Olubereberye 40 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 40:1-23

Yusufu Annyonnyola Ebirooto

140:1 Nek 1:11Oluvannyuma lw’ebyo omusenero wa kabaka w’e Misiri wamu n’omukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka w’e Misiri. 240:2 Nge 16:14, 15Falaawo n’asunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero n’omukulu w’abafumbi, 340:3 Lub 39:20n’abawaayo mu mikono gy’omukulu w’ekkomera, Yusufu mwe yali. 440:4 Lub 39:4Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera.

540:5 Lub 41:11Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo. 6Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, n’abalaba nga beeraliikirivu. 740:7 Nek 2:2N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”

840:8 a Lub 41:8, 15 b Lub 41:16; Dan 2:22, 28, 47Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”

9Awo omusenero n’ategeeza Yusufu ekirooto kye n’agamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto. 10Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu. 11Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”

1240:12 Lub 41:12, 15, 25; Dan 2:36; 4:19Yusufu n’alyoka amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu; 13mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we. 1440:14 a Luk 23:42 b Yos 2:12; 1Sa 20:14, 42; 1Bk 2:7Kyokka onzijukiranga ng’otuuse mu maaso ga Falaawo, onzijukiranga n’onjogerako gy’ali nkwegayiridde, alyoke anzigye mu kkomera. 1540:15 Lub 37:26-28Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi y’Abaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.”

Ekirooto ky’Omukulu wa Bafumbi

16Omukulu w’abafumbi ba Falaawo bwe yalaba ng’amakulu g’ekirooto ky’oli gaali malungi, n’agamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo by’emigaati bisatu. 17Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ng’ennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.”

1840:18 nny 12Awo Yusufu n’amuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu z’ennaku ssatu; 1940:19 nny 13bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.” 2040:20 a Mat 14:6-10 b Mak 6:21Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, n’akolera abaweereza be bonna embaga, n’atumya omusenero n’omukulu w’abafumbi. 2140:21 nny 13Omusenero n’amuzza ku mulimu gwe, n’atandika okuweereza Falaawo, 2240:22 a nny 19 b Zab 105:19kyokka ye omukulu w’abafumbi n’amuwanika ku muti, nga Yusufu bwe yavvuunula ebirooto byabwe.

2340:23 Yob 19:14; Mub 9:15Naye omusenero n’atajjukira Yusufu n’amwerabira n’atamussaako mwoyo.