Yeremiya 23 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 23:1-40

Ettabi Ettukuvu

123:1 a Yer 10:21; Ez 34:1-10; Zek 11:15-17 b Is 56:11 c Ez 34:31“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. 223:2 Yer 21:12Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. 323:3 Is 11:10-12; Yer 32:37; Ez 34:11-16“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. 423:4 a Yer 3:15; 31:10; Ez 34:23 b Yer 30:10; 46:27-28 c Yk 6:39Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.

523:5 a Is 4:2 b Is 9:7 c Is 11:1; Zek 6:12“Ennaku zijja,

lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,

Kabaka alikulembera n’amagezi

akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.

623:6 a Yer 33:16; Mat 1:21-23 b Bar 3:21-22; 1Ko 1:30Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa

ne Isirayiri alibeera mu mirembe.

Lino lye linnya lye balimuyita:

Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.

723:7 Yer 16:14“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, 823:8 Is 43:5-6; Am 9:14-15naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.

Bannabbi Abalimba

923:9 Yer 20:8-9Ebikwata ku bannabbi:

omutima gwange gwennyise mu nda yange

amagumba gange gonna gakankana,

nninga omusajja omutamiivu,

ng’omusajja afugiddwa omwenge,

ku lwa Mukama

n’ebigambo bye ebitukuvu.

1023:10 a Yer 9:2 b Zab 107:34; Yer 9:10 c Kos 4:2-3Ensi ejjudde abenzi;

olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu

era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.

Bannabbi bagoberera amakubo amabi

era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.

1123:11 a Yer 6:13; 8:10; Zef 3:4 b Yer 7:10“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,

ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”

bw’ayogera Mukama.

1223:12 a Zab 35:6; Yer 13:16 b Yer 11:23“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera

era bajja kusuulibwa mu kizikiza

era eyo gye baligwira.

Ndibaleetako okuzikirira

mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”

bw’ayogera Mukama.

1323:13 Yer 2:8“Mu bannabbi b’e Samaliya

nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.

Balagulira wansi wa Baali

ne babuza abantu bange Isirayiri.

1423:14 a Yer 5:30 b Yer 29:23 c Ez 13:22 d Lub 18:20 e Is 1:9-10; Yer 20:16Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi

ndabye ekintu ekibi ennyo.

Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.

Bagumya abo abakozi b’ebibi

ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.

Bonna bali nga Sodomu gye ndi;

abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”

1523:15 Yer 8:14; 9:15Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,

“Nzija kubaliisa emmere ekaawa

banywe amazzi ag’obutwa,

kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,

obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”

1623:16 a Yer 27:9-10, 14; Mat 7:15 b Yer 14:14 c Yer 9:20Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,

“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:

babajjuza essuubi ekyamu.

Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,

so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.

1723:17 a Yer 8:11 b Yer 13:10 c Yer 5:12; Am 9:10; Mi 3:11Bagamba abo abannyooma nti,

Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’

Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe

babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’

18Naye ani ku bo

eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba

oba okuwulira ekigambo kye?

1923:19 Yer 25:32; 30:23Laba, omuyaga gwa Mukama

gujja kubwatuka n’ekiruyi,

empewo ey’akazimu

eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.

2023:20 a 2Bk 23:26 b Yer 30:24Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma

okutuusa ng’amaze okutuukiriza

ekigendererwa ky’omutima gwe.

Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. 2123:21 Yer 14:14; 27:15Situmanga bannabbi bano,

songa bagenda

badduka n’obubaka buno,

era sogeranga nabo,

songa bategeeza obunnabbi.

2223:22 Yer 25:5; Zek 1:4Naye singa bayimirira mu maaso gange,

bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,

era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi

era ne mu bikolwa byabwe ebibi.

2323:23 Zab 139:1-10“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,

so si abeera ewala?”

bw’ayogera Mukama.

2423:24 a Yob 22:12-14 b 1Bk 8:27“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama

ne sisobola kumulaba?”

bw’ayogera Mukama.

“Sijjuza eggulu n’ensi?”

bw’ayogera Mukama.

2523:25 a Yer 14:14 b nny 28, 32; Yer 29:8“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 2623:26 1Ti 4:1-2Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 2723:27 a Ma 13:1-3; Yer 29:8 b Bal 3:7; 8:33-34Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. 2923:29 Yer 5:14“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.

3023:30 a Zab 34:16 b Ma 18:20; Yer 14:15“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. 3123:31 nny 17“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’ 3223:32 a nny 25 b Yer 7:8; Kgb 2:14Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.

Obubaka Obukyamu ne Bannabbi Aboobulimba

3323:33 a Mal 1:1 b nny 39“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’ 3423:34 a Kgb 2:14 b Zek 13:3Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge. 3523:35 Yer 33:3; 42:4Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’ 3623:36 Bag 1:7-8; 2Pe 3:16Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe. 37Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’ 38Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ 3923:39 Yer 7:15kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. 4023:40 Yer 20:11; Ez 5:14-15Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”