1Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange
era eyayonka amabeere ga mmange,
nandikusanze ebweru
nandikunywegedde
ne wataba n’omu annyooma.
28:2 Lu 3:4Nandikukulembedde
ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,
oyo eyangigiriza.
Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,
omubisi ogw’amakomamawanga gange.
38:3 Lu 2:6Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange
n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
48:4 Lu 2:7; 3:5Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,
temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.
Abemikwano
58:5 a Lu 3:6 b Lu 3:4Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu
nga yeesigamye muganzi we?
Omwagalwa
Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.
Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo
maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
68:6 a Lu 1:2 b Kbl 5:14Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
78:7 Nge 6:35Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
asekererwa nnyo.
Abemikwano
8Tulina muto waffe
atannamera mabeere,
naye tulikola tutya
bw’alituuka okwogerezebwa?
9Singa abadde bbugwe
twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,
singa abadde luggi
twandimuggalidde na mivule.
Omwagalwa
10Ndi bbugwe
era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,
noolwekyo mu maaso ge,
mmufuukidde aleeta emirembe.
118:11 a Mub 2:4 b Is 7:23Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,
n’agisigira abalimi.
Buli omu ku bo yamusalira
ebitundu bya ffeeza lukumi.
128:12 Lu 1:6Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,
ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,
ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.
Owoomukwano
13Ggwe abeera mu nnimiro
ne mikwano gyo nga weebali,
ka mpulire eddoboozi lyo.
Omwagalwa
148:14 a Nge 5:19 b Lu 2:9 c Lu 2:8, 17Yanguwa okuvaayo eyo,
odduke mangu ng’empeewo
oba ng’ennangaazi ento,
oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.