Olubereberye 45 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 45:1-28

Yusufu Yeeraga Baganda be

145:1 Lub 43:31Awo Yusufu n’atasobola kwefuga n’alemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be. 245:2 a Lub 29:11 b nny 16; Lub 46:29Awo n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’Abamisiri ne bamuwulira era n’ennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira.

345:3 a Bik 7:13 b nny 15Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge.

445:4 Lub 37:28Awo Yusufu n’agamba baganda be nti, “Mbasaba munsemberere.” Ne basembera gy’ali. N’abagamba nti, “Nze muganda wammwe Yusufu gwe mwatunda e Misiri. 545:5 a Lub 42:21 b Lub 42:22 c nny 7-8; Lub 50:20; Zab 105:17Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olw’okuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu. 6Kubanga enjala ebadde mu nsi okumala emyaka gino ebiri; era wakyaliyo emirala etaano egitalibaamu kulima wadde okukungula. 745:7 a 2Bk 19:4, 30, 31; Is 10:20, 21; Mi 4:7; Zef 2:7 b Kuv 15:2; Es 4:14; Is 25:9Era Katonda yantuma mbasookeyo mbakuumire abalisigalawo ku nsi; ndyoke mbawonyezeewo abantu abangi ennyo mu ngeri ey’ekitalo.

845:8 a Bal 17:10 b Lub 41:41“Noolwekyo si mmwe mwansindika wano, wabula Katonda; era anfudde kitaawe wa Falaawo, era mukama w’ennyumba ye era omufuzi w’ensi yonna ey’e Misiri. 945:9 Lub 43:10Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa; 1045:10 Lub 46:28, 34; 47:1ojja kubeera mu Goseni45:10 Goseni kisangibwa mu Misiri, Omugga Kiyira we luyingirira mu nnyanja ennene, Meditereniyaani, era kifo kijimu nnyo., olibeera kumpi nange. Ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina; 1145:11 Lub 47:12eyo gye nnaabagabiririranga; si kulwa nga mmwe n’ennyumba zammwe ne byonna bye mulina biggwaawo.’ 

12“Era kaakano mwerabiddeko n’amaaso gammwe era ne muganda wange Benyamini akyerabiddeko nti nze njogera nammwe. 1345:13 Bik 7:14Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.”

14Awo Yusufu n’agwa Benyamini mu kifuba n’akaaba ne Benyamini n’akaabira ku kibegabega kye. 1545:15 a Luk 15:20 b nny 3N’agwa baganda be mu kifuba, n’akaabira buli omu ku bo; n’oluvannyuma baganda be ne boogera naye.

Ab’olulyo lwa Yusufu Bayitibwa e Misiri

1645:16 Bik 7:13Ebigambo eby’okujja kwa baganda ba Yusufu bwe byawulirwa mu nnyumba ya Falaawo ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaweereza be. 17Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: mutikke ensolo zammwe muddeyo mu nsi ya Kanani, 1845:18 a Lub 27:28; 46:34; 47:6, 11, 27; Kbl 18:12, 29 b Zab 37:19munone kitammwe n’abantu bammwe n’ebyammwe mujje gye ndi, ndibawa ekifo ekisinga obulungi mu nsi y’e Misiri, nammwe mulirya obulungi obw’ensi.’

1945:19 Lub 46:5“Era balagire batwale amagaali okuva mu nsi y’e Misiri olw’abaana baabwe abato ne bakyala bammwe, mujje ne kitammwe. 20Wabula ebintu byammwe tebibateganya nnyo, kubanga ebisinga obulungi mu Misiri yenna bijja kuba byammwe.”

2145:21 Lub 42:25Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo; Yusufu n’abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira n’abawa n’entanda ey’omu kkubo. 2245:22 Lub 37:3; 43:34Buli omu ku bo n’amuwa ebyambalo eby’okukyusa, naye ye Benyamini n’amuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n’ebyambalo eby’okuwanyisa emigogo etaano. 23Kitaawe n’amuweereza endogoyi kkumi ezeetisse ebintu ebirungi eby’e Misiri n’endogoyi enkazi kkumi ezeetisse emmere, emigaati n’entanda ya kitaawe bw’aliba ajja. 2445:24 Lub 42:21-22Awo n’asiibula baganda be. Bwe baali bagenda n’abagamba nti, “Temuyombera mu kkubo.”

