Tito 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Tito 1:1-16

11:1 a Bar 1:1 b 1Ti 2:4Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo ng’okukkiriza kw’abalonde ba Katonda bwe kuli n’okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, 21:2 a 2Ti 1:1 b 2Ti 1:9ebyesigamye ku kusuubira okw’obulamu obutaggwaawo, Katonda ow’amazima kwe yasuubiza ng’ebiro eby’emirembe n’emirembe tebinnabaawo, 31:3 a 1Ti 2:6 b 2Ti 1:10 c 1Ti 1:11 d Luk 1:47naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri, 41:4 2Ko 2:13eri Tito omwana wange ddala ng’okukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, n’ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.

51:5 a Bik 27:7 b Bik 11:30Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo n’abakadde1:5 abakadde kitegeeza abantu abakulu mu kukkiriza abateekebwamu ekitiibwa abayinza okulondebwa ku nkiiko z’amakkanisa b’ekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira. 61:6 1Ti 3:2Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu. 71:7 a 1Ti 3:1 b 1Ko 4:1 c 1Ti 3:3, 8Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa 81:8 a 1Ti 3:2 b 2Ti 3:3naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng’amanyi okwefuga. 91:9 a 1Ti 1:19 b 1Ti 1:10Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, n’okulaga obukyamu bw’abo abagiwakanya.

101:10 a 1Ti 1:6 b Bik 11:2Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, n’okusingira ddala abo ab’omu bakomole. 111:11 2Ti 3:6Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba ag’obukuusa. 121:12 a Bik 17:28 b Bik 2:11Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti, “Abakuleete balimba bulijjo, z’ensolo enkambwe, era ba mululu ate bagayaavu.” 131:13 a 2Ko 13:10 b Tit 2:2Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya n’amaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu, 141:14 a 1Ti 1:4 b Bak 2:22balekeraawo okuwuliriza enfumo ez’Ekiyudaaya, n’ebiragiro abantu abakyama okuva ku mazima bye bagunja. 151:15 Bar 14:14, 23Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu n’abatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe n’ebirowoozo byabwe byayonooneka. 161:16 1Yk 2:4Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi n’akatono.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

提多书 1:1-16

问候

1保罗做上帝的奴仆和耶稣基督的使徒,是为了使上帝拣选的人有信心、明白真理,从而过敬虔的生活, 2有永生的盼望。这永生是从不说谎的上帝在亘古以前应许的。 3祂在所定的时候,借着人的传扬将自己的道显明出来。我奉我们救主上帝的命令传扬这道。

4提多啊,我写信给你,就我们共同的信仰来说,你是我真正的儿子。

愿父上帝和我们的救主基督耶稣赐给你恩典和平安!

长老的资格

5当初,我把你留在克里特岛,是要你完成未办完的事工,并照我的指示在各城选立长老。 6做长老的必须无可指责,只有一位妻子,儿女都信主、没有放荡不羁的行为。 7身为上帝的管家,做监督的必须无可指责,不傲慢,不暴躁,不酗酒,不好斗,不贪财。 8他必须好客、乐善、自制、正直、圣洁、自律, 9持守所领受的真道,以便能够以纯正的教导劝勉人,驳倒那些反对的人。

10因为有许多悖逆之人喜欢空谈,善于欺骗,尤其是那些奉行割礼的人。 11你一定要堵住他们的口,因为他们为了不义之财教不该教的,误导了别人全家。 12克里特人自己的一位先知说:“克里特人说谎成性,邪恶如兽,好吃懒做。” 13这话是真的。因此你要严正地斥责他们,使他们有纯正的信仰, 14不理会犹太人荒诞的传说和那些违背真理之人的诫律。 15对洁净的人而言,一切都是洁净的;对污秽不信的人而言,什么都不洁净,连他们的思想和良心都是污秽的。 16他们自称认识上帝,在行为上却否认祂。他们令人可憎,悖逆成性,一无是处。