Olubereberye 42 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 42:1-38

Baganda ba Yusufu Bajja e Misiri

142:1 Bik 7:12Yakobo bwe yategeera nga mu Misiri eriyo emmere, n’agamba batabani be nti, “Lwaki mutunula butunuzi? 242:2 Lub 43:8Mpulidde nti mu Misiri eriyo emmere, muserengete mutugulireyo emmere, tube balamu, tuleme okufa.”

3Awo baganda ba Yusufu ekkumi ne baserengeta e Misiri okugula emmere. 442:4 nny 38Kyokka Yakobo n’atasindika Benyamini, muto wa Yusufu wamu ne baganda be kubanga yatya nti akabi kayinza okumutuukako. 542:5 a Lub 41:57 b Lub 12:10; Bik 7:11Bwe batyo batabani ba Isirayiri ne bajja mu Misiri wamu n’abalala abajja okugula emmere, kubanga ensi ya Kanani yali ejjudde enjala.

Yusufu Asanga Baganda be

642:6 a Lub 41:41 b Lub 37:7-10Mu kiseera ekyo Yusufu ye yali afuga Misiri; nga y’aguza abantu emmere. Awo baganda be ne bajja ne bamuvuunamira. 742:7 nny 30Yusufu n’abalaba n’abategeera, wabula n’abayisa nga b’atamanyi n’ayogera nabo n’obukambwe. N’ababuuza nti, “Muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere.”

842:8 Lub 37:2Bw’atyo Yusufu n’ategeera baganda be kyokka bo ne batamutegeera. 942:9 Lub 37:7Awo Yusufu n’ajjukira ebirooto bye ku bo. N’abagamba nti, “Muli bakessi; muzze kuketta nsi yaffe mulabe bw’eri ennafu.” 10Ne bamuddamu nti, “Nedda mukama waffe; abaddu bo tuzze kugula mmere. 11Ffenna tuli batabani ba musajja omu, tuli basajja ba mazima. Abaddu bo tetuli bakessi.” 12Ye n’abaddamu nti, “Nedda muzze kulaba obunafu bw’ensi yaffe bwe buli.” 1342:13 Lub 37:30, 33; 44:20Ne bamuddamu nti, “Abaddu bo tuli kkumi na babiri, tuli baana ba muntu omu mu nsi ya Kanani, laba muto waffe n’olwa leero ali ne kitaffe, n’omulala yafa.”

14Naye Yusufu n’alumiriza nti, “Kiri nga bwe mbagambye, muli bakessi. 1542:15 1Sa 17:55Nzija kubategeerera ku kino, ndayidde obulamu bwa Falaawo temujja kuva wano, okuggyako nga muto wammwe aleeteddwa wano. 1642:16 nny 11Mutume omu ku mmwe, aleete muganda wammwe, mwe mubeere mu kkomera, ebigambo byammwe byetegerezebwe obanga ddala bye mwogedde bya mazima. Oba si ekyo ndayidde obulamu bwa Falaawo, muli bakessi.” 1742:17 Lub 40:4Awo n’abateeka bonna mu kkomera okumala ennaku ssatu.

1842:18 Lub 20:11; Lv 25:43Ku lunaku olwokusatu Yusufu n’abagamba nti, “Mukole bwe muti okuwonya obulamu bwammwe, kubanga ntya Katonda; 19obanga ddala muli basajja b’amazima, omu ku baganda bammwe asigale ng’asibiddwa mu kkomera, abalala mugende mutwalire abantu bammwe emmere, 2042:20 nny 15, 34; Lub 43:5; 44:23mundeetere muto wammwe, olwo ebigambo byammwe bikakasibwe muleme okufa.” Awo ne bakola bwe batyo.

2142:21 a Lub 37:26-28 b Kos 5:15Awo ne bagambagana nti, “Ddala tuliko omusango gwa muganda waffe, kubanga twalaba nga mweraliikirivu, bwe yatwegayirira ne tutamuwuliriza; akabi kano kyekavudde katutuukako.” 2242:22 a Lub 37:21-22 b Lub 9:5 c 1Bk 2:32; 2By 24:22; Zab 9:12Lewubeeni kwe kubaddamu nti, “Nnabagamba muleme kukola kabi ku mulenzi, nga mmwe temumpuliriza; kale omusaayi gwe kyeguva gutuwalanwako.”

