Yeremiya 48 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 48:1-47

Obubaka Obukwata ku Mowaabu

148:1 a Kbl 32:38 b Kbl 32:37Ebikwata ku Mowaabu:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,

Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,

ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.

248:2 a Is 16:14 b Kbl 21:25Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;

mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,

‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’

Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,

n’ekitala kirikugoberera.

348:3 Is 15:5Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,

okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.

4Mowaabu alimenyebwa;

abawere ne bakaaba.

548:5 Is 15:5Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,

nga bwe bakungubaga

ku luguudo olugenda e Kolonayimu,

emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.

648:6 Yer 17:6Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;

mubeere ng’ebisaka mu ddungu.

748:7 a Kbl 21:29 b Is 46:1-2; Yer 49:3Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,

nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,

ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse

awamu ne bakabona be n’abakungu be.

8Omuzikiriza alirumba buli kibuga,

era tewali kibuga kiriwona.

Ekiwonvu kiryonoonebwa

n’olusenyu luzikirizibwe

kubanga Mukama ayogedde.

9Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende

kubanga alifuuka matongo,

ebibuga bye birizikirizibwa,

nga tewali abibeeramu.

1048:10 a Yer 47:6 b 1Bk 20:42; 2Bk 13:15-19“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.

Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.

1148:11 a Zek 1:15 b Zef 1:12“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,

nga wayini gwe batasengezze,

gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,

tagenzeko mu buwaŋŋanguse.

Kale awooma ng’edda,

n’akawoowo ke tekakyukanga.

12Naye ennaku zijja,”

bw’ayogera Mukama Katonda,

“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,

era balimuyiwa ebweru;

balittulula ensuwa ze

baase n’ebibya bye.

1348:13 Kos 10:6Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,

ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala

bwe yeesiga Beseri.

1448:14 Zab 33:16“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,

abasajja abazira mu ntalo?’

1548:15 a Yer 50:27 b Yer 46:18 c Yer 51:57Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;

abavubuka be abato bagende battibwe,”

bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.

1648:16 Is 13:22“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;

akabi katuuse.

17Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,

mwenna abamanyi ettutumu lye;

mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,

ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’ 

1848:18 a Is 47:1 b Kbl 21:30; Yos 13:9 c nny 8“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe

mutuule ku ttaka,

mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,

kubanga oyo azikiriza Mowaabu

alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.

1948:19 Ma 2:36Muyimirire ku luguudo mulabe,

mmwe ababeera mu Aloweri.

Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,

mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’

2048:20 a Is 16:7 b Kbl 21:13Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.

Mukaabe muleekaane!

Mulangiririre mu Alunoni

nti Mowaabu kizikiridde.

2148:21 a Kbl 21:23; Is 15:4 b Yos 13:18Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi

ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,

2248:22 Yos 13:9, 17ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,

2348:23 Yos 13:17ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;

2448:24 Am 2:2ne ku Keriyoosi ne ku Bozula

ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.

2548:25 a Zab 75:10 b Zab 10:15; Ez 30:21Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,

n’omukono gwe gumenyese,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

2648:26 Yer 25:16, 27“Mumutamiize;

kubanga ajeemedde Mukama.

Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,

era asekererwe.

2748:27 a Yer 2:26 b Yob 16:4; Yer 18:16 c Mi 7:8-10Isirayiri tewagisekereranga?

Baali bamukutte mu bubbi,

olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera

buli lw’omwogerako?

2848:28 a Zab 55:6-7 b Bal 6:2Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,

mmwe ababeera mu Mowaabu.

Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo

ku mumwa gw’empuku.

2948:29 Yob 40:12; Is 16:6“Tuwulidde amalala ga Mowaabu

amalala ge agayitiridde n’okwemanya,

okwewulira kwe era n’okweyisa kwe

era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.

30Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,

“okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.

3148:31 a Is 15:5-8 b 2Bk 3:25Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,

olwa Mowaabu yenna nkaaba,

nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.

3248:32 Is 16:8-9Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,

ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.

Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;

gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.

