Oluyimba 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 7:1-13

17:1 Zab 45:13Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto,

ggwe omumbejja!

Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo,

omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.

2Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu,

ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi.

Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano

eyeetooloddwa amalanga.

37:3 Lu 4:5Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo,

abalongo.

47:4 a Zab 144:12; Lu 4:4 b Kbl 21:26 c Lu 5:15Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga.

Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni

ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu.

Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni

ogwolekera Ddamasiko.

57:5 Is 35:2Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri,

n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu;

Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.

67:6 a Lu 1:15 b Lu 4:10Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa

ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.

77:7 Lu 4:5Oli muwanvu ng’olukindu,

n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.

87:8 Lu 2:5Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu,

era ndikwata ebibala byalwo.”

Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu,

n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa

97:9 Lu 5:16n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi.

Omwagalwa

Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange,

ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.

107:10 a Zab 45:11 b Lu 2:16; 6:3Ndi wa muganzi wange,

era naye anjagala nnyo.

11Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga,

tusuleko mu byalo.

127:12 a Lu 1:6 b Lu 2:15 c Lu 2:13 d Lu 4:13 e Lu 6:11Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu,

tulabe obanga emizabbibu gimulisizza,

obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza,

obanga n’emikomamawanga gimulisizza,

era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.

137:13 a Lub 30:14 b Lu 4:16Amadudayimu7:13 Amadudayimu gayamba mu by’okuzaala gawunya akawoowo,

ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi,

Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde,

bye nkuterekedde muganzi wange.