Oluyimba 2 – LCB & OL

Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 2:1-17

12:1 a Is 35:1 b 1By 27:29 c Lu 5:13; Kos 14:5Ndi kimuli kya looza ekya Saloni,2:1 Ekimuli kya Looza ekya Saloni kimera ekisangibwa mu nsenyi z’omu bukiikaddyo bwa Kalumeeri.

eddanga ery’omu biwonvu.

Owoomukwano

2Ng’eddanga mu maggwa,

gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.

Omwagalwa

32:3 a Lu 1:14 b Lu 1:4 c Lu 4:16Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira,

aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka.

Neesiima okutuula mu kisiikirize kye,

n’ekibala kye kimpomera.

42:4 a Es 1:11 b Kbl 1:52Yantwala ku kijjulo,

n’okwagala kwe ne ku mmaamira.

52:5 a Lu 7:8 b Lu 5:8Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu,

mumbuddeebudde n’emicungwa

kubanga okwagala kunzirisizza.

62:6 Lu 8:3Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,

n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.

72:7 a Lu 5:8 b Lu 3:5; 8:4Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,

ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,

temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala

okutuusa nga kweyagalidde.

82:8 nny 17; Lu 8:14Wuliriza omwagalwa wange,

Laba, ajja

ng’abuukirabuukira ku nsozi,

ng’azinira ku busozi.

92:9 a 2Sa 2:18 b nny 17; Lu 8:14Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.

Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,

Alingiza mu madirisa,

alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.

10Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,

“Golokoka, Owoomukwano,

omulungi wange, ojje tugende,

11kubanga laba ttoggo aweddeko,

n’enkuba eweddeyo.

12Ebimuli bimulisizza,

n’ebiro eby’okuyimba bituuse,

era n’okukaaba kw’amayiba

kuwulirwa mu nsi.

132:13 a Is 28:4; Yer 24:2; Kos 9:10; Mi 7:1; Nak 3:12 b Lu 7:12Omutiini2:13 Emitiini mu Isirayiri gibala emirundi ebiri mu mwaka. Amakungula agasinga galingawo mu biseera ebya ttoggo gubala ettiini zaagwo,

n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.

Golokoka Owoomukwano,

omulungi wange ojje tugende.”

Owoomukwano

142:14 a Lub 8:8; Lu 1:15 b Lu 1:5; 8:13Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,

mu bwekwekero obw’amayinja,

ndaga amaaso go,

ka mpulire eddoboozi lyo,

kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,

n’amaaso go gasanyusa.

152:15 a Bal 15:4 b Lu 1:6 c Lu 7:12Tukwatire ebibe,

obube obutono,

obwonoona ennimiro ez’emizabbibu,

kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.

Omwagalwa

162:16 a Lu 7:10 b Lu 4:5; 6:3Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe;

aliisiza ekisibo kye mu malanga,

172:17 a Lu 4:6 b Lu 1:14 c nny 9 d nny 8okutuusa obudde nga bukedde

n’ebisiikirize nga biddukidde ddala;

okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo

oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.

O Livro

Cântico de Salomão 2:1-17

Ela

1Eu sou a rosa de Sarom, o lírio dos vales.

Ele

2Sim, um lírio entre espinhos;

assim é a minha querida,

quando a comparo às outras.

Ela

3O meu amado é como uma macieira,

no meio das árvores do pomar,

quando comparado com outros rapazes.

Sento-me à sua desejada sombra;

o seu fruto é doce ao meu paladar.

4Leva-me a beber na sala de banquetes

e ergue sobre mim o estandarte do amor.

5Sustém-me com fruta, com uvas, com maçãs,

pois estou desfalecendo de amor.

6Põe a sua mão esquerda debaixo da minha cabeça

e com a direita abraça-me.

7Ó filhas de Jerusalém, conjuro-vos,

pelas gazelas e cervas dos bosques,

que não acordem o meu amado,

até que ele queira!

8Já o ouço, o meu amor!

Lá vem ele, galopando sobre os montes,

saltando por cima das colinas.

9O meu querido é como uma gazela,

ou o filho dum veado.

Vejam, aí está ele, por detrás do nosso muro;

agora, está já a olhar pelas janelas!

10Disse-me o meu amor:

“Levanta-te, querida, minha bela, e vem!

11Porque já passou o inverno;

a chuva parou e foi-se.

12As flores começam a brotar nos campos;

é o tempo de cantar e de podar;

ouve-se o cantar da rola nos nossos campos.

13As figueiras começam a dar os seus primeiros figos,

e os cachos começam a aparecer nas vinhas.

Já começam a cheirar bem!

Levanta-te, amor, minha linda, e vem!”

Ele

14Minha pomba, que te escondes nas fendas das penhas,

no fundo dos desfiladeiros,

faz-me ouvir a tua voz tão doce;

mostra-me o teu rosto encantador.

15As raposinhas andam correndo pelas vinhas.

Apanhem-nas,

porque os cachos estão já todos a desabrochar.

Ela

16O meu amor é meu e eu sou dele.

Ele apascenta o seu rebanho entre os lírios!

17Antes que refresque o dia e caiam as sombras,

volta, meu querido;

faz-te semelhante a uma gazela,

ou ao filho dum veado sobre os montes de Beter.