23Ne batamanya nti Yusufu ategedde bye boogedde, kubanga bayogeranga naye nga bayita mu mutaputa. 2442:24 nny 13; Lub 43:14, 23; 45:14-15Awo Yusufu n’atunula ebbali n’akaaba, ate n’akyuka gye bali n’ayogera nabo. Awo n’atwala Simyoni n’amusiba nga balaba. 2542:25 a Lub 43:2 b Lub 44:1, 8 c Bar 12:17, 20-21N’alagira bajjuze ensawo zaabwe eŋŋaano, era bazze ensimbi za buli omu mu nsawo ye, baweebwe n’entanda; ne bibakolerwa. 26Awo ne batikka endogoyi zaabwe eŋŋaano ne bagenda.

2742:27 Lub 43:21-22Naye omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye nga bali mu kifo mwe baasula, n’alaba ensimbi ze ku mumwa gw’ensawo; 2842:28 Lub 43:23n’agamba baganda be nti, “Ensimbi zange baazinzirizza, ziizino mu kamwa k’ensawo yange!” Ekyo ne kibeeralikiriza, buli omu n’atandika okutya, nga bwe bagamba nti, “Kiki kino Katonda ky’atukoze!”

Batabani ba Yakobo Bamutegeeza

29Bwe baakomawo mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe ne bamutegeeza byonna ebyababaako, nga bagamba nti, 3042:30 nny 7“Omusajja omufuzi w’ensi y’e Misiri yayogera naffe n’obukambwe era n’atuyisa nga abaali bagenze okuketta ensi ye. 3142:31 nny 11Naye ne tumugamba nti, Tuli basajja b’amazima, tetuli bakessi, 32tuli abooluganda kumi na babiri, baana ba muntu omu, munnaffe yafa, ne muto waffe olwa leero ali ne kitaffe mu nsi ya Kanani.

3342:33 nny 19, 20“Awo omusajja oyo omufuzi w’ensi n’atugamba nti, ‘Ku kino kwennaategeerera nga muli beesigwa: muleke wano omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw’enjala eri mu maka gammwe. 3442:34 Lub 34:10Mundeetere muto wammwe, kwe nnaategeerera nga temuli bakessi, muli basajja b’amazima, olwo ne ndyoka mbawa muganda wammwe, mulyoke mugule emmere mu nsi eno.’ ”

3542:35 Lub 43:12, 15, 18Bwe baatuuka eka, buli eyafukumulanga ensawo ye, laba ng’omuvumbo gw’ensimbi ze mweziri. Awo bo ne kitaabwe bwe baalaba emivumbo gy’ensimbi ne batya. 3642:36 Lub 43:14Yakobo kitaabwe n’abagamba nti, “Munzigyeko abaana bange: Yusufu taliiwo, ne Simyoni taliiwo ne kaakano mwagala muntwaleko Benyamini!”

37Awo Lewubeeni n’agamba kitaawe nti, “Ottanga batabani bange bombi, bwe sirikomyawo Benyamini gy’oli; mumpe, nange ndimukomyawo gy’oli.”

3842:38 a Lub 37:33 b nny 4 c Lub 37:35 d Lub 44:29, 34Naye Yakobo n’agamba nti, “Mutabani wange tajja kuserengeta nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye y’asigalawo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu lugendo lwe mugendako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkyali munakuwavu.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 42:1-38

約瑟的哥哥們到埃及買糧

1雅各知道埃及有糧食,就對兒子們說:「你們為什麼還在這兒互相觀望呢? 2我聽說埃及有糧食,你們快到埃及去買些糧食回來吧,免得我們餓死。」 3於是,約瑟的十個哥哥下到埃及買糧。 4雅各不肯讓約瑟的弟弟便雅憫與他們同去,恐怕他會遭害。 5以色列的兒子們加入了買糧的行列,因為迦南也鬧饑荒。

