Yeremiya 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 11:1-23

Yuda Amenye Endagaano

1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya. 2Wuliriza ebigambo by’endagaano eno era yogera n’abantu ba Yuda era n’abo ababeera mu Yerusaalemi. 311:3 Ma 27:26; Bag 3:10Bagambe nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno 411:4 a Ma 4:20; 1Bk 8:51 b Kuv 24:8 c Yer 7:23; 31:33bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe, 511:5 Kuv 13:5; Ma 7:12; Zab 105:8-11ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”

611:6 Ma 15:5; Bar 2:13; Yak 1:22Mukama n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole. 711:7 2By 36:15Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” 811:8 a Yer 7:26 b Lv 26:14-43Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”

911:9 Ez 22:25Ate Mukama n’aŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze b’omu Yerusaalemi. 1011:10 a Ma 9:7 b Bal 2:12-13Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. 1111:11 a 2Bk 22:16 b Yer 14:12; Ez 8:18 c nny 14; Nge 1:28; Is 1:15; Zek 7:13Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. 1211:12 a Yer 44:17 b Ma 32:37Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku. 1311:13 a Yer 7:9 b Yer 3:24Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’ 

1411:14 a Kuv 32:10 b nny 11“Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi.

15“Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve?

Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja?

Okola ebibi n’olyoka ojaguza!”

1611:16 a Yer 21:14 b Is 27:11; Bar 11:17-24Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,

oguliko ebibala ebirungi.

Naye ajja kugukumako omuliro

n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,

amatabi gaagwo gakutuke.

1711:17 a Is 5:2; Yer 12:2 b Yer 7:9Mukama Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.

18Mukama yambikkulira nnamanyisa mu bbanga eryo olukwe lwe baali bansalira. 1911:19 a Yer 18:18; 20:10 b Yob 28:13; Is 53:8 c Zab 83:4Nnali ng’omwana gw’endiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti,

“Ka tuzikirize omuti n’ekibala kyagwo,

ka tumutemere ddala ave ku nsi y’abalamu,

erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa n’akatono.”

2011:20 Zab 7:9Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye,

alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,

ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,

kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.

2111:21 a Yer 12:6 b Yer 26:8, 11; 38:4Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ku basajja b’e Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, “Totubuulira bunnabbi mu linnya lya Mukama, tuleme okukutta.” 2211:22 Yer 18:21Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, nzija kutta abavubuka n’ekitala; ne batabani baabwe n’abawala bafe enjala. 2311:23 a Yer 6:9 b Yer 23:12So tewaliba n’omu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja b’e Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”