Oluyimba 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 5:1-16

Owoomukwano

15:1 a Lu 4:8 b Lu 4:11; Is 55:1Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;

nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.

Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,

Nywedde wayini wange n’amata gange.

Abemikwano

Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.

Omwagalwa

25:2 a Lu 4:7 b Lu 6:9Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.

Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,

“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,

owe wange ataliiko bbala,

kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,

n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”

3Nziggyeko ekkooti yange,

nnaagyambala ntya nate?

Nanaabye ebigere,

nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?

4Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,

omutima gwange ne gubuukabuuka.

55:5 nny 13Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,

emikono gyange nga gitonnya mooli,

n’engalo zange nga zikulukuta mooli,

ku minyolo gy’ekufulu.

65:6 a Lu 6:1 b Lu 6:2 c Lu 3:1Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,

naye muganzi wange ng’avuddewo,

yeetambulidde.

Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.

Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.

75:7 Lu 3:3Abakuumi baansanga

bwe baali nga balawuna mu kibuga;

baankuba, ne bandeetako ebinuubule,

ne batwala n’ekyambalo kyange,

abasajja abo abakuuma bbugwe.

85:8 a Lu 2:7; 3:5 b Lu 2:5Mmwe abawala ba Yerusaalemi,

mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,

mumutegeeze ng’okwagala kwange

gy’ali bwe kunzita.

Abemikwano

95:9 Lu 1:8; 6:1Owange, kiki muganzi wo ky’alina

kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?

Kiki muganzi wo kyasinza abalala

n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?

Omwagalwa

105:10 Zab 45:2Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,

atabula ne mu bantu omutwalo.

11Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;

n’enviiri ze zirimu amayengo,

era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.

125:12 a Lu 1:15; 4:1 b Lub 49:12Amaaso ge gali ng’amayiba

ku mabbali g’emigga egy’amazzi,

agaanaazibwa n’amata,

ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.

135:13 a Lu 1:10 b Lu 6:2 c Lu 2:1Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,

obuleeta akaloosa akalungi.

Emimwa gye giri ng’amalanga

agakulukuta mooli.

145:14 Yob 28:6Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu

egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.

Omubiri gwe guli ng’amasanga

amayooyote agatoneddwa ne safiro.

155:15 1Bk 4:33; Lu 7:4Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira

ezisimbibwa mu zaabu ennungi.

Mu ndabika afaanana Lebanooni

omulungi ng’emivule gyayo.

165:16 a Lu 4:3 b Lu 7:9 c Lu 1:5Enjogera ye mpomerevu,

weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.

Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;

mmwe abawala ba Yerusaalemi.