Omubuulizi 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 7:1-29

Okulondawo Ekisinga Obulungi

17:1 Nge 22:1; Lu 1:3Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;

n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.

27:2 a Nge 11:19 b Zab 90:12Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga

okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.

Kubanga buli omu wa kufa,

ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.

37:3 Nge 14:13Okunakuwala kusinga okuseka,

kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.

47:4 Mub 2:1; Yer 16:8Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;

naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.

57:5 Zab 141:5; Nge 13:18; 15:31-32Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi

okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.

67:6 a Zab 58:9; 118:12 b Mub 2:2Okuseka kw’abasirusiru

kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu7:6 Amaggwa bwe gaba gookebwa, gatulikatulika, ne gavaamu n’omukka, kyokka ebbugumu ly’omuliro gwago tegubugumya bagwota mu biseera eby’obutiti.;

na kino nakyo butaliimu.

77:7 Kuv 18:21; 23:8; Ma 16:19Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,

n’enguzi efaafaaganya okutegeera.

87:8 Nge 14:29; Bag 5:22; Bef 4:2Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,

n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.

97:9 Mat 5:22; Nge 14:17; Yak 1:19Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,

kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

10Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”

Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.

117:11 a Nge 8:10-11; Mub 2:13 b Mub 11:7Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,

era kigasa abo abakyalaba enjuba.

12Amagezi kiwummulo,

ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,

naye enkizo y’okumanya y’eno:

amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

137:13 a Mub 2:24 b Mub 1:15Lowooza ku Katonda ky’akoze:

ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?

14Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;

naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;

Katonda eyakola ekimu

era ye yakola ne kinnaakyo.

Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako

mu nnaku ze ez’omu maaso.

157:15 a Yob 7:7 b Mub 8:12-14; Yer 12:1Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:

omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,

n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.

16Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde

wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;

oleme okwezikiriza.

177:17 Yob 15:32; Zab 55:23Tobanga mwonoonyi kakuzzi

wadde okuba omusirusiru;

oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.

187:18 Mub 3:14Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,

kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.

197:19 a Mub 2:13 b Mub 9:13-18Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,

aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.

207:20 a Zab 14:3 b 1Bk 8:46; 2By 6:36; Nge 20:9; Bar 3:23Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,

atakola bibi.

217:21 Nge 30:10Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,

si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,

22kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,

ng’emirundi mingi okolimidde abalala.

237:23 Mub 1:17; Bar 1:22Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,

“Mmaliridde okuba omugezi,”

wabula kino kyandi wala.

247:24 Yob 28:12Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,

kale ani ayinza okugavumbula?

257:25 a Yob 28:3 b Mub 1:17Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,

nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,

n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:

n’eddalu ery’obusirusiru.

267:26 a Kuv 10:7; Bal 14:15 b Nge 2:16-19; 5:3-5; 7:23; 22:14Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,

ye mukazi alina omutima ogusendasenda,

era ogusikiriza,

era emikono gye gisiba ng’enjegere.

Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,

kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.

277:27 Mub 1:1Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:

“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,

287:28 1Bk 11:3bwe nnali nga nkyanoonyereza

nabulako kye nzuula,

okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,

kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.

29Wabula kino kyokka kye nalaba:

Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,

naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”