Omubuulizi 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 5:1-20

Mutye Katonda

1Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

25:2 a Bal 11:35 b Yob 6:24; Nge 10:19; 20:25Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,

wadde omutima gwo ogwanguyiriza,

okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.

Katonda ali mu ggulu

ng’ate ggwe oli ku nsi;

kale ebigambo byo bibeerenga bitono.

35:3 a Yob 20:8 b Mub 10:14Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,

n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.

45:4 a Ma 23:21; Bal 11:35; Zab 119:60 b Kbl 30:2; Zab 66:13-14; 76:11Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. 55:5 Kbl 30:2-4; Nge 20:25; Yon 2:9; Bik 5:4Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. 6Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? 75:7 Mub 3:14; 12:13Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere

85:8 Zab 12:5; Mub 4:1Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. 9Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.

10Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;

wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:

na kino nakyo butaliimu.

11Ebintu nga bwe byeyongera obungi,

n’ababirya gye bakoma okweyongera.

Kale nnyini byo agasibwa ki,

okuggyako okusanyusa amaaso ge?

125:12 Yob 20:20Otulo tuwoomera omupakasi

ne bw’aba agabana bitono oba bingi.

Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,

tebumuganya kwebaka.

Okukola n’Essanyu

135:13 Mub 6:1-2Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:

nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,

14ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,

kale bw’aba ne mutabani

tewabaawo mutabani we ky’asigaza.

155:15 a Yob 1:21 b Zab 49:17; 1Ti 6:7 c Mub 1:3Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,

bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.

Tewali ky’aggya mu mirimu gye,

wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.

165:16 Nge 11:29; Mub 1:3Na kino kya bulumi bwereere:

nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;

mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?

17Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,

ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.

185:18 a Mub 2:3 b Mub 2:10, 24Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 195:19 a 1By 29:12; 2By 1:12 b Mub 6:2 c Yob 31:2 d Mub 2:24; 3:13Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 205:20 Ma 12:7, 18Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.