25Bwe batyo ne bambuka okuva mu Misiri ne batuuka mu nsi ya Kanani eri kitaabwe Yakobo. 2645:26 Lub 44:28Bwe baatuuka ne bamutegeeza nti Yusufu akyali mulamu, era y’afuga ensi y’e Misiri yonna. Bwe yawulira ebyo n’awunga n’atasobola kubakkiriza. 2745:27 nny 19Naye bwe baamutegeeza ebigambo bya Yusufu byonna bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala n’addamu omwoyo; 28n’agamba nti, “Mmatidde, omwana wange Yusufu akyali mulamu. Nzija kugenda mulabe nga sinnafa.”

King James Version

Genesis 45:1-28

1Then Joseph could not refrain himself before all them that stood by him; and he cried, Cause every man to go out from me. And there stood no man with him, while Joseph made himself known unto his brethren. 2And he wept aloud: and the Egyptians and the house of Pharaoh heard.45.2 wept…: Heb. gave forth his voice in weeping 3And Joseph said unto his brethren, I am Joseph; doth my father yet live? And his brethren could not answer him; for they were troubled at his presence.45.3 troubled: or, terrified 4And Joseph said unto his brethren, Come near to me, I pray you. And they came near. And he said, I am Joseph your brother, whom ye sold into Egypt. 5Now therefore be not grieved, nor angry with yourselves, that ye sold me hither: for God did send me before you to preserve life.45.5 nor…: Heb. neither let there be anger in your eyes 6For these two years hath the famine been in the land: and yet there are five years, in the which there shall neither be earing nor harvest. 7And God sent me before you to preserve you a posterity in the earth, and to save your lives by a great deliverance.45.7 to preserve…: Heb. to put for you a remnant 8So now it was not you that sent me hither, but God: and he hath made me a father to Pharaoh, and lord of all his house, and a ruler throughout all the land of Egypt. 9Haste ye, and go up to my father, and say unto him, Thus saith thy son Joseph, God hath made me lord of all Egypt: come down unto me, tarry not: 10And thou shalt dwell in the land of Goshen, and thou shalt be near unto me, thou, and thy children, and thy children’s children, and thy flocks, and thy herds, and all that thou hast: 11And there will I nourish thee; for yet there are five years of famine; lest thou, and thy household, and all that thou hast, come to poverty. 12And, behold, your eyes see, and the eyes of my brother Benjamin, that it is my mouth that speaketh unto you. 13And ye shall tell my father of all my glory in Egypt, and of all that ye have seen; and ye shall haste and bring down my father hither. 14And he fell upon his brother Benjamin’s neck, and wept; and Benjamin wept upon his neck. 15Moreover he kissed all his brethren, and wept upon them: and after that his brethren talked with him.

16¶ And the fame thereof was heard in Pharaoh’s house, saying, Joseph’s brethren are come: and it pleased Pharaoh well, and his servants.45.16 pleased…: Heb. was good in the eyes of Pharaoh 17And Pharaoh said unto Joseph, Say unto thy brethren, This do ye; lade your beasts, and go, get you unto the land of Canaan; 18And take your father and your households, and come unto me: and I will give you the good of the land of Egypt, and ye shall eat the fat of the land. 19Now thou art commanded, this do ye; take you wagons out of the land of Egypt for your little ones, and for your wives, and bring your father, and come. 20Also regard not your stuff; for the good of all the land of Egypt is yours.45.20 regard…: Heb. let not your eye spare, etc. 21And the children of Israel did so: and Joseph gave them wagons, according to the commandment of Pharaoh, and gave them provision for the way.45.21 commandment: Heb. mouth 22To all of them he gave each man changes of raiment; but to Benjamin he gave three hundred pieces of silver, and five changes of raiment. 23And to his father he sent after this manner; ten asses laden with the good things of Egypt, and ten she asses laden with corn and bread and meat for his father by the way.45.23 laden…: Heb. carrying 24So he sent his brethren away, and they departed: and he said unto them, See that ye fall not out by the way.

25¶ And they went up out of Egypt, and came into the land of Canaan unto Jacob their father, 26And told him, saying, Joseph is yet alive, and he is governor over all the land of Egypt. And Jacob’s heart fainted, for he believed them not.45.26 Jacob’s: Heb. his 27And they told him all the words of Joseph, which he had said unto them: and when he saw the wagons which Joseph had sent to carry him, the spirit of Jacob their father revived: 28And Israel said, It is enough; Joseph my son is yet alive: I will go and see him before I die.