Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Tito 1

1Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo ng’okukkiriza kw’abalonde ba Katonda bwe kuli n’okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, ebyesigamye ku kusuubira okw’obulamu obutaggwaawo, Katonda ow’amazima kwe yasuubiza ng’ebiro eby’emirembe n’emirembe tebinnabaawo, naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri, eri Tito omwana wange ddala ng’okukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, n’ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.

Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo n’abakadde[a] b’ekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira. Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu. Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng’amanyi okwefuga. Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, n’okulaga obukyamu bw’abo abagiwakanya.

10 Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, n’okusingira ddala abo ab’omu bakomole. 11 Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba ag’obukuusa. 12 Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti, “Abakuleete balimba bulijjo, z’ensolo enkambwe, era ba mululu ate bagayaavu.” 13 Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya n’amaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu, 14 balekeraawo okuwuliriza enfumo ez’Ekiyudaaya, n’ebiragiro abantu abakyama okuva ku mazima bye bagunja. 15 Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu n’abatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe n’ebirowoozo byabwe byayonooneka. 16 Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi n’akatono.

Notas al pie

  1. 1:5 abakadde kitegeeza abantu abakulu mu kukkiriza abateekebwamu ekitiibwa abayinza okulondebwa ku nkiiko z’amakkanisa

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

提多書 1

問候

1我保羅作上帝的奴僕和耶穌基督的使徒,是為了使上帝揀選的人有信心、明白真理,從而過敬虔的生活, 有永生的盼望。這永生是從不說謊的上帝在亙古以前應許的。 祂在所定的時候,藉著人的傳揚將自己的道顯明出來。我奉我們救主上帝的命令傳揚這道。

提多啊,我寫信給你,就我們共同的信仰來說,你是我真正的兒子。

願父上帝和我們的救主基督耶穌賜給你恩典和平安!

長老的資格

當初,我把你留在克里特島,是要你完成未辦完的事工,並照我的指示在各城選立長老。 作長老的必須無可指責,只有一位妻子,兒女都信主、沒有放蕩不羈的行為。 身為上帝的管家,作監督的必須無可指責,不傲慢,不暴躁,不酗酒,不好鬥,不貪財。 他必須好客、樂善、自制、正直、聖潔、自律, 持守所領受的真道,以便能夠以純正的教導勸勉人,駁倒那些反對的人。

10 因為有許多悖逆之人喜歡空談,善於欺騙,尤其是那些奉行割禮的人。 11 你一定要堵住他們的口,因為他們為了不義之財教不該教的,誤導了別人全家。 12 克里特人自己的一位先知說:「克里特人說謊成性,邪惡如獸,好吃懶做。」 13 這話是真的。因此你要嚴正地斥責他們,使他們有純正的信仰, 14 不理會猶太人荒誕的傳說和那些違背真理之人的誡律。 15 對潔淨的人而言,一切都是潔淨的;對污穢不信的人而言,什麼都不潔淨,連他們的思想和良心都是污穢的。 16 他們自稱認識上帝,在行為上卻否認祂。他們令人可憎,悖逆成性,一無是處。