Yeremiya 42 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 42:1-22

142:1 a Yer 40:13; 41:11 b Yer 6:13; 44:12Awo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira 242:2 a Yer 36:7; Bik 8:24; Yak 5:16 b Is 1:9 c Lv 26:22; Kgb 1:1nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo. 342:3 Zab 86:11; Nge 3:6Saba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”

442:4 a Kuv 8:29; 1Sa 12:23 b 1Bk 22:14; 1Sa 3:17Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”

542:5 Lub 31:50Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba. 642:6 a Ma 5:29; 6:3; Yer 7:23 b Kuv 24:7; Yos 24:24Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”

7Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya. 842:8 nny 1N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu. 942:9 2Bk 22:15N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti, 1042:10 a Yer 24:6 b Yer 31:28 c Ez 36:36 d Yer 18:8‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako. 1142:11 a Yer 27:11 b Kbl 14:9 c Is 43:5 d Yer 1:8; Bar 8:31Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo. 1242:12 Zab 106:44-46Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’

1342:13 Yer 44:16“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe. 1442:14 Kbl 11:4-5Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’ 15kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, 1642:16 Ez 11:8olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. 1742:17 nny 22; Yer 44:13Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ 1842:18 a Ma 29:18-20; Yer 7:20 b 2By 36:19; Yer 39:1-9 c Yer 29:18 d Yer 22:10Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

1942:19 Ma 17:16; Is 30:7“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero 2042:20 nny 2nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’ 2142:21 Ez 2:7; Zek 7:11-12Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba. 2242:22 a nny 17; Ez 6:11 b Kos 9:6Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”

New Russian Translation

Иеремия 42:1-22

1Все полководцы вместе с Иохананом, сыном Кареаха, и Иезанией42:1 В других рукописях: «Азарией» (ср. 43:1). Возможно, что Иезания было вторым именем Азарии., сыном Гошаи, и весь народ, от малого до великого, подошли 2к пророку Иеремии и сказали ему:

– Просим тебя, выслушай нашу просьбу и помолись Господу, твоему Богу, за всех этих уцелевших. Ведь ты сам видишь, как нас, некогда многочисленных, осталось мало. 3Помолись, чтобы Господь, твой Бог, сказал, куда нам идти и что делать.

4– Хорошо, – ответил пророк Иеремия. – Я помолюсь Господу, вашему Богу, как вы просили, и все, что скажет мне Господь, я перескажу вам, ничего не утаив.

5А они сказали Иеремии:

– Пусть Господь будет истинным и верным свидетелем против нас, если мы не сделаем всего, что Господь, твой Бог, посылает тебя сказать нам. 6Будь то нам во благо или во зло – мы будем послушны Господу, нашему Богу, к Которому мы посылаем тебя, чтобы нам обрести благо за то, что мы будем слушаться Господа, нашего Бога.

7Спустя десять дней к Иеремии было слово Господа. 8Он созвал Иоханана, сына Кареаха, всех полководцев, которые были при нем, и весь народ, от малого до великого. 9Он сказал им:

– Так говорит Господь, Бог Израиля, к Которому вы посылали меня со своей просьбой: 10«Если вы останетесь в этой стране, Я буду созидать вас, а не разрушать; Я насажу вас, а не искореню, – ведь Я скорблю о зле, которое Я вам причинил. 11Не бойтесь царя Вавилона, которого вы боитесь. Не бойтесь его, – возвещает Господь, – потому что Я с вами, и Я спасу вас и избавлю от него. 12Я помилую вас, и он явит вам милость и вернет вас в вашу землю».

13Но если вы скажете: «Мы не останемся в этой стране» – и ослушаетесь Господа, вашего Бога, 14если вы скажете: «Нет, мы уйдем и будем жить в Египте, где не увидим войны, не услышим зова рога и не будем голодать», 15то слушайте слово Господа, вы, остаток Иудеи. Так говорит Господь Сил, Бог Израиля: «Если вы решите идти в Египет и пойдете, чтобы поселиться там, 16то меч, которого вы боитесь, настигнет вас там, а голод, которого вы боитесь, устремится за вами в Египет, и там вы умрете. 17Так будет: все, кто решит идти в Египет, чтобы поселиться там, умрут от меча, голода и мора; никто из них не уцелеет и не спасется от беды, которую Я на них нашлю». 18Так говорит Господь Сил, Бог Израиля: «Как Мой гнев и негодование обрушились на тех, кто жил в Иерусалиме, так Мой гнев обрушится и на вас, когда вы войдете в Египет. Вы будете проклятием и ужасом, порицанием и презрением, и вы никогда больше не увидите этой страны».

19Господь говорит вам, остаток Иудеи: «Не ходите в Египет». Будьте уверены в том, что сегодня я вас предупредил: 20вы совершили страшную ошибку, когда вы сами послали меня к Господу, нашему Богу, сказав: «Помолись о нас Господу, нашему Богу, и перескажи нам все, что Господь, наш Бог, скажет, и мы это исполним». 21Сегодня я все пересказал вам, но вы все-таки ослушались Господа, вашего Бога, во всем, что Он послал меня сказать вам. 22Так знайте же: вы умрете от меча, голода и мора в том краю, куда вы хотите идти, чтобы поселиться.