Omubuulizi 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 1:1-18

Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu

11:1 a nny 12; Mub 7:27; 12:10 b Nge 1:1Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.

21:2 Zab 39:5-6; 62:9; 144:4; Mub 12:8; Bar 8:20-21“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.

Byonna butaliimu.

31:3 Mub 2:11, 22; 3:9; 5:15-16Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,

mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?

41:4 Zab 104:5; 119:90Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,

naye ensi ebeerera emirembe gyonna.

51:5 Zab 19:5-6Enjuba evaayo era n’egwa,

ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.

6Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,

ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;

empewo yeetooloola ne yeetooloola,

n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.

71:7 Yob 36:28Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,

naye ennyanja tejjula;

ekifo emigga gye gikulukutira

era gye gyeyongera okukulukutira.

81:8 Nge 27:20Ebintu byonna bijjudde obukoowu

omuntu bw’atasobola kutenda!

Eriiso terimatira kulaba,

wadde okutu okukoowa okuwulira.

91:9 Mub 2:12; 3:15Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,

n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;

era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.

10Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,

“Laba kino kiggya”?

Kyaliwo dda

mu mirembe egyatusooka?

111:11 Mub 2:16Tewali kujjukira bintu byasooka

era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.

Amagezi Agatali ga Katonda Butaliimu

121:12 nny 1Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi. 131:13 Lub 3:17; Mub 3:10Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya. 141:14 Mub 2:11, 17Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.

151:15 Mub 7:13Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa,

n’ekibulako tekibalibwa.

161:16 1Bk 3:12; 4:30; Mub 2:9Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.” 171:17 a Mub 7:23 b Mub 2:3, 12; 7:25Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.

181:18 Mub 2:23; 12:12Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;

amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

传道书 1:1-18

万事虚空

1以下是在耶路撒冷做王的大卫之子——传道者的话。

2传道者说:虚空的虚空,

虚空的虚空,一切都是虚空。

3人在日光之下的一切劳碌有什么益处呢?

4一代过去,一代又来,

大地却永远长存。

5太阳升起,太阳落下,

匆忙回到升起之地。

6风吹向南,又转向北,

循环不息,周而复始。

7江河涌流入海,海却不会满溢;

江河从何处流出,又返回何处。

8万事令人厌烦,人述说不尽。

眼看,看不饱;

耳听,听不够。

9以往发生的事,将来还会发生;

先前做过的事,将来也必再做。

日光之下,根本没有新事。

10人可以指着哪件事说:

“看啊,这是新事”?

所谓的新事在我们以前早就有了。

11过去的事无人记得,

将来的事后人也不记得。

智慧之虚空

12我传道者曾在耶路撒冷以色列的王。 13我专心用智慧去研究、探索天下各样的事,发现上帝给世人的是极重的苦工。 14我观察一切日光之下所做的事,看啊,都是虚空,好像捕风。 15弯曲的不能变直,缺少的无法补足1:15 补足”希伯来文是“数算”。16我心里想:“我获得极大的智慧,远超过以前统治耶路撒冷的人。我拥有丰富的智慧和知识。” 17我又专心察明智慧和知识、狂妄和愚昧,却发现这也是捕风。 18因为智慧越高,愁烦越多;知识越多,痛苦越深。