Omubuulizi 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 8:1-17

Obuwulize eri Abakulembeze

1Ani afaanana omuntu omugezi

amanyi okunnyonnyola buli kintu?

Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu,

ne gakyusa emitaafu gyamu.

2Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira8:2 Ekirayiro ekyo bwe bweyamo obw’obwesigwa, abaweereza ba kabaka bwe baakolanga eri Katonda. mu maaso ga Katonda. 38:3 Mub 10:4Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala. 48:4 Yob 9:12; Es 1:19; Dan 4:35Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”

5Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi,

omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.

68:6 Mub 3:1Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu,

newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.

7Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo,

kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?

8Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo;

bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe.

Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo,

bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.

9Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka. 108:10 Mub 1:11Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.

11Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi. 128:12 a Ma 12:28; Zab 37:11, 18-19; Nge 1:32-33; Is 3:10-11 b Kuv 1:20 c Mub 3:14Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi. 138:13 a Mub 3:14; Is 3:11 b Ma 4:40; Yob 5:26; Zab 34:12; Is 65:20Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.

148:14 a Yob 21:7; Zab 73:14; Mal 3:15 b Mub 7:15Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu. 158:15 a Zab 42:8 b Kuv 32:6; Mub 2:3 c Mub 2:24; 3:12-13; 5:18; 9:7Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.

168:16 a Mub 1:17 b Mub 1:13Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro. 178:17 a Yob 28:3 b Yob 5:9; 28:23; Mub 3:11; Bar 11:33Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.