Omuzikiriza agudde ku bibala byo

ebyengedde era n’emizabbibu.

3348:33 a Is 16:10 b Yo 1:12Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro

ne ku bibanja bya Mowaabu.

Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;

tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.

Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,

okuleekaana okwo si kwa ssanyu.

3448:34 a Kbl 32:3 b Is 15:4 c Lub 13:10 d Is 15:5 e Is 15:6“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye

okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.

Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,

kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.

3548:35 a Is 15:2; 16:12 b Yer 11:13Ndiggyawo

abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,

ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.

3648:36 a Is 16:11 b Is 15:7“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;

gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.

Obugagga bwe baafuna buweddewo.

3748:37 a Is 15:2; Yer 41:5 b Lub 37:34Buli mutwe mumwe

na buli kirevu kisaliddwako;

buli mukono gutemeddwako

na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.

3848:38 Yer 22:28Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu

ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,

tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,

kubanga njasizzayasizza Mowaabu

ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.

39“Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!

Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!

Mowaabu afuuse kyakusekererwa,

ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”

4048:40 a Ma 28:49; Kbk 1:8 b Is 8:8Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:

“Laba! Empungu ekka,

ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.

4148:41 Is 21:3Ebibuga birikwatibwa

n’ebigo biwambibwe.

Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu

giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.

4248:42 a Zab 83:4; Is 16:14 b nny 2 c nny 26Mowaabu alizikirizibwa,

kubanga yajeemera Mukama.

4348:43 Is 24:17Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,

mmwe abantu ba Mowaabu,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

4448:44 a 1Bk 19:17; Is 24:18 b Yer 11:23“Buli alidduka entiisa

aligwa mu bunnya,

n’oyo aliba avudde mu bunnya

alikwatibwa omutego;

kubanga ndireeta ku Mowaabu

omwaka gw’okubonaabona kwe,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

4548:45 a Kbl 21:21, 26-28 b Kbl 24:17“Mu kisiikirize kya Kesuboni,

abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,

kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,

ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,

era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,

n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.

4648:46 Kbl 21:29Zikusanze ggwe, Mowaabu.

Abantu b’e Kemosi bazikiridde,

batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse

ne bawala bammwe mu busibe.

4748:47 Yer 12:15; 49:6, 39“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu

mu nnaku ezijja,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 48:1-47

关于摩押的预言

1论到摩押以色列的上帝——万军之耶和华说:

尼波大祸临头了!

它必被毁灭;

基列亭必蒙羞沦陷,

堡垒必蒙羞被毁。

2摩押不再受称赞,

敌人在希实本图谋害她,说,

‘来吧!我们铲除这个国家。’

玛得缅啊,你也将被敌人追杀,

变得死寂无声。

3“从何罗念传来呼喊声,

‘荒凉了!毁灭了!’

4摩押灭亡了,

她的孩童放声哀哭。

5摩押人痛哭着走上鲁希坡

他们在何罗念的山坡下听见悲惨的哀号。

6逃命吧!藏到旷野去吧!

7摩押啊,你要被攻占,

因为你倚仗自己的成就和财富。

你的神明基抹及供奉它的祭司和官长都要被掳去。

8所有的城邑必被毁灭,

无一幸免;

山谷遭践踏,

平原被蹂躏。

这是耶和华说的。

9“给摩押翅膀让她飞走吧48:9 给摩押翅膀让她飞走吧,”或译作“给摩押竖起墓碑吧,因为她将被毁灭”或“在摩押撒盐吧,因为她将被毁灭”。

因为她的城邑将沦为废墟,

杳无人迹。

10不殷勤地为耶和华做工,

不挥刀斩杀摩押人的必受咒诅。

11摩押自幼常享安逸,

从未被掳到别处,

好像沉淀的酒没有被从这缸倒到那缸,

味道依旧,香气未变。

12“不过,看啊,时候将到,我要派倒酒的人去把她倒出来,倒空酒缸,把缸打碎。这是耶和华说的。 13摩押人必因他们的神明基抹而羞愧,就像以色列人因信靠伯特利的神像而羞愧一样。

14摩押人啊,

你们怎能自称为骁勇善战的英雄呢?

