Yeremiya 18 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 18:1-23

Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba

1Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, 2“Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” 3Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. 4Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.

5Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 618:6 Is 45:9; Bar 9:20-21“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. 718:7 Yer 1:10Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, 818:8 a Yer 26:13; Yon 3:8-10 b Ez 18:21; Kos 11:8-9era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. 918:9 Yer 1:10; 31:28Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 1018:10 a Ez 33:18 b 1Sa 2:29-30era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

1118:11 a Yer 4:6 b 2Bk 17:13; Is 1:16-19 c Yer 7:3“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 1218:12 Is 57:10; Yer 2:25Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

1318:13 a Is 66:8; Yer 2:10 b Yer 5:30Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

“Mwebuuzeeko mu mawanga.

Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?

Muwala wange Isirayiri

akoze ekintu eky’ekivve.

14Omuzira oguli ku Lebanooni

gwali guwedde ku njazi zaakwo?

Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala

gaali galeseeyoko okukulukuta?

1518:15 a Yer 10:15 b Yer 6:16 c Is 57:14; 62:10Naye ate abantu bange banneerabidde,

banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,

abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe

era ne mu makubo ag’edda

era ne balaga mu bukubokubo.

1618:16 a Yer 25:9 b Yer 19:8 c Zab 22:7Ensi yaabwe ya kusigala matongo,

ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,

abo bonna abayise balyewuunya

era ne banyeenya emitwe gyabwe.

1718:17 a Yer 13:24 b Yer 2:27Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe

ng’empewo eva ebuvanjuba;

ndibalaga mabega

so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”

1818:18 a Yer 11:19 b Mal 2:7 c Yer 5:13 d Zab 52:2Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19Ompulirize, Ayi Mukama,

owulirize abampakanya kye bagamba.

2018:20 a Zab 35:7; 57:6 b Zab 106:23Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?

Bansimidde obunnya.

Ojjukire nga nayimirira mu maaso go

ne nkaaba ku lwabwe,

nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.

2118:21 a Yer 11:22 b Zab 109:9Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,

obaweeyo battibwe n’ekitala.

Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;

abasajja baabwe battibwe;

abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.

2218:22 a Yer 6:26 b Zab 140:5Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,

bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,

kubanga bansimidde ekinnya bankwate

era bateze ebigere byange emitego.

2318:23 a Yer 11:21 b Zab 109:14Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,

bye bateesa banzite.

Tobasonyiwa byonoono byabwe

wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.

Obawangulire ddala,

era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.