Olubereberye 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 7:1-24

17:1 a Mat 24:38 b Lub 6:9; Ez 14:14Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno. 27:2 nny 8; Lub 8:20; Lv 10:10; 11:1-47Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi, 3era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi. 4Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”

57:5 Lub 6:22Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.

6Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi. 7Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba. 8Era ensolo ennongoofu, n’ensolo ezitali nnongoofu n’ebibuuka mu bbanga na buli ekyewalula, 9ne biyingira bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira. 10Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi.

117:11 a Ez 26:19 b Lub 8:2Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. 127:12 nny 4Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro. 13Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato. 14Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato. 157:15 Lub 6:19Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu. 16Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.

177:17 nny 4Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi. 18Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 197:19 Zab 104:6Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka. 20Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu. 217:21 Lub 6:7, 13Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna. 227:22 Lub 1:30Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa. 237:23 a Mat 24:39; Luk 17:27; 1Pe 3:20; 2Pe 2:5 b Beb 11:7Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.

247:24 Lub 8:3Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.