Yeremiya 45 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 45:1-5

Obubaka eri Baluki

145:1 a Yer 32:12; 36:4, 18, 32 b 2By 36:5Kino kye kigambo nnabbi Yeremiya kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baluki amaze okuwandiika ku muzingo nti, 2“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri gy’oli, ggwe Baluki nti, 345:3 Zab 69:3Wagamba nti, ‘Zinsanze. Mukama Katonda agasse ennaku ku bulumi bwange; mpweddemu endasi era zijjudde okusinda n’obutawummula.’ ” 445:4 a Yer 11:17 b Is 5:5-7; Yer 18:7-10Mukama yagamba nti, “Mugambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndimenya bye nazimba, nkuule bye nasimba, mu ggwanga lyonna. 545:5 a Mat 6:25-27, 33 b Yer 21:9; 38:2; 39:18Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bw’ayogera Mukama Katonda, naye buli gy’olaga nnaakuyambanga osigale ng’oli mulamu.’ ”