Yeremiya 41 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 41:1-18

141:1 Yer 40:8Mu mwezi ogw’omusanvu Isimayiri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisaama, omu ku balangira ate nga ye omu ku bakulu b’eggye lya Yuda n’ajja n’abasajja kkumi eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa. Bwe baali nga balya, 241:2 a Zab 41:9; 109:5 b Yer 40:5 c 2Sa 3:27; 20:9-10Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja ekkumi abaali naye ne bayimuka ne batta Gedaliya, mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, n’ekitala, gavana, kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga mu nsi. 3Isimayiri n’atta n’Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, n’abaserikale Abakaludaaya abaaliyo.

4Olunaku olwaddirira Gedaliya ng’amaze okuttibwa, nga tewannabaawo akimanyiiko, 541:5 a Lv 19:27 b Lub 33:18; Bal 9:1-57; 1Bk 12:1 c Yos 18:1 d 1Bk 16:24 e 2Bk 25:9abasajja kinaana abaali beemwedde ebirevu, nga bayuzizza engoye zaabwe era nga beesazeesaze, bajja okuva e Sekemu, ne Siiro ne Samaliya, nga baleese ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’obubaane eby’omu nnyumba ya Mukama. 641:6 2Sa 3:16Isimayiri omwana wa Nesaniya n’ava e Mizupa okubasisinkana ng’agenda bw’akaaba. Bwe yabatuukako, n’abagamba nti, “Mujje eri Gedaliya omwana wa Akikamu.” 7Bwe baatuuka mu kibuga, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be ne batta abamu ku basajja abo, ne babasuula mu kinnya. 841:8 Is 45:3Naye kkumi ku bo ne bagamba Isimayiri nti, “Totutta! Tulina eŋŋaano ne sayiri, n’omuzigo, n’omubisi gw’enjuki, tubikwese mu nnimiro.” Awo ne babaleka ne batabattira wamu na bali abalala. 941:9 a 1Bk 15:22; 2By 16:6 b Bal 6:2 c 2By 16:1Ekinnya mwe baasuula emirambo gy’abasajja bonna be battira awamu ne Gedaliya, kye kiri kabaka Asa kye yali asimye ng’alwanyisa Baasa kabaka wa Isirayiri. Isimayiri mutabani wa Nesaniya yakijjuza abafu.

1041:10 a Yer 40:7, 12 b Yer 40:14Isimayiri n’awamba abantu bonna abalala abaali e Mizupa, abawala ba kabaka n’abalala bonna abaali basigaddeyo, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka Nebukadduneeza be yali awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abatwala nga bawambe ne yeetegeka okubasomosa okubatwala eri Abamoni.

1141:11 Yer 40:8Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi bonna abaali naye bwe baawulira ebikolobero Isimayiri mutabani wa Nesaniya bye yali akoze, 1241:12 2Sa 2:13ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwanyisa Isimayiri mutabani wa Nesaniya. Ne bamutuukako okumpi n’amazzi amangi e Gibyoni. 1341:13 nny 10Abantu bonna abaali ne Isimayiri bwe baalaba Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye be yali nabo, ne basanyuka. 14Abantu bonna Isimayiri be yali awambye e Mizupa ne bakyuka ne bagenda eri Yokanaani mutabani wa Kaleya. 1541:15 Yob 21:30; Nge 28:17Naye Isimayiri mutabani wa Nesaniya ne basajja be munaana ne batoloka okuva ku Yokanaani ne bagenda mu ba Amoni.

1641:16 Yer 43:4Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye ne batwala abawambe okuva e Mizupa be baali baggye ku Isimayiri mutabani wa Nesaniya ng’amaze okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu: abaserikale, n’abakazi, n’abaana n’abakungu b’omu lubiri be yali aggye e Gibyoni. 1741:17 a 2Sa 19:37 b Yer 42:14Ne beeyongerayo ne bayimirirako e Gerusukimamu okumpi ne Besirekemu, nga boolekedde e Misiri, 1841:18 a Is 51:12; Yer 42:16; Luk 12:4-5 b Yer 40:5badduke Abakaludaaya. Baali batidde Abakaludaaya kubanga Isimayiri mutabani wa Nesaniya yali asse Gedaliya mutabani wa Akikamu, oyo kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga ensi nga gavana.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 41:1-18

基大利被殺

1七月,王室宗親、猶大王的大臣、以利沙瑪的孫子、尼探雅的兒子以實瑪利帶著十個人去米斯巴亞希甘的兒子基大利。趁在米斯巴一同吃飯的時候, 2尼探雅的兒子以實瑪利和同來的十個人突然起來拔刀殺了巴比倫王委任管理猶大沙番的孫子、亞希甘的兒子基大利3還殺了所有在米斯巴基大利在一起的猶大人和那裡的迦勒底士兵。

4第二天,基大利被殺的事仍無人知道。 5當天,從示劍示羅撒瑪利亞來了八十個人,他們剃了鬍鬚,撕裂衣服,割破身體,手裡拿著素祭和乳香要去耶和華的殿。 6以實瑪利就從米斯巴出來迎接他們,邊走邊哭,見面後邀請他們去見亞希甘的兒子基大利7到了城中,以實瑪利和部下便屠殺他們,棄屍於蓄水池中。 8其中有十個人對以實瑪利說:「請不要殺我們,我們在田野裡藏了許多大麥、小麥、油和蜜。」他就沒有殺他們。 9以實瑪利拋屍的地方是個很大的蓄水池,是從前亞撒王為抵禦以色列巴沙而修建的。尼探雅的兒子以實瑪利用被殺者的屍體填滿了蓄水池。 10以實瑪利還擄去了留在米斯巴的公主和其他人。護衛長尼布撒拉旦曾委任亞希甘的兒子基大利管理這些人。尼探雅的兒子以實瑪利帶著俘虜前往亞捫

11加利亞的兒子約哈難和其他將領聽說尼探雅的兒子以實瑪利的所作所為, 12便率領部下去攻打他,在基遍的大水池邊追上了他。 13-14以實瑪利米斯巴擄走的人看見約哈難和眾將領,喜出望外,都轉身投奔約哈難15尼探雅的兒子以實瑪利帶著八個人逃脫約哈難的追擊,前往亞捫16加利亞的兒子約哈難和眾將領從基遍救回了那些被擄走的士兵、婦孺和宮廷侍臣。 17他們啟程前往埃及,途中在伯利恆附近的基羅特金罕住下。 18他們是害怕迦勒底人才逃往埃及的,因為尼探雅的兒子以實瑪利殺了巴比倫王委任管理猶大亞希甘的兒子基大利