Yeremiya 33 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 33:1-26

Ebisuubizo by’Okuddawo

133:1 Yer 32:2-3; 37:21Yeremiya bwe yali ng’akyali mu kkomera mu luggya lw’omukuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti, 233:2 a Yer 10:16 b Kuv 3:15; 15:3“Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ensi, Mukama eyagikola era n’agiteekawo, Mukama lye linnya lye: 333:3 Is 55:6; Yer 29:12‘Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’ 433:4 a Ez 4:2 b Yer 32:24; Kbk 1:10Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ku mayumba agali mu kibuga kino era ne ku mbiri z’obwakabaka bwa Yuda ebyamenyebwamenyebwa okukozesebwa ng’entuumo eziziyiza obulumbaganyi n’ekitala 533:5 a Yer 21:4-7 b Is 8:17mu lutalo n’Abakaludaaya. ‘Birijjula emirambo gy’abasajja be nditta olw’obusungu bwange n’ekiruyi. Ndikweka amaaso gange okuva ku kibuga kino olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna.

6“ ‘Naye ndikiwa obulamu n’okuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu. 733:7 a Yer 32:44 b Yer 30:3; Am 9:14 c Is 1:26Ndikomyawo Yuda ne Isirayiri okubaggya mu buwambe era mbazimbe nga bwe baasooka okubeera. 833:8 a Beb 9:13-14 b Yer 31:34; Mi 7:18; Zek 13:1Ndibalongoosa okubaggyako ebibi byonna bye bannyonoona era mbasonyiwe n’ekibi eky’okunjeemera. 933:9 a Yer 13:11 b Is 62:7; Yer 3:17Olwo ekibuga kino kirindetera okwongera okumanyika, n’essanyu, n’ettendo era n’ekitiibwa eri amawanga gonna ku nsi agaliwulira ebintu byonna ebirungi bye mbakolera; era balyewuunya bakankane olw’okukulaakulana n’emirembe gye nkiwa.’

1033:10 Yer 32:43“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwogera ku kifo kino nti, “Matongo agaalekebwa awo, omutali bantu wadde ensolo.” Ate nga mu bibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi ezalekebwawo omutali bantu wadde ensolo, muliddamu okuwulirwa nate 1133:11 a Is 51:3 b Lv 7:12 c 1By 16:8; Zab 136:1 d 1By 16:34; 2By 5:13; Zab 100:4-5amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti,

“ ‘ “Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye,

kubanga Mukama mulungi;

okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.

1233:12 a Yer 32:43 b Is 65:10; Ez 34:11-15“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, ‘Mu kifo kino ekirekeddwa awo omutali bantu wadde ensolo, mu bibuga byakyo byonna nate muliddamu amalundiro ag’abasumba mwe banaawummulizanga ebisibo byabwe. 1333:13 a Yer 17:26 b Lv 27:32Mu bibuga eby’ensi ey’obusozi, eby’eri wansi w’ensozi ez’omu bugwanjuba era ne Negebu, mu kitundu kya Benyamini, mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi n’ebibuga ebyetoolodde Yuda mwonna ebisibo biriddamu okuyita wansi w’omukono gw’oyo abibala,’ bw’ayogera Mukama.

1433:14 Yer 29:10“ ‘Ennaku zijja,’ bw’ayogera Mukama, ‘lwe ndituukiriza ekisuubizo eky’ekisa kye nakolera ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda.

1533:15 a Zab 72:2 b Is 4:2; 11:1; Yer 23:5“ ‘Mu nnaku ezo era mu kiseera ekyo

ndireeta Ettabi ettukuvu mu lunyiriri lwa Dawudi

era alikola eby’amazima era ebituufu mu nsi.

1633:16 a Is 45:17 b 1Ko 1:30Mu nnaku ezo Yuda alirokolebwa

ne Yerusaalemi alibeera mirembe.

Lino lye linnya ly’aliyitibwa nti,

Mukama Obutuukirivu bwaffe.’ ”

1733:17 2Sa 7:13; 1Bk 2:4; Zab 89:29-37; Luk 1:33Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Dawudi talirema kubeera na muntu kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bw’ennyumba ya Isirayiri, 1833:18 a Ma 18:1 b Beb 13:15wadde bakabona, n’Abaleevi, okulemwa okubeera n’omusajja ow’okuyimirira mu maaso gange ebbanga lyonna okuwaayo ssaddaaka ezokebwa, okwokya ekiweebwayo eky’empeke era n’okuwaayo ssaddaaka.”

19Ekigambo kya Mukama kyajjira Yeremiya nti, 2033:20 Zab 89:36“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bw’oba osobola okumenya endagaano yange n’emisana era n’endagaano yange n’ekiro, ne kiba nti emisana n’ekiro tebijja mu biseera byabyo ebyateekebwawo, 2133:21 a Zab 89:34 b 2By 7:18olwo endagaano yange ne Dawudi omuddu wange, n’endagaano yange n’Abaleevi, ne bakabona, n’abaweereza bange eyinza okumenyebwa, Dawudi aleme kuddayo kuba na muntu wa mu nju ye okufuga ku ntebe ye ey’obwakabaka. 2233:22 Lub 15:5Ndifuula ab’enju ya Dawudi omuddu wange n’Abaleevi abaweereza mu maaso gange okwala ng’emmunyeenye ez’oku ggulu ezitabalika era abatabalika ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja ogutapimika.’ ”

23Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 2433:24 a Ez 37:22 b Nek 4:4 c Yer 30:17Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ng’eggwanga. 2533:25 a Yer 31:35-36 b Zab 74:16-17Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mba nga sassaawo ndagaano yange n’emisana n’ekiro n’amateeka ag’enkalakkalira ag’eggulu n’ensi, 2633:26 a Yer 31:37 b Is 14:1 c nny 7olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda n’omu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’ ”