Yeremiya 28 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 28:1-17

Kananiya Nnabbi ow’Obulimba

128:1 a Yer 27:1, 3 b Yos 9:3Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti, 228:2 Yer 27:12“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni. 328:3 2Bk 24:13Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni. 428:4 Yer 22:24-27Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.’ ”

5Awo nnabbi Yeremiya n’addamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona n’abantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, n’agamba nti, 6“Amiina! Bw’atyo Mukama bw’aba akola! Mukama atuukirize ebigambo by’oyogedde ng’akomyawo ebintu eby’omu nnyumba ya Mukama era n’abawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni. 7Wabula, wuliriza kye ŋŋenda okwogera ng’owuliriza n’abantu bano bonna nga bawulira. 828:8 Lv 26:14-17; Is 5:5-7Okuva edda n’edda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga n’obwakabaka obw’amaanyi. 928:9 Ma 18:22Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obw’emirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa Mukama era ng’obubaka bw’ategeeza butuukiridde.”

1028:10 Yer 27:2Awo nnabbi Kananiya n’alyoka akwata ekikoligo ekyali ku nsingo ya Yeremiya n’akimenya, 1128:11 Yer 14:14; 27:10n’alyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mu ngeri y’emu bw’eti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’ ” Naye ye nnabbi Yeremiya n’avaawo ne yeetambulira.

12Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 13“Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo kya muti naye mu kifo kyakyo ojja kufunamu kikoligo kya kyuma. 1428:14 a Ma 28:48 b Yer 25:11 c Yer 27:6Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’ ”

1528:15 a Yer 29:31 b Yer 20:6; 29:21; Kgb 2:14; Ez 13:6Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba. 1628:16 a Lub 7:4 b Ma 13:5; Yer 29:32Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’ ”

17Mu mwezi ogw’omusanvu ogw’omwaka gwe gumu, Kananiya n’afa.