Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Yeremiya 1

1Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Okuyitibwa kwa Yeremiya

Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,

“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
    nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
    Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”

Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10 Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 11 Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”

12 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”

13 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”

14 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 15 Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka
    mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,
balizinda bbugwe waakyo yenna
    era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.
16 Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,
    kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,
era ne basinza ebibajje bye beekolera
    n’emikono gyabwe.

17 “Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. 18 Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. 19 Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.

New International Version - UK

Jeremiah 1

1The words of Jeremiah son of Hilkiah, one of the priests at Anathoth in the territory of Benjamin. The word of the Lord came to him in the thirteenth year of the reign of Josiah son of Amon king of Judah, and through the reign of Jehoiakim son of Josiah king of Judah, down to the fifth month of the eleventh year of Zedekiah son of Josiah king of Judah, when the people of Jerusalem went into exile.

The call of Jeremiah

The word of the Lord came to me, saying,

‘Before I formed you in the womb I knew[a] you,
    before you were born I set you apart;
    I appointed you as a prophet to the nations.’

‘Alas, Sovereign Lord,’ I said, ‘I do not know how to speak; I am too young.’

But the Lord said to me, ‘Do not say, “I am too young.” You must go to everyone I send you to and say whatever I command you. Do not be afraid of them, for I am with you and will rescue you,’ declares the Lord.

Then the Lord reached out his hand and touched my mouth and said to me, ‘I have put my words in your mouth. 10 See, today I appoint you over nations and kingdoms to uproot and tear down, to destroy and overthrow, to build and to plant.’

11 The word of the Lord came to me: ‘What do you see, Jeremiah?’

‘I see the branch of an almond tree,’ I replied.

12 The Lord said to me, ‘You have seen correctly, for I am watching[b] to see that my word is fulfilled.’

13 The word of the Lord came to me again: ‘What do you see?’

‘I see a pot that is boiling,’ I answered. ‘It is tilting towards us from the north.’

14 The Lord said to me, ‘From the north disaster will be poured out on all who live in the land. 15 I am about to summon all the peoples of the northern kingdoms,’ declares the Lord.

‘Their kings will come and set up their thrones
    in the entrance of the gates of Jerusalem;
they will come against all her surrounding walls
    and against all the towns of Judah.
16 I will pronounce my judgments on my people
    because of their wickedness in forsaking me,
in burning incense to other gods
    and in worshipping what their hands have made.

17 ‘Get yourself ready! Stand up and say to them whatever I command you. Do not be terrified by them, or I will terrify you before them. 18 Today I have made you a fortified city, an iron pillar and a bronze wall to stand against the whole land – against the kings of Judah, its officials, its priests and the people of the land. 19 They will fight against you but will not overcome you, for I am with you and will rescue you,’ declares the Lord.

Notas al pie

  1. Jeremiah 1:5 Or chose
  2. Jeremiah 1:12 The Hebrew for watching sounds like the Hebrew for almond tree.