Yeremiya 4 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 4:1-31

14:1 a Yer 3:1, 22; Yo 2:12 b Yer 35:15“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,

“eri nze gy’olina okudda.

Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna

n’otosagaasagana,

24:2 a Ma 10:20; Is 65:16 b Yer 12:16 c Lub 22:18; Bag 3:8era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya

era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’

olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa

era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”

34:3 a Kos 10:12 b Mak 4:18Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,

“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,

temusiga mu maggwa.

44:4 a Ma 10:16; Yer 9:26; Bar 2:28-29 b Zef 2:2 c Am 5:6Mukoowoole Mukama,

mweweeyo mutukuze emitima gyammwe

mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,

obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,

ne wataba ayinza kubuzikiza.”

Yuda Erumbibwa

54:5 Yos 10:20; Yer 8:14“Kirangirire mu Yuda

era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,

‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!

Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,

tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’

64:6 Yer 1:13-15; 50:3Weereza obubaka eri Sayuuni nti,

Mudduke temulwa,

kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,

okuzikiriza okw’amaanyi.”

74:7 a 2Bk 24:1; Yer 2:15 b Is 1:7 c Yer 25:9Empologoma evudde mu kisaka kyayo,

omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo.

Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa

bibuleko abibeeramu.

84:8 a Is 22:12; Yer 6:26 b Yer 30:24Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,

mukube ebiwoobe

kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.

94:9 Is 29:9Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo,

kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo,

bakabona basamaalirire

ne bannabbi beewuunye.”

104:10 a 2Bs 2:11 b Yer 14:13Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”

114:11 Ez 17:10; Kos 13:15Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa 124:12 Yer 1:16embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”

134:13 a Is 19:1 b Is 66:15 c Is 5:28 d Ma 28:49; Kbk 1:8Laba ajja ng’ebire,

amagaali ge ng’empewo y’akazimu,

embalaasi ze zidduka okusinga empungu;

zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!

144:14 Yak 4:8Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.

Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?

154:15 Yer 8:16Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,

nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.

164:16 Ez 21:22“Labula amawanga nti ajja:

kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,

‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo

nga balumba ebibuga bya Yuda.

174:17 a 2Bk 25:1, 4 b Yer 5:23Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro

kubanga Yuda yanjeemera,’ ”

bw’ayogera Mukama.

184:18 a Zab 107:17; Is 50:1 b Yer 2:17 c Yer 2:19“Empisa zammwe,

n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.

Kino kye kibonerezo kyammwe.

Nga kya bulumi!

Nga kifumita omutima.”

194:19 a Is 16:11; 22:4; Yer 9:10 b Yer 20:9 c Kbl 10:9Obulumi, Ayi Obulumi!

Neenyoolera mu bulumi!

Ayi obulumi bw’omutima gwange!

Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,

kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,

mpulidde enduulu z’olutalo.

204:20 a Zab 42:7; Ez 7:26 b Yer 10:20Okuzikirizibwa kweyongeddeko

era ensi yonna eyonooneddwa.

Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,

n’entimbe zange nga kutemya kikowe.

21Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo

n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?

224:22 a Yer 10:8 b Yer 2:8 c Yer 13:23; 1Ko 14:20 d Bar 16:19“Kubanga abantu bange basirusiru,

tebammanyi.

Baana abatalina magezi;

abatategeera.

Bakagezimunnyu mu kukola ebibi,

tebamanyi kukola birungi.”

234:23 Lub 1:2Natunuulira ensi,

nga njereere,

ate ne ntunula ne ku ggulu,

ng’ekitangaala kigenze.

244:24 Is 5:25; Ez 38:20Natunuulira agasozi

nga gajugumira,

n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.

254:25 Yer 9:10; 12:4; Zef 1:3Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,

era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.

26Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,

era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama,

olw’obusungu bwe obungi.

274:27 Yer 5:10, 18; 12:12; 30:11; 46:28Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Ensi yonna eriyonoonebwa,

wadde nga sirigizikiririza ddala.

284:28 a Yer 12:4, 11; 14:2; Kos 4:3 b Is 5:30; 50:3 c Kbl 23:19 d Yer 23:20; 30:24Noolwekyo ensi erikungubaga

era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,

kubanga njogedde

era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”

294:29 a Yer 6:23 b 2Bk 25:4 c nny 7Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,

ebibuga byonna biribuna emiwabo,

abamu beesogge ebisaka;

n’abalala balinnye waggulu ku njazi.

Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;

tewali abibeeramu.

304:30 a Is 10:3-4 b Ez 23:40 c 2Bk 9:30 d Kgb 1:2; Ez 23:9, 22Okola ki ggwe,

ggwe eyayonoonebwa?

Lwaki oyambala engoye entwakaavu,

ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,

n’amaaso n’ogasiiga langi?

Omala biseera nga weeyonja.

Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.

314:31 a Yer 13:21 b Is 42:14 c Is 1:15; Kgb 1:17Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,

okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,

okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,

ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,

“Zinsanze nze, nzirika.

Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Иеремия 4:1-31

1– Если вернёшься, Исраил, –

возвещает Вечный, –

если вернёшься ко Мне,

удалишь мерзких идолов с глаз Моих

и не будешь больше скитаться,

2если будешь истинно, справедливо и праведно клясться:

«Верно, как и то, что жив Вечный!» –

то народы получат Моё благословение

и прославят Моё имя.

3Так говорит Вечный народу Иудеи и Иерусалима:

– Распашите свою целину

и не сейте среди колючек.

4Обрежьте себя для Вечного,

обрежьте ваши сердца4:4 Люди с необрезанными сердцами – это образное выражение обозначает людей, непокорных Аллаху.,

народ Иудеи и жители Иерусалима,

а не то вспыхнет, как огонь, Мой гнев,

будет гореть, и никто не потушит –

из-за зла, что вы творите.

Бедствие с севера

5– Объявите в Иудее, возвестите в Иерусалиме и скажите:

«Трубите в рога по всей стране!»

Восклицайте и говорите:

«Собирайтесь! Бежим в укреплённые города!»

6Поднимите знамя, чтобы люди пришли на Сион!

Спасайтесь бегством, не медлите!

Так как с севера Я наведу беду –

лютую гибель.

7Вышел лев из своего логова;

тронулся в путь палач народов.

Он покинул своё место,

чтобы разорить твою землю.

Твои города, Иудея, превратятся в руины,

не останется горожан.

8Так наденьте рубище,

рыдайте и плачьте,

потому что пылающий гнев Вечного

не отвратился от нас.

9– В тот день, – возвещает Вечный, –

у царя и вельмож дрогнет сердце,

ужаснутся священнослужители

и пророков охватит страх.

10И я сказал:

– О Владыка Вечный, как же сильно Ты обманул этот народ и жителей Иерусалима, говоря: «У вас будет мир», тогда как меч приставлен к нашему горлу.

11– В то время этому народу и жителям Иерусалима будет сказано: «Жгучий ветер с голых вершин в пустыне дует в сторону Моего народа, но на нём ни провеять зерна, ни очистить его от сора – 12слишком могуч этот ветер, дующий по Моему повелению. Настал час, когда Я вынесу им приговор».

13Глядите! Он приближается, словно тучи,

как ураган – его колесницы,

кони его быстрее орлов.

Горе нам! Мы погибли!

14Иерусалим, очисти сердце от зла и будешь спасён.

Долго ли таить тебе злые мысли?

15Уже несётся голос от города Дана,

весть о беде с гор Ефраима.

16– Объявите народам,

возвестите Иерусалиму:

«Войска осаждающих идут из дальней земли,

оглашая военным кличем города Иудеи.

17Они окружат Иерусалим, как стражи полей,

потому что он восстал против Меня», –

возвещает Вечный. –

18Твои пути, твои дела

принесли всё это тебе.

Это твоя участь.

От горя разрывается твоё сердце!

19Горе! Горе!

Я корчусь от боли.

Смута в сердце.

Сердце колотится;

я не могу молчать,

потому что слышу звук рога,

слышу боевой клич.

20Беда за бедой;

вся страна опустошена.

В один миг погибли мои шатры,

в мгновение ока – мои палатки.

21Сколько мне ещё смотреть на знамя,

слышать звуки рога?

22– Бестолков Мой народ,

Меня он не знает.

Мой народ – глупые дети;

нет у моих детей разума.

Они мастера совершать зло,

а делать добро не умеют.

Видение опустошения земли

23Я смотрю на землю,

но она пуста и безлика,

и на небеса,

но свет их погас.

24Я смотрю на горы –

они дрожат,

и все холмы колеблются.

25Я смотрю – и нет никого,

и все птицы разлетелись.

26Я смотрю – и пустыней стал плодородный край,

и все города его разрушены перед Вечным,

от Его пылающего гнева.

27Так говорит Вечный:

– Вся земля будет опустошена,

хоть Я и не погублю её полностью.

28Восплачет земля,

и над ней почернеет небо,

потому что Я так сказал и задумал –

не сжалюсь и не отступлюсь.

29От шума всадников и стрелков

разбегаются все жители городов.

Кто подаётся в леса,

кто в горы уходит –

все города оставлены,

нет в них жителей.

30Что же ты делаешь, опустошённая?

Для чего одеваешься в пурпур,

для чего надеваешь золото

и подводишь глаза?

Напрасно ты прихорашиваешься.

Любовники тебя презирают

и хотят отнять у тебя жизнь.

31Слышу крик, будто женщина в родах кричит,

словно стонет рожающая в первый раз, –

слышу крик дочери Сиона4:31 Дочь Сиона – олицетворение Иерусалима. Также в 6:2, 23.,

задыхается она, раскинув руки:

«Горе мне!

Бессильна я перед убийцами».