Tito 3 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

Tito 3:1-15

Okuwabula abakkiriza

13:1 a Bar 13:1 b 2Ti 2:21Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. 23:2 Bef 4:31; 2Ti 2:24Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.

3Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. 43:4 a Bef 2:7 b Tit 2:11Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, 53:5 a Bef 2:9 b Bar 12:2n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, 63:6 Bar 5:5gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. 73:7 a Bar 3:24 b Bar 8:17 c Bar 8:24 d Tit 1:2Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. 83:8 a 1Ti 1:15 b Tit 2:14Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.

93:9 1Ti 1:4; 2Ti 2:14Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa. 103:10 Bar 16:17Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga, 11kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.

123:12 a Bik 20:4 b 2Ti 4:9, 21Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby’obutiti. 133:13 Bik 18:24Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga.

143:14 nny 8Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.

153:15 1Ti 1:2Bonna abali nange bakulamusizza.

Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza.

Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

King James Version

Titus 3:1-15

1Put them in mind to be subject to principalities and powers, to obey magistrates, to be ready to every good work, 2To speak evil of no man, to be no brawlers, but gentle, shewing all meekness unto all men. 3For we ourselves also were sometimes foolish, disobedient, deceived, serving divers lusts and pleasures, living in malice and envy, hateful, and hating one another. 4But after that the kindness and love of God our Saviour toward man appeared, 5Not by works of righteousness which we have done, but according to his mercy he saved us, by the washing of regeneration, and renewing of the Holy Ghost; 6Which he shed on us abundantly through Jesus Christ our Saviour; 7That being justified by his grace, we should be made heirs according to the hope of eternal life. 8This is a faithful saying, and these things I will that thou affirm constantly, that they which have believed in God might be careful to maintain good works. These things are good and profitable unto men. 9But avoid foolish questions, and genealogies, and contentions, and strivings about the law; for they are unprofitable and vain. 10A man that is an heretick after the first and second admonition reject; 11Knowing that he that is such is subverted, and sinneth, being condemned of himself.

12When I shall send Artemas unto thee, or Tychicus, be diligent to come unto me to Nicopolis: for I have determined there to winter. 13Bring Zenas the lawyer and Apollos on their journey diligently, that nothing be wanting unto them. 14And let ours also learn to maintain good works for necessary uses, that they be not unfruitful. 15All that are with me salute thee. Greet them that love us in the faith. Grace be with you all. Amen.