Yeremiya 37 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 37:1-21

Yeremiya asibibwa mu Kkomera

137:1 a 2Bk 24:17 b Ez 17:13 c 2Bk 24:8, 12; 2By 36:10; Yer 22:24Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’afuula Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda okuba kabaka wa Yuda mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu. 237:2 2Bk 24:19; 2By 36:12, 14Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya.

337:3 a Yer 29:25; 52:24 b 1Bk 13:6; Yer 21:1-2; 42:2Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”

437:4 nny 15; Yer 32:2Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bw’ayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera. 537:5 a Ez 17:15 b Yer 34:21 c 2Bk 24:7Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.

6Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti, 737:7 a 2Bk 22:18 b Yer 2:36; Kgb 4:17“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri. 837:8 Yer 34:22; 39:8Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’

937:9 Yer 29:8“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka. 10Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”

1137:11 nny 5Awo eggye ly’Abakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo, 1237:12 Yer 32:9Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo. 13Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”

1437:14 Yer 40:4Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu. 1537:15 a Yer 20:2 b Yer 38:26Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.

16Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kkomera mwe yamala ebbanga eddene. 1737:17 a Yer 15:11 b Yer 38:16 c Yer 21:7Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.”

1837:18 1Sa 26:18; Yk 10:32; Bik 25:8Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera? 19Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno? 20Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’ ”

2137:21 a Is 33:16; Yer 38:9 b 2Bk 25:3; Yer 52:6 c Yer 32:2; 38:6, 13, 28Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 37:1-21

西底迦求耶利米代祷

1巴比伦尼布甲尼撒约西亚的儿子西底迦代替约雅敬的儿子哥尼雅做犹大王。 2西底迦和他的臣仆及人民却没有听从耶和华借耶利米先知说的话。 3西底迦王派示利米雅的儿子犹甲玛西雅的儿子祭司西番雅来对耶利米先知说:“求你为我们向我们的上帝耶和华祷告。” 4当时,耶利米还可以自由来往,没有被他们囚在狱中。 5那时,法老的军队已从埃及出发,正在围攻耶路撒冷迦勒底人听见消息就退兵了。

6耶和华对耶利米先知说: 7“这是以色列的上帝耶和华的话,‘犹大王派你们来求问我,你们告诉他,前来支援你们的法老军队必中途返回埃及8迦勒底人必卷土重来,攻占这城,将它付之一炬。 9耶和华说,你们不要自欺,以为迦勒底人必撤军。其实他们不会撤军。 10即使你们能打败迦勒底全军,他们营中受伤的残兵也必起来烧毁这城。’”

11迦勒底人因害怕法老的军队而撤军的时候, 12耶利米起身离开耶路撒冷,前往便雅悯境内去接收他在同族中应得的地业。 13耶利米先知来到便雅悯门时,哈拿尼亚的孙子、示利米雅的儿子守门官伊利雅逮捕了他,说:“你想去投奔迦勒底人!” 14耶利米说:“不,我不是去投奔迦勒底人。”但伊利雅不信,把他押到众官长那里。 15官长们大怒,命人鞭打耶利米,把他囚禁在书记约拿单的房子里,因为他们已把这房子改作监牢。 16耶利米被囚禁在地牢中许多天。

17后来,西底迦王派人把他带到自己的宫中,私下问他:“耶和华有什么话给你吗?”耶利米说:“有,你要被交在巴比伦王手中。” 18耶利米又问他:“我在什么事上得罪了你、你的臣仆或人民,以致你们把我囚在监牢中? 19那些曾向你们预言‘巴比伦王绝不会来这里攻打你们’的先知如今在哪里呢? 20现在,我主我王啊,请听我说!求你不要把我送回书记约拿单的房子,免得我死在那里。”

21于是,西底迦王下令把耶利米囚在护卫兵的院子里,派人每天从饼铺取一个饼给他,直到城中绝粮。耶利米就这样住在护卫兵的院子里。