Yeremiya 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 1:1-19

11:1 Yos 21:18; 1By 6:60; Yer 32:7-9Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. 2Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, 31:3 a 2Bk 23:34 b 2Bk 24:17; Yer 39:2 c Yer 52:15ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Okuyitibwa kwa Yeremiya

4Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,

51:5 a Zab 139:16 b Is 49:1 c nny 10; Yer 25:15-26“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;

nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.

Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”

61:6 a Kuv 4:10; 6:12 b 1Bk 3:7Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” 7Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. 81:8 a Ez 2:6 b Yos 1:5; Yer 15:20Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.

91:9 a Is 6:7 b Kuv 4:12Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 101:10 Yer 18:7-10; 24:6; 31:4, 28Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 111:11 Yer 24:3; Am 7:8Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”

12Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”

131:13 Zek 4:2Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”

14Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 151:15 Yer 4:16; 9:11Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka

mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,

balizinda bbugwe waakyo yenna

era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.

161:16 a Ma 28:20 b Yer 17:13 c Yer 7:9; 19:4Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,

kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,

era ne basinza ebibajje bye beekolera

n’emikono gyabwe.

171:17 Ez 2:6“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. 181:18 Is 50:7Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. 191:19 a Yer 20:11 b nny 8Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.