwesibe ebibukutu mukungubage.

Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,

kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,

awamu ne bakabona n’abakungu.

449:4 a Yer 9:23; 1Ti 6:17 b Yer 21:13Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,

ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?

Ggwe omuwala atali mwesigwa,

weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,

‘Ani alinnumba?’

5Ndikuleetako entiisa,

okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”

bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.

“Buli omu ku mmwe aligobebwa,

era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.

649:6 nny 39; Yer 48:47“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

Obubaka obukwata ku Edomu

749:7 a Lub 25:30; Ez 25:12 b Lub 36:11, 15, 34Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?

Abeegendereza babuliddwa okutegeera?

Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?

849:8 Yer 25:23Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala

mmwe abatuuze b’e Dedani,

kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,

mu kiseera bwe ndimubonerereza.

9Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,

tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?

Singa ababbi bazze ekiro,

tebandibbye byonna bye beetaaga?

1049:10 Mal 1:2-5Naye ndyambula Esawu mwerule;

ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,

aleme kwekweka.

Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,

era wa kuggwaawo.

1149:11 Kos 14:3Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.

Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”

1249:12 a Yer 25:15 b Yer 25:28-29Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 1349:13 a Lub 22:16 b Lub 36:33; Is 34:6Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.

Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,

“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!

Mugolokoke mukole olutalo!”

15“Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,

abanyoomebwa mu bantu.

1649:16 Yob 39:27; Am 9:2Entiisa gy’oleeta

n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,

mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,

mmwe ababeera waggulu mu nsozi.

Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,

ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

1749:17 a nny 13 b Yer 50:13; Ez 35:7“Edomu kirifuuka kyerolerwa,

abo bonna abayitawo balyewuunya batye

olw’ebiwundu bye byonna.

1849:18 a Lub 19:24; Ma 29:23 b nny 33Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,

wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,

“tewaliba n’omu abibeeramu;

tewali musajja alikituulamu.

1949:19 a Yer 12:5 b Yer 50:44“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani

okugenda mu muddo omugimu,

ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.

Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?

Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?

Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”

2049:20 a Is 14:27 b Yer 50:45Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,

kyategekedde abo abatuula mu Temani.

Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,

alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.

2149:21 a Ez 26:15 b Yer 50:46; Ez 26:18Bwe baligwa ensi erikankana,

emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.

2249:22 a Kos 8:1 b Is 13:8; Yer 48:40-41Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,

n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.

Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu

giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.

Obubaka ku Damasiko

2349:23 a Lub 14:15; 2By 16:2; Bik 9:2 b Is 10:9; Am 6:2; Zek 9:2 c 2Bk 18:34 d Lub 49:4; Is 57:20Ebikwata ku Damasiko:

“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,

kubanga biwulidde amawulire amabi.

Bakeŋŋentereddwa,

batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.

24Ddamasiko ayongobedde,

akyuse adduke

era okutya kumukutte;

obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,

obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.

25Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,

ekibuga mwe nsanyukira?

2649:26 Yer 50:30Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,

n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”

bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

2749:27 a Yer 43:12; Am 1:4 b 1Bk 15:18“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;

gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”

Obubaka ku Kedali ne Kazoli

2849:28 a Lub 25:13 b Bal 6:3Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Golokoka, olumbe Kedali

ozikirize abantu be bugwanjuba.

2949:29 Yer 6:25; 46:5Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;

enju zaabwe ziryetikkibwa

n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.

Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,

‘Akabi kavudde ku buli ludda!’

30“Mudduke mwekukume mangu!

Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;

ategese okubalumba.

3149:31 Ez 38:11“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,

eriri mu kweyagala,”

bw’ayogera Mukama Katonda,

“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;

abantu baalyo babeera awo bokka.

3249:32 Yer 9:26Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,

n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.

Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,

mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

3349:33 a Yer 10:22 b nny 18; Yer 51:37“Kazoli alifuuka kifo kya bibe,

ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.

Tewali alikibeeramu;

tewali muntu alikituulamu.”

Obubaka ku Eramu

3449:34 a Lub 10:22 b 2Bk 24:18Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.

3549:35 Is 22:6Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,

amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.

3649:36 nny 32Era ndireeta ku Eramu empewo ennya,

okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;

ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,

era tewaliba nsi n’emu

abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.

3749:37 a Yer 30:24 b Yer 9:16Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,

mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;

ndibatuusaako ekikangabwa,

n’obusungu bwange obungi ennyo,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

“Ndibawondera n’ekitala

okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.

38Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu

era nzikirize kabaka we n’abakungu be,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

3949:39 Yer 48:47“Wabula ekiseera kijja,

lwe ndiddiramu Eramu,”

bw’ayogera Mukama Katonda.