Yakobo 5 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Yakobo 5:1-20

Okulabula abagagga

15:1 Luk 6:24Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. 25:2 Yob 13:28; Mat 6:19, 20Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 35:3 nny 7, 8Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. 45:4 a Lv 19:13 b Ma 24:15 c Bar 9:29Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. 55:5 a Am 6:1 b Yer 12:3; 25:34Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. 65:6 Beb 10:38Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.

Okugumiikiriza

75:7 Ma 11:14; Yer 5:24Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. 85:8 Bar 13:11; 1Pe 4:7Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. 95:9 a Yak 4:11 b 1Ko 4:5; 1Pe 4:5 c Mat 24:33Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

105:10 Mat 5:12Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 115:11 a Mat 5:10 b Yob 1:21, 22; 2:10 c Yob 42:10, 12-17 d Kbl 14:18Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

125:12 Mat 5:34-37Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.

Okusaba okw’okukkiriza

135:13 a Zab 50:15 b Bak 3:16Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olw’obuzibu obwo. N’abo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ez’okumutendereza. 145:14 Mak 6:13Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. 15Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. 165:16 a Mat 3:6 b 1Pe 2:24 c Yk 9:31Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

175:17 a Bik 14:15 b 1Bk 17:1; Luk 4:25Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! 185:18 1Bk 18:41-45Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera. 195:19 a Yak 3:14 b Mat 18:15Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama n’ava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo, 20omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ng’amuleetedde n’okusonyiyibwa ebibi byonna.

Habrit Hakhadasha/Haderekh

אגרת יעקב 5:1-20

1העשירים, עכשיו הגיעה שעתכם לבכות ולהיאנח בייסורים וסבל, בגלל הצרות הנוראות שתבואנה עליכם. 2עושרכם נרקב כבר עכשיו, ובגדיכם היפים ביותר נראים כמו סמרטוטים, כי נאכלו על־ידי עש. 3כספכם וזהבכם החלידו! החלודה תשמש עדות מרשיעה נגדכם ותכלה את בשרכם כאש. וכל זה משום שאגרתם לעצמכם אוצרות לימים אחרונים. 4הקשיבו! השומעים אתם את בכי האיכרים העניים אשר רימיתם ועשקתם? קול בכיים הגיע לאוזני ה׳ צבאות.

5חייתם כאן בעושר ונוחיות, מילאתם את תאוות לבכם ופיטמתם את עצמכם ליום הטבח. 6הרשעתם ורצחתם אנשים חפים מפשע אשר לא יכלו להגן על עצמם מפניכם.

7ואתם, אחי היקרים, אתם המצפים לבוא אדוננו, התאזרו בסבלנות כמו איכר שמצפה לקציר. 8כן, התאזרו בסבלנות והתעודדו, כי אדוננו עומד לשוב במהרה.

9אחי, אל תתלוננו זה על זה פן ישפוט אתכם האלוהים – השופט. ראו, הנה הוא עומד בפתח.

10נביאי האמת, שדיברו בשם ה׳, ישמשו לכם דוגמה לסבלנות וכוח־סבל. 11אנו יודעים כי בעלי כוח־סבל שמחים מאוד על שנשארו נאמנים לה׳, למרות הסבל והרדיפות. קחו למשל את איוב. הוא לא חדל לבטוח בה׳ גם בשעת סבל קשה, ומניסיונו של איוב אנו לומדים כי תוכניתו של ה׳ הסתיימה בטוב, בגלל חסדו של אלוהים ורחמיו.

12מעל לכל, אחי היקרים, אל תישבעו! לא בשמים, לא בארץ ולא בכל דבר אחר. אמרו פשוט ”כן“ או ”לא“, כדי שלא תחטאו ולא תואשמו.

13על הסובל להמשיך להתפלל, ועל השמח להמשיך לשיר שירי תהילה לה׳. 14מי שחולה יקרא לזקני הקהילה; הם ימשכו אותו בשמן, יניחו ידיהם עליו ויתפללו לה׳ שירפאו. 15אם תפילתם נאמרה באמונה היא תציל את החולה, כי אלוהים ירפא אותו. אם חטא חטא כלשהו, יסלח לו אלוהים על חטאו.

16התוודו על חטאיכם איש בפני רעהו, התפללו זה בעד זה, ואלוהים ירפא אתכם. תפילת צדיק היוצאת מעומק לבו היא בעלת כוח רב ומביאה לתוצאות נפלאות. 17אליהו הנביא היה אדם כמוך וכמוני, ובכל זאת, כאשר התפלל בכל לבו שלא ירד גשם, שמע ה׳ לתפילתו ועצר את הגשם למשך שלוש שנים וחצי. 18ואז אליהו התפלל שוב, אך הפעם ביקש מה׳ להוריד גשם, וה׳ הוריד גשם והארץ הצמיחה את פריה.

19‏-20אחים יקרים, אם מישהו יפנה עורף לאלוהים, ומישהו אחר יחזירו לה׳ ויחדש את בטחונו בו, הוא יציל את התועה ממוות ויביא לסליחת כל חטאיו ופשעיו.