Tito 2 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Tito 2:1-15

Enjigiriza Entuufu

12:1 1Ti 1:10Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu. 22:2 Tit 1:13Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala n’okugumiikiriza.

32:3 1Ti 3:8Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, 4balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe. 52:5 a Bef 5:22 b 1Ti 6:1Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

62:6 1Ti 5:1N’abavubuka bakubirizenga babe beegendereza, 72:7 1Ti 4:12mu bintu byonna, ng’obeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna by’okola, ng’oli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo. 82:8 1Pe 2:12Buli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.

92:9 Bef 6:5Era kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya, 102:10 Mat 5:16wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.

112:11 1Ti 2:4Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, 122:12 a Tit 3:3 b 2Ti 3:12era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; 132:13 2Pe 1:1nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 142:14 a Kuv 19:5 b Bef 2:10eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi. 15Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

提多書 2:1-15

教導純正的教義

1你的教導要符合純正的教義。 2勸年長的男子要節制、莊重、自律,有全備的信心、愛心和耐心。 3勸年長的婦女要過敬虔的生活,不說長道短,不做酒的奴隸,要以身作則。 4這樣,她們就能教導年輕的婦女愛丈夫、愛兒女、 5自制、貞潔,持家、和善、順服丈夫,免得上帝的道被人毀謗。

6勸勉年輕的男子要自制。 7你自己要在各樣的善行上作眾人的榜樣,在教導上要誠懇、認真、 8言語純全、無可指責,讓那些反對的人無話可說、自覺羞愧。

9勸勉作奴僕的要凡事順服主人,讓主人滿意,不頂撞主人, 10不偷拿主人的東西,為人要忠信可靠,好凡事尊崇我們救主上帝的教導。

11因為上帝拯救世人的恩典已經顯明了, 12這恩典教導我們除掉不敬虔的心和世俗的私慾,在今世過自律、公義、敬畏上帝的生活, 13懷著美好的盼望等候耶穌基督——我們偉大的上帝和救主的榮耀顯現。 14主耶穌為我們犧牲自己,要救贖我們脫離一切罪惡,並潔淨我們,使我們作祂的子民,成為熱心行善的人。

15你要講明這些事,運用各樣權柄勸勉人、責備人,別讓人輕看你。