6那時,約瑟治理埃及,負責賣糧。約瑟的哥哥們來到他面前,向他俯伏下拜。 7約瑟一眼就認出了他們,卻不動聲色。他疾言厲色地問道:「你們從哪裡來?」他們回答說:「我們是從迦南來買糧食的。」 8約瑟認得他哥哥們,但他哥哥們卻認不出他來。 9約瑟想起了自己從前做的兩個夢,就對他們說:「你們是奸細,是來探聽我們虛實的!」 10他們說:「我主啊,不是的!僕人們是來買糧的。 11僕人們都是弟兄,是誠實人,不是奸細。」

12約瑟說:「不對,你們是來探聽我們虛實的。」 13他們說:「僕人們共有弟兄十二人,父親住在迦南,最年幼的弟弟留在父親身邊,還有一個已經去世。」 14約瑟說:「我說你們是奸細一點不錯。 15我以法老的性命起誓,你們最小的弟弟不來這裡,你們都不能走,這是對你們的驗證。 16你們派一個人回去把你們的弟弟帶來,其他人都要被囚禁在這裡,我要看看你們說的是真還是假。要是你們說的是假話,我以法老的性命起誓,你們一定是奸細。」 17於是,約瑟把他們囚禁了三天。

18到了第三天,約瑟對他們說:「我是敬畏上帝的人,你們照我的話做就能活命。 19如果你們是誠實人,就把一個人留在監裡,其他人帶糧食回去接濟你們的家人。 20但你們一定要帶你們最小的弟弟回來,以證實你們說的是實話,這樣你們就不會被處死。」他們同意了, 21彼此議論說:「我們一定是在遭報應。從前我們的弟弟苦苦地哀求我們,我們卻不理會,現在這場痛苦臨到我們了。」 22呂便說:「我不是勸你們不要犯罪害那孩子嗎?你們不聽,現在我們必須償還血債了。」 23他們不知道約瑟聽得懂他們的話,因為約瑟是通過翻譯跟他們談話。 24約瑟聽後轉身出去哭了,然後又回來跟他們談話,從他們中間選了西緬,當著他們的面把西緬捆綁起來。

25約瑟又吩咐人把他們的袋子裝滿糧食,把各人買糧的錢放在他們的口袋中,還為他們預備了路上的食物。僕人一一辦妥了。 26約瑟的哥哥們把糧食馱在驢上,啟程回去了。 27他們來到一處住宿的地方,其中一人打開口袋拿飼料餵驢,卻發現裡面有錢, 28就對其他弟兄說:「你們看,我的錢又回來了,在我的口袋裡!」他們心驚膽戰地彼此議論說:「上帝這樣對待我們是什麼意思呢?」

29他們回到迦南父親雅各那裡,把事情的經過告訴了他, 30說:「埃及的宰相對我們說話很凶,還把我們當成奸細。 31我們對他說,『我們是誠實人,不是奸細。 32我們有十二個同胞弟兄,其中有一個已經去世,年紀最小的跟父親留在迦南。』 33那人卻對我們說,『我要看看你們是不是誠實人,你們把一個弟兄留在我這裡,其他人帶糧食回去接濟家人吧。 34但你們要把最小的弟弟帶來見我,這樣我便知道你們不是奸細,是誠實人。我就會釋放你們的弟兄,你們也可以在這裡自由地買賣。』」

35後來他們倒口袋時,發現每個人買糧的錢袋都在自己的口袋裡,他們和父親見此情形,都害怕起來。 36雅各說:「你們使我連連失去兒子,約瑟沒了,西緬沒了,你們還要帶走便雅憫!災禍都落在了我頭上!」 37呂便對父親說:「要是我不把便雅憫帶回你身邊,你就殺了我的兩個兒子吧!請你把便雅憫放心地交給我,我一定會把他帶回你身邊。」 38雅各說:「我的兒子不可跟你們去。他哥哥已經死了,現在只剩下他。要是他在路上遇到什麼意外,你們會使我這白髮蒼蒼的老人淒淒慘慘地進墳墓。」