15摩押要灭亡了,

她的城邑要被摧毁,

她最勇敢的青年将被杀戮。

这是名叫万军之耶和华的君王说的。

16摩押快要被毁灭了,

灾难就要来临。

17她的近邻和知道她名望的人啊,

你们都要为她哀悼,

‘那强大、辉煌的权势竟然崩溃了!’

18底本的居民啊,

你们要从荣耀的位子上下来,

坐在干旱的地上,

因为毁灭摩押的要来攻击你们,

摧毁你们的堡垒。

19亚罗珥的居民啊!

你们要站在路旁观望,

询问逃难的男女究竟发生了什么事。

20你们会得知摩押沦陷了,

她羞愧难当。

你们哀伤痛哭吧!

你们要在亚嫩河边宣告,

摩押灭亡了!’

21“审判降临在平原上的何伦雅杂米法押22底本尼波伯·低比拉太音23基列亭伯·迦末伯·米恩24加略波斯拉摩押各地的城邑。 25摩押的权势被粉碎了,她的力量被摧毁了。这是耶和华说的。

26“你们要灌醉她,因为她藐视耶和华。她必在自己的呕吐物中打滚,被人耻笑。 27摩押啊,你不是曾经嘲笑以色列吗?以色列难道是强盗吗?你每次谈到她总是不屑地摇头。

28摩押人啊,

你们要离开城邑,住到岩洞里,

像鸽子在岩缝里筑巢一样。

29我们听说摩押人傲气冲天,

他们狂妄自大、心中高傲。

30我知道狂傲的摩押不过是外强中干,

她的夸耀不过是虚张声势。

这是耶和华说的。

31因此,我要为她哀号,

摩押人痛哭,

吉珥·哈列设人悲伤。

32西比玛的葡萄树啊,

我为你们比为雅谢人哭得更悲痛!

你们的枝条虽然延伸到大海,

一直到雅谢

但毁灭者已在蹂躏你们夏日的果子了!

33摩押的沃土上再没有欢喜快乐的声音。

我使榨酒池不出酒,

再没有踩踏葡萄的欢呼声,

欢呼被呐喊取代。

34“哀哭声从希实本传到以利亚利雅杂,又从琐珥传到何罗念伊基拉·施利施亚,因为连宁林的水也干涸了。” 35耶和华说:“我要灭绝摩押那些在丘坛献祭和向假神烧香的人。 36我的心为摩押悲鸣,好像凄凉的箫声;我的心为吉珥·哈列设人悲鸣,他们的一切财富都消失了。 37他们都悲哀地剃去发须,割伤双手,腰束麻布。 38摩押境内的屋顶和街头巷尾,哀声处处可闻,因为我已把摩押打得粉碎,好像打碎没人要的器皿。这是耶和华说的。 39摩押破碎不堪!她嚎啕痛哭,羞愧难当,令四围的人嗤笑、惊惧。”

40耶和华说:

“看啊,敌人必像展翅疾飞的大鹰一样来攻击摩押

41他们要攻取城池,占领堡垒。

那时,摩押的勇士像临盆的妇人一样心惊胆战。

42摩押必被摧毁,彻底灭亡,

因为她藐视耶和华。

43摩押人啊!

你们要充满恐惧,

陷入深坑和网罗。

这是耶和华说的。

44逃过惊恐的必落入深坑,

爬出深坑的必陷入网罗,

因为我惩罚摩押的时候到了。

这是耶和华说的。

45“逃难的人来到希实本

无助地站着,

因为希实本烈焰熊熊,

西宏的城火光冲天,

烧毁了摩押和其中的叛逆之人。

46基抹神明的摩押人啊,

你们有祸了!

你们灭亡了!

你们的儿女都被掳去了。

47但将来,我要使你们重整家园。

这是耶和华说的。”

摩押的审判到此为止。