Yeremiya 22 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 22:1-30

Omusango eri Bakabaka Ababi

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda 222:2 a Yer 17:25; Luk 1:32 b Yer 17:20olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. 322:3 a Mi 6:8; Zek 7:9 b Zab 72:4; Yer 21:12 c Kuv 22:22Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. 422:4 Yer 17:25Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. 522:5 a Yer 17:27 b Beb 6:13‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”

622:6 Mi 3:12Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,

“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,

ng’entikko y’olusozi Lebanooni,

ddala ddala nzija kukufuula ddungu,

ng’ebibuga ebitaliimu bantu.

722:7 a Yer 4:7 b Is 10:34Ndikusindikira abakuzikiriza,

buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,

era balitema emivule gyo egisinga obulungi

ne bagisuula mu muliro.

822:8 Ma 29:25-26; 1Bk 9:8-9; Yer 16:10-11“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ 922:9 2Bk 22:17; 2By 34:25Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

1022:10 a Mub 4:2 b nny 18Temukaabira kabaka afudde

oba okumukungubagira,

wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,

kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.

1122:11 2Bk 23:31Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 1222:12 2Bk 23:34Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

1322:13 a Mi 3:10; Kbk 2:9 b Lv 19:13; Yak 5:4“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,

ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya

abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere

n’atabasasula mpeera yaabwe.

1422:14 a Is 5:8-9 b 2Sa 7:2Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene

n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’

Kale nnaakola amadirisa amanene

nnaateekamu emivule

era nnaasiigako langi emyufu.

1522:15 a 2Bk 23:25 b Zab 128:2; Is 3:10“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?

Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?

Yakola ebituufu eby’obwenkanya.

Noolwekyo byonna

byamugendera bulungi.

1622:16 Zab 72:1-4, 12-13Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu

kale byonna ne bimugendera bulungi.

Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”

bw’ayogera Mukama.

1722:17 2Bk 24:4“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe

biri ku magoba ag’obukuusa,

ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango

ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”

18Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,

“Tebalimukungubagira;

‘Kikafuuwe, mukama wange!’

Kikafuuwe,

obugagga bwe!

1922:19 Yer 36:30Aliziikibwa

nga bwe baziika endogoyi,

akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”

2022:20 Kbl 27:12“Genda mu Lebanooni okaabe,

leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.

Kaabira ku Abalimu,

kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.

2122:21 a Yer 3:25; 32:30 b Yer 7:23-28Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga

naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’

Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,

togonderanga ku ddoboozi lyange.

22Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,

n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.

Olwo okwatibwe ensonyi

oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.

2322:23 Yer 4:31Mmwe abali mu Lebanooni,22:23 lwe lubiri oluli mu Yerusaalemi

abesulira mu bizimbe eby’emivule,

nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!

Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

2422:24 2Bk 24:6, 8; Yer 37:1“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 2522:25 2Bk 24:16; Yer 34:20“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 2622:26 2Bk 24:8; 2By 36:10Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

2822:28 a Zab 31:12; Yer 48:38; Kos 8:8 b Yer 15:1 c Yer 17:4Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,

ekimenyese, ekitaliiko ayagala?

Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,

basuulibwe mu nsi gye batamanyi?

2922:29 Yer 6:19; Mi 1:2Ayi ggwe ensi, ensi,

wulira ekigambo kya Katonda!

3022:30 a 1By 3:18; Mat 1:12 b Yer 10:21 c Zab 94:20Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako

kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,

alituula ku ntebe ya Dawudi

oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 22:1-30

警告猶大的王

1耶和華對我說:「你下到猶大王的宮殿,這樣宣告, 2『坐在大衛寶座上的猶大王啊,你和你的臣僕以及進出這城門的百姓都要聽耶和華的話。 3耶和華說,你們為人要公義正直,要從欺壓者手中解救受剝削的人。不要欺凌、虐待異鄉人和孤兒寡婦,不可在這地方濫殺無辜。 4如果你們遵守我的命令,大衛的子孫必繼續做王,並乘車、騎馬率領臣民進出王宮。 5但如果你們不遵守我的命令,我憑自己起誓,這王宮必淪為廢墟。這是耶和華說的。』」

6論到猶大王的宮殿,耶和華說:

「雖然它在我眼中美如基列

又像黎巴嫩的山峰,

但我必使它變成不毛之地,

變成杳無人煙的城邑。

7我要派人拿著兵器來摧毀它,

他們要砍下它最好的香柏木,

扔進火裡。

8「各國的人經過這城時都會彼此議論說,『為什麼耶和華這樣對待這座大城?』 9有人會回答,『因為城裡的人背棄了他們的上帝耶和華的約,供奉、祭拜其他神明。』」

10你們不要為死去的王哀哭,

要為被擄走的王哀哭,

因為他必一去不返,

再也看不到自己的家園。

11論到接替父親約西亞猶大王、後來被擄走的沙龍22·11 沙龍」也叫「約哈斯」。,耶和華說:「他必一去不返, 12客死異鄉,永別故土。」

對約雅敬的審判

13耶和華說:

約西亞的兒子猶大約雅敬啊,你有禍了!

你以不公不義的手段建造宮廷殿宇,

不給工人發工錢。

14你說要為自己建造宏偉的宮殿、寬敞的房間。

你安上窗戶,

鑲上香柏木,

塗上紅漆。

15難道你大肆使用香柏木就能顯出你做王的氣派嗎?

你父親也吃也喝,

但他秉公行義,

所以他凡事順利;

16他為困苦和貧窮的人伸冤,

所以他凡事順利。

這才是真正認識我。

這是耶和華說的。

17可是,你一心貪圖不義之財,

濫殺無辜,橫徵暴斂。」

18因此,論到猶大約西亞的兒子約雅敬,耶和華說:

「沒有人會為他哀悼說,

『唉,我的弟兄啊!

唉,我的姊妹啊!』

沒有人會為他哀悼說,

『唉,主人啊!

唉,他的尊榮!』

19你必像死驢一樣被拖到耶路撒冷的城門外,曝屍荒野。」

對耶路撒冷的警告

20耶路撒冷人啊,

你們要上黎巴嫩大聲哭喊,

巴珊哀號,

亞巴琳痛哭,

因為你們的盟友被消滅了。

21在你們興盛的時候,

我曾警告過你們,

你們卻不聽。

你們從小就叛逆,

不聽我的話。

22你們的首領都要被風捲去,

你們的盟友都要被擄走,

你們必因自己的惡行而蒙羞受辱。

23住在黎巴嫩、安居在香柏木宮殿中的人啊,

當婦人分娩般的痛苦臨到你們的時候,

你們將怎樣呻吟呢!」

對哥尼雅的審判

24耶和華說:「猶大約雅敬的兒子哥尼雅22·24 哥尼雅」即「耶哥尼雅」,又叫「約雅斤」。啊,我憑我的永恆起誓,即使你是我右手上蓋章的戒指,我也要把你摘下來, 25交給那些想殺你的人,交給你所懼怕的人,就是巴比倫尼布甲尼撒和他的迦勒底軍隊。 26我要把你和你母親趕到異鄉,那裡不是你們的出生之地,卻是葬身之處。 27你們渴望回到故鄉,卻不能如願以償。」

28難道哥尼雅是個被人鄙視、無人理睬的破瓶子嗎?

為什麼他和他的子孫被趕到陌生之地?

29大地啊,大地啊,大地啊,

要聽耶和華的話!

30耶和華說:

「你要把這人作為無兒無女、

一生失敗的人記錄下來,

因為他的後裔中無一人能成功地繼承大衛的寶座,

統治猶大。」