Olubereberye 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 5:1-32

Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa

15:1 Lub 1:27; Bef 4:24; Bak 3:10Luno lwe lulyo lwa Adamu.

Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. 25:2 Lub 1:27; Mat 19:4; Mak 10:6; Bag 3:28Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”

35:3 Lub 1:26; 1Ko 15:49Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. 4Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 55:5 Lub 3:19Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa.

6Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi. 7Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 8Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa.

9Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani. 10Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 11Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa.

12Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. 13Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 14Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi.

15Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi. 16Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 17Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa.

185:18 Yud 14Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka. 19Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 20Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa.

21Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera. 225:22 nny 24; Lub 6:9; 17:1; 48:15; Mi 6:8; Mal 2:6Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 23Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. 245:24 a nny 22 b 2Bk 2:1, 11; Beb 11:5Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.

Mesuseera ne Nuuwa

25Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. 26Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 27Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa.

28Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi 295:29 Lub 3:17; Bar 8:20n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” 30Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 31Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu.

32Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 5:1-32

亚当的后代

1以下是关于亚当后代的记载。

上帝造人的时候,是照祂自己的形象造的。 2祂造了男人和女人,又赐福给他们,在创造他们的那日称他们为“人”。 3亚当一百三十岁生了一子,长相酷似自己,给他取名叫塞特4亚当生了塞特以后,又活了八百年,生儿育女, 5九百三十岁去世。

6塞特一百零五岁生以挪士7之后又活了八百零七年,生儿育女, 8九百一十二岁去世。

9以挪士九十岁生该南10之后又活了八百一十五年,生儿育女, 11九百零五岁去世。

12该南七十岁生玛勒列13之后又活了八百四十年,生儿育女, 14九百一十岁去世。

15玛勒列六十五岁生雅列16之后又活了八百三十年,生儿育女, 17八百九十五岁去世。

18雅列一百六十二岁生以诺19之后又活了八百年,生儿育女, 20九百六十二岁去世。

21以诺六十五岁生玛土撒拉22之后与上帝亲密同行三百年,生儿育女, 23共活了三百六十五年。 24以诺与上帝亲密同行,后来被上帝接去,不在世上了。

25玛土撒拉一百八十七岁生拉麦26之后又活了七百八十二年,生儿育女, 27九百六十九岁去世。

28拉麦一百八十二岁生了一个儿子, 29取名叫挪亚5:29 希伯来文中“挪亚”与“安慰”谐音。,他说:“耶和华咒诅了大地,以致我们艰辛劳苦,这孩子必使我们从艰辛劳苦中得安慰。” 30拉麦挪亚之后,又活了五百九十五年,生儿育女, 31七百七十七岁去世。

32挪亚五百岁生雅弗