Olubereberye 6 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 6:1-22

Amataba

16:1 Lub 1:28Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala. 2Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera. 36:3 a Is 57:16 b Zab 78:39Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”

46:4 Kbl 13:33Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.

Katonda asalira abantu omusango

56:5 Lub 8:21; Zab 14:1-3Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna. 66:6 1Sa 15:11, 35; Is 63:10Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe. 7Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.” 86:8 Lub 19:19; Kuv 33:12, 13, 17; Luk 1:30; Bik 7:46Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.

Ekiragiro ky’okuzimba Eryato

96:9 a Lub 7:1; Ez 14:14, 20; Beb 11:7; 2Pe 2:5 b Lub 5:22Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye:

Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda. 106:10 Lub 5:32Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.

116:11 Ez 7:23; 8:17Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde eddalu. 126:12 Zab 14:1-3Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu. 136:13 nny 17; Ez 7:2-3Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi. 146:14 a Beb 11:7; 1Pe 3:20 b Kuv 2:3Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu. 15Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 16Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu. 176:17 Lub 7:4, 21-23; 2Pe 2:5Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa. 186:18 a Lub 9:9-16 b Lub 7:1, 7, 13Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe. 19Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe. 206:20 Lub 7:15Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gy’oli, bibeere biramu. 21Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”

226:22 Lub 7:5, 9, 16Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.

Thai New Contemporary Bible

ปฐมกาล 6:1-22

น้ำท่วมโลก

1เมื่อมนุษย์เริ่มทวีจำนวนขึ้นบนโลกและให้กำเนิดบุตรสาว 2บรรดาบุตรชายของพระเจ้าเห็นว่าบรรดาบุตรสาวของมนุษย์สวยงามก็เลือกเอามาเป็นภรรยาตามใจชอบ 3แล้วองค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสว่า “จิตวิญญาณของเราจะไม่คงอยู่กับมนุษย์ตลอดไป เพราะเขาเป็นเพียงมนุษย์ที่ต้องตาย6:3 หรือเสื่อมทราม เขาจะมีอายุขัย 120 ปี”

4ในสมัยนั้นและสืบต่อมาภายหลัง มีคนเนฟิลอาศัยอยู่ในโลก คือสมัยที่บุตรชายของพระเจ้าไปอยู่กินกับบุตรสาวของมนุษย์และมีลูกหลานกับเขา คนเหล่านี้เป็นคนใหญ่คนโตที่มีชื่อเสียงในยุคโบราณ

5องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงเห็นว่าความชั่วร้ายของมนุษย์ในโลกทวีมากยิ่งขึ้น และความคิดจิตใจของเขาก็โน้มเอียงไปในทางชั่วอยู่เสมอ 6องค์พระผู้เป็นเจ้าจึงทรงเสียพระทัยยิ่งนักที่ได้ทรงสร้างมนุษย์ขึ้นมาในโลก และพระองค์ทรงปวดร้าวพระทัย 7ดังนั้นองค์พระผู้เป็นเจ้าจึงตรัสว่า “เราจะกวาดล้างมนุษยชาติที่เราได้สร้างขึ้นออกจากผืนแผ่นดิน ทั้งมนุษย์และสัตว์ทั้งปวง สัตว์ที่เลื้อยคลาน และนกในอากาศ เพราะเราเสียใจที่ได้สร้างพวกนี้ขึ้นมา” 8แต่โนอาห์เป็นที่โปรดปรานในสายพระเนตรขององค์พระผู้เป็นเจ้า

9นี่คือเรื่องราวเชื้อสายของโนอาห์

โนอาห์เป็นคนชอบธรรม เป็นคนดีพร้อมเมื่อเทียบกับคนในยุคของเขาและดำเนินชีวิตไปกับพระเจ้า 10โนอาห์มีบุตรชายสามคนคือ เชม ฮาม และยาเฟท

11ในขณะนั้นโลกเสื่อมทรามในสายพระเนตรของพระเจ้าและเต็มไปด้วยความโหดร้ายทารุณ 12พระเจ้าทรงเห็นว่าโลกเสื่อมทรามมากเพราะสิ่งมีชีวิตทั้งปวงล้วนดำเนินชีวิตอย่างเสื่อมทราม 13พระเจ้าจึงตรัสกับโนอาห์ว่า “เรากำลังจะนำจุดจบมาถึงคนทั้งปวง เพราะสิ่งมีชีวิตทั้งปวงทำให้โลกเต็มไปด้วยความโหดร้ายทารุณ เราจะทำลายสิ่งเหล่านี้และโลกอย่างแน่นอน 14ดังนั้นจงต่อเรือขึ้นลำหนึ่งด้วยไม้ไซเปรส และกั้นเป็นห้องๆ แล้วยาด้วยชันตลอดทั้งนอกและใน 15เรือนี้ยาว 300 ศอก กว้าง 50 ศอก และสูง 30 ศอก 16จงทำหลังคาคลุมและระหว่างหลังคากับตัวเรือให้เว้นช่องสูง 1 ศอก6:16 คือ ประมาณครึ่งเมตรโดยรอบ จงทำประตูบานหนึ่งไว้ด้านข้างของเรือ และต่อเรือเป็นชั้นล่าง ชั้นกลาง ชั้นบน 17เรากำลังจะให้น้ำท่วมโลกเพื่อทำลายสิ่งมีชีวิตทั้งมวลภายใต้ฟ้าสวรรค์ คือทุกสิ่งที่มีลมหายใจแห่งชีวิต ทุกสิ่งบนแผ่นดินโลกจะพินาศสิ้น 18แต่เราจะทำพันธสัญญาอันมั่นคงกับเจ้า เจ้าจะเข้าไปในเรือ คือทั้งตัวเจ้า ภรรยา บุตรชาย และบุตรสะใภ้ของเจ้า 19จงนำสัตว์ทุกชนิดมาเป็นคู่ๆ ทั้งตัวผู้และตัวเมียเข้ามาในเรือเพื่อรักษาชีวิตของมันให้รอดด้วยกันกับเจ้า 20นกทุกชนิด สัตว์ทุกชนิด สัตว์ที่เลื้อยคลานทุกชนิดจะมาหาเจ้าอย่างละคู่เพื่อรักษาชีวิตของพวกมันไว้ 21จงสะสมเสบียงทุกอย่างเพื่อเก็บไว้เป็นอาหารสำหรับเจ้าและสัตว์เหล่านั้น”

22โนอาห์ก็ทำทุกสิ่งตามที่พระเจ้าทรงบัญชา