Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 6

Amataba

1Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala. Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera. Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”

Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.

Katonda asalira abantu omusango

Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna. Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe. Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.” Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.

Ekiragiro ky’okuzimba Eryato

Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye:

Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda. 10 Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.

11 Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde eddalu. 12 Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu. 13 Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi. 14 Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu. 15 Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 16 Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu. 17 Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa. 18 Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe. 19 Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe. 20 Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gy’oli, bibeere biramu. 21 Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”

22 Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.

New International Version - UK

Genesis 6

Wickedness in the world

1When human beings began to increase in number on the earth and daughters were born to them, the sons of God saw that the daughters of humans were beautiful, and they married any of them they chose. Then the Lord said, ‘My Spirit will not contend with[a] humans for ever, for they are mortal;[b] their days will be a hundred and twenty years.’

The Nephilim were on the earth in those days – and also afterwards – when the sons of God went to the daughters of humans and had children by them. They were the heroes of old, men of renown.

The Lord saw how great the wickedness of the human race had become on the earth, and that every inclination of the thoughts of the human heart was only evil all the time. The Lord regretted that he had made human beings on the earth, and his heart was deeply troubled. So the Lord said, ‘I will wipe from the face of the earth the human race I have created – and with them the animals, the birds and the creatures that move along the ground – for I regret that I have made them.’ But Noah found favour in the eyes of the Lord.

Noah and the flood

This is the account of Noah and his family.

Noah was a righteous man, blameless among the people of his time, and he walked faithfully with God. 10 Noah had three sons: Shem, Ham and Japheth.

11 Now the earth was corrupt in God’s sight and was full of violence. 12 God saw how corrupt the earth had become, for all the people on earth had corrupted their ways. 13 So God said to Noah, ‘I am going to put an end to all people, for the earth is filled with violence because of them. I am surely going to destroy both them and the earth. 14 So make yourself an ark of cypress[c] wood; make rooms in it and coat it with pitch inside and out. 15 This is how you are to build it: the ark is to be three hundred cubits long, fifty cubits wide and thirty cubits high.[d] 16 Make a roof for it, leaving below the roof an opening one cubit[e] high all around.[f] Put a door in the side of the ark and make lower, middle and upper decks. 17 I am going to bring floodwaters on the earth to destroy all life under the heavens, every creature that has the breath of life in it. Everything on earth will perish. 18 But I will establish my covenant with you, and you will enter the ark – you and your sons and your wife and your sons’ wives with you. 19 You are to bring into the ark two of all living creatures, male and female, to keep them alive with you. 20 Two of every kind of bird, of every kind of animal and of every kind of creature that moves along the ground will come to you to be kept alive. 21 You are to take every kind of food that is to be eaten and store it away as food for you and for them.’

22 Noah did everything just as God commanded him.

Notas al pie

  1. Genesis 6:3 Or My spirit will not remain in
  2. Genesis 6:3 Or corrupt
  3. Genesis 6:14 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain.
  4. Genesis 6:15 That is, about 135 metres long, 23 metres wide and 14 metres high
  5. Genesis 6:16 That is, about 45 centimetres
  6. Genesis 6:16 The meaning of the Hebrew for this clause is uncertain.