Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 4

Kayini ne Aberi

1Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.” Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi.

Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.

Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”

Kayini atta Aberi

Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.

Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?”

N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”

10 Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. 11 Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse. 12 Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”

13 Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. 14 Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”

15 Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” 16 Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.

Abaana ba Kayini

17 Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka. 18 Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka.

19 Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. 20 Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda. 21 Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. 22 Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.

23 Lameka n’agamba bakazi be nti,

“Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;
    mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba;
nzise omusajja olw’okunfumita,
    nga muvubuka, olw’okunkuba.
24 Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,
    mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”

Okuzaalibwa kwa Seezi

25 Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” 26 Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi.

Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.

New International Version - UK

Genesis 4

Cain and Abel

1Adam[a] made love to his wife Eve, and she became pregnant and gave birth to Cain.[b] She said, ‘With the help of the Lord I have brought forth[c] a man.’ Later she gave birth to his brother Abel.

Now Abel kept flocks, and Cain worked the soil. In the course of time Cain brought some of the fruits of the soil as an offering to the Lord. But Abel also brought an offering – fat portions from some of the firstborn of his flock. The Lord looked with favour on Abel and his offering, but on Cain and his offering he did not look with favour. So Cain was very angry, and his face was downcast.

Then the Lord said to Cain, ‘Why are you angry? Why is your face downcast? If you do what is right, will you not be accepted? But if you do not do what is right, sin is crouching at your door; it desires to have you, but you must rule over it.’

Now Cain said to his brother Abel, ‘Let’s go out to the field.’[d] While they were in the field, Cain attacked his brother Abel and killed him.

Then the Lord said to Cain, ‘Where is your brother Abel?’

‘I don’t know,’ he replied. ‘Am I my brother’s keeper?’

10 The Lord said, ‘What have you done? Listen! Your brother’s blood cries out to me from the ground. 11 Now you are under a curse and driven from the ground, which opened its mouth to receive your brother’s blood from your hand. 12 When you work the ground, it will no longer yield its crops for you. You will be a restless wanderer on the earth.’

13 Cain said to the Lord, ‘My punishment is more than I can bear. 14 Today you are driving me from the land, and I will be hidden from your presence; I will be a restless wanderer on the earth, and whoever finds me will kill me.’

15 But the Lord said to him, ‘Not so;[e] anyone who kills Cain will suffer vengeance seven times over.’ Then the Lord put a mark on Cain so that no one who found him would kill him. 16 So Cain went out from the Lord’s presence and lived in the land of Nod,[f] east of Eden.

17 Cain made love to his wife, and she became pregnant and gave birth to Enoch. Cain was then building a city, and he named it after his son Enoch. 18 To Enoch was born Irad, and Irad was the father of Mehujael, and Mehujael was the father of Methushael, and Methushael was the father of Lamech.

19 Lamech married two women, one named Adah and the other Zillah. 20 Adah gave birth to Jabal; he was the father of those who live in tents and raise livestock. 21 His brother’s name was Jubal; he was the father of all who play stringed instruments and pipes. 22 Zillah also had a son, Tubal-Cain, who forged all kinds of tools out of[g] bronze and iron. Tubal-Cain’s sister was Naamah.

23 Lamech said to his wives,

‘Adah and Zillah, listen to me;
    wives of Lamech, hear my words.
I have killed a man for wounding me,
    a young man for injuring me.
24 If Cain is avenged seven times,
    then Lamech seventy-seven times.’

25 Adam made love to his wife again, and she gave birth to a son and named him Seth,[h] saying, ‘God has granted me another child in place of Abel, since Cain killed him.’ 26 Seth also had a son, and he named him Enosh.

At that time people began to call on[i] the name of the Lord.

Notas al pie

  1. Genesis 4:1 Or The man
  2. Genesis 4:1 Cain sounds like the Hebrew for brought forth or acquired.
  3. Genesis 4:1 Or have acquired
  4. Genesis 4:8 Samaritan Pentateuch, Septuagint, Vulgate and Syriac; Masoretic Text does not have ‘Let’s go out to the field.’
  5. Genesis 4:15 Septuagint, Vulgate and Syriac; Hebrew Very well
  6. Genesis 4:16 Nod means wandering (see verses 12 and 14).
  7. Genesis 4:22 Or who instructed all who work in
  8. Genesis 4:25 Seth probably means granted.
  9. Genesis 4:26 Or to proclaim