Olubereberye 49 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 49:1-33

Yakobo Asabira Batabani be Omukisa

149:1 Kbl 24:14; Yer 23:20Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.

249:2 Zab 34:11Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,

muwulirize Isirayiri kitammwe.

349:3 a Lub 29:32 b Ma 21:17; Zab 78:51Lewubeeni ggwe mubereberye wange,

amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,

ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.

449:4 a Is 57:20 b Lub 35:22; Ma 27:20Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,

kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,

mu nnyumba yange, n’okyonoona.

549:5 Lub 34:25; Nge 4:17Simyoni ne Leevi baaluganda,

ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.

649:6 a Nge 1:15; Bef 5:11 b Lub 34:26Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.

Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.

Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,

olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.

749:7 Yos 19:1, 9; 21:1-42Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;

n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.

Ndibaawula mu Yakobo,

ndibasaasaanya mu Isirayiri.

849:8 Ma 33:7; 1By 5:2Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.

Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.

Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.

949:9 a Kbl 24:9; Ez 19:5; Mi 5:8 b Kub 5:5Yuda, mwana w’empologoma.

Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.

Yakutama, yabwama ng’empologoma.

Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?

1049:10 a Kbl 24:17, 19; Zab 60:7 b Zab 2:9; Is 42:1, 4Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,

okutuusa Siiro lw’alijja;

era oyo amawanga gonna

gwe ganaawuliranga.

11Alisiba endogoyi ku muzabbibu,

n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,

ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,

n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.

12Amaaso ge galimyuka wayini,

n’amannyo ge galitukula okusinga amata.

1349:13 Lub 30:20; Ma 33:18-19; Yos 19:10-11Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;

anaabanga mwalo gw’amaato,

ensalo ze ziriba ku Sidoni.

1449:14 Lub 30:18Isakaali ndogoyi ya maanyi,

ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;

15yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;

nga n’ensi esanyusa;

n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,

n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.

1649:16 Lub 30:6; Ma 33:22; Bal 18:26-27Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be

ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.

1749:17 Bal 18:27Ddaani anaaba musota mu kkubo,

essalambwa ku kkubo,

eriruma ebisinziiro by’embalaasi,

omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.

1849:18 Zab 119:166, 174Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.

1949:19 Lub 30:11; Ma 33:20; 1By 5:18Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,

naye ye, alibafubutukira emabega.

2049:20 Lub 30:13; Ma 33:24Aseri emmere ye eneebanga ngimu,

era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.

2149:21 Lub 30:8; Ma 33:23Nafutaali mpeewo ya ddembe,

avaamu ebigambo ebirungi.

2249:22 Lub 30:24; Ma 33:13-17Yusufu lye ttabi eribala ennyo,

ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;

abaana be babuna bbugwe.

2349:23 Lub 37:24Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,

baamulasa ne bamulumya nnyo;

2449:24 a Zab 18:34 b Zab 132:2, 5; Is 1:24; 41:10 c Is 28:16naye omutego gwe ne gunywera,

n’emikono gye ne gitasagaasagana.

Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,

olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,

2549:25 a Lub 28:13 b Lub 27:28olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,

olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,

omukisa oguva waggulu mu ggulu,

omukisa ogwa wansi mu buziba,

omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.

2649:26 Ma 33:15-16Omukisa gwa kitaawo

gusinga omukisa gwa bajjajjange,

gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.

Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,

gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.

2749:27 Lub 35:18; Bal 20:12-13Benyamini musege ogunyaga,

mu makya alya omuyiggo,

mu kawungeezi n’agaba omunyago.

28Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.

Okufa kwa Yakobo

2949:29 a Lub 50:16 b Lub 25:8 c Lub 15:15; 47:30; 50:13Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 3049:30 a Lub 23:9 b Lub 23:20mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 3149:31 a Lub 25:9 b Lub 23:19 c Lub 35:29Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

3349:33 nny 29; Lub 25:8; Bik 7:15Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.