Yeremiya 12 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 12:1-17

Okwemulugunya kwa Yeremiya

112:1 a Ezr 9:15 b Yer 5:27-28Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,

bwe nkuleetera ensonga yange.

Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.

Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?

Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?

212:2 a Yer 11:17 b Is 29:13; Yer 3:10; Mat 15:8; Tit 1:16Wabasimba, emirandira ne ginywera,

bakula ne baleeta ebibala.

Tova ku mimwa gyabwe bulijjo

wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.

312:3 a Zab 7:9; 11:5; 139:1-4; Yer 11:20 b Yer 17:18Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,

ondaba era otegeera bye nkulowoozaako.

Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa.

Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.

412:4 a Yer 4:28 b Yo 1:10-12 c Yer 4:25; 9:10Ensi erikoma ddi okwonooneka,

n’omuddo mu buli nnimiro okukala?

Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,

ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,

kubanga abantu bagamba nti,

“Katonda taalabe binaatutuukako.”

Katonda Addamu

512:5 Yer 49:19; 50:44“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro

n’oggwaamu amaanyi

oyinza otya okudduka n’embalaasi?

Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi,

onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?

612:6 a Nge 26:24-25; Yer 9:4 b Zab 12:2Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo

nabo bennyini bakwefuukidde,

beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.

Tobeesiga

wadde nga bakwogerako bulungi.”

Ennaku ya Mukama olw’Abantu be

712:7 Yer 7:29“Njabulidde ennyumba yange,

ne ndeka omugabo gwange;

mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,

mu mikono gy’abalabe baabwe.

812:8 Kos 9:15; Am 6:8Abantu bange be nalonda

banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira;

empulugumira,

noolwekyo mbakyaye.

912:9 Is 56:9; Yer 15:3; Ez 23:25Abantu bange be nalonda

tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala,

ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba?

Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko

muzireete zirye.

1012:10 a Yer 23:1 b Is 5:1-7Abasumba bangi

boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu,

balinnyiridde ennimiro yange,

ensi yange ennungi bagirese njereere.

1112:11 nny 4; Is 42:25; Yer 23:10Eyonooneddwa efuuse ddungu

esigadde awo ng’enkaabirira.

Ensi yonna efuuse matongo

kubanga tewali muntu n’omu agifaako.

1212:12 a Yer 47:6 b Yer 3:2Abanyazi bazze

batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,

kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya

okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,

awataliiwo n’omu kuwona.

1312:13 a Lv 26:20; Ma 28:38; Mi 6:15; Kag 1:6 b Yer 4:26Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.

Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu.

Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo,

kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”

1412:14 Zek 2:7-9Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo. 1512:15 Am 9:14-15Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye. 1612:16 a Yer 4:2 b Yos 23:7 c Is 49:6; Yer 3:17Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange. 1712:17 Is 60:12Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 12:1-17

耶利米的抱怨

1耶和华啊,每次我与你争论,

都显明你是对的。

然而,我还是对你的公正有所不解:

为什么恶人总是得势?

为什么诡诈之人反而生活安逸?

2你栽培他们,让他们生根长大,

结出果实。

他们嘴上尊崇你,

心却远离你。

3但耶和华啊,你认识我,了解我,

察验我的内心。

求你拖走他们,

就像拖走待宰的羊,

留到宰杀之日。

4大地哀恸、

田野的植物枯槁要到何时呢?

由于这地方居民的罪恶,

野兽和飞鸟都灭绝了。

他们说:“上帝看不见我们的行为12:4 上帝看不见我们的行为”参照《七十士译本》,希伯来文也可译作“他(指耶利米)看不见我们的结局”。。”

5耶和华说:“如果你与步行的人竞走,

尚且感到疲乏,

又怎能与马赛跑呢?

如果你在宽阔之地尚且跌倒,

约旦河边的丛林中又会怎样呢?

6你的弟兄和家人都背叛了你,

与你作对。

任他们甜言蜜语,你不要相信。

7“我已离开我的殿,

撇弃我的产业,

把我爱的子民交给他们的敌人。

8我的子民像林中的狮子一样向我吼叫,

因此我憎恶他们;

9我的子民就像一只带斑点的鸷鸟,

被其他鸷鸟围攻。

招聚野兽来吞吃它吧!

10列国的首领毁坏我的葡萄园,

践踏我美好的土地,

使它荒凉;

11他们使这片土地荒凉,

以致它在我面前哀哭。

遍地如此荒凉,却无人在意。

12杀戮者已来到旷野中光秃的山岭,

耶和华使刀剑横扫全境,

无人幸免。

13我的子民播种麦子,

却收割荆棘;

辛勤耕耘,却一无所获。

他们必因耶和华的烈怒而收获羞辱。”

14耶和华说:“邪恶的邻国侵占了我赐给我以色列子民的土地,我要把这些恶邻逐出他们的本土,正如我要逐出犹大一样。 15我逐出他们以后,还要再怜悯他们,把他们带回各自的家园和故土。 16如果他们真心接受我子民的信仰,凭永活的耶和华之名起誓,正如他们教导我子民向巴力起誓一样,他们便能成为我的子民。 17如果哪一国不听我的话,我必把它连根拔起,彻底毁灭。这是耶和